Bya Rwambuka Mugisha
MEEYA w’ekibuga Ntungamo, Jacob Kafureka asabye bayinvesita beeyongere okujja mu kitundu ekyo kiyambe okwongera okutumbula enkulaakulana.
Kafureka yagambye nti bayinvesita be beetaaga si bagwira bokka wabula n’abagagga Bannayuganda naddala abazaalibwa mu kitundu ky’e Ntungamo.
Wano we yasinzidde ne yeebaza omugagga w’omu Kampala, Eric Tugume olw’okuzimba wooteeri ey’omulembe eyitibwa Smart Guest House mu kibuga Ntungamo mw’azaalwa. Kafureka ye yabadde omugenyi omukulu mu kuggulawo wooteeri eno.
Meeya w’e Ntungamo ayise bayinvesita