TOP

Akunze Abasiraamu okukuliza abaana mu ddiini

By Musasi Wa

Added 18th April 2012

Munnayuganda akulira abakyala Abasiraamu mu ggwanga lya Amerika, Hajat Pheillah Payne akunze Abasiraamu okunywerera ku ddiini yaabwe n’okukuliza abaana baabwe mu ddiini.

2012 4largeimg218 apr 2012 195104053 703x422

Bya  Ali  Wasswa

Munnayuganda akulira abakyala Abasiraamu mu ggwanga lya Amerika, Hajat Pheillah Payne akunze Abasiraamu okunywerera ku ddiini yaabwe n’okukuliza abaana baabwe mu ddiini.

Hajat Payne ng’azaalibwa mu Disitulikiti y’e  Ntungamo omutuuze mu Amerika mu ssaza lya Boston, yategeezezza nti Abasiraamu abali mu Amerika basoba mu bukadde kkumi ekiraga nti eddiini y’Obusiraamu egenze ekula.

Bino yabyogeredde ku muzigiti gw’e Kyeera mu Disitulikiti y’e Isingiro wiiki ewedde ng’asisinkanye Abasiraamu abeegattira mu kibiina ekisaasaanya enjiri y’Obusiraamu ekiyitibwa, ‘Iqra Foundation’ n’okulambula abamu ku bantu abaakayingira eddiini eno. 

Hajati Pheillah yategeezezza nti musanyufu okulaba ng’abamu ku Basiraamu bakuliza abaana baabwe ku musingi gw’eddiini nti kye kijja okukendeeza ku buseegu obumaze empisa mu bantu.

Yategeezezza nti okwegatta kujja kubayamba n’abo abali mu Amerika okulaba nga banoonya ensimbi bazimbe essomero erisomesa abaana Abasiraamu eddiini n’okuyamba ku bamulekwa nga kati banoonya ttaka kwe linaazimbibwa.

Wabula Ying. Haji Kasule Abdul yayimuse n’ategeeza nga bw’awaddeyo ettaka kwe basobola okuzimba essomero lino.
Hajati Pheillah yeeyamye okuzimba ekisulo ky’e Kaberebere Muslim Center awajjanjabirwa ababa basiramuse  n’okubafunira ebikozesebwa.

Ab’ekibiina kya Iqra Foundation baasooka kusisinkana kibiina ky’Abasiraamu abayivu okuva mu Kampala nga bakulemberwamu  Mw. Adam  Mawuleed  ne Dr. Umar Kasule ng’ensisinkano yali ku muzigiti gw’e Nyamitanga – Kashenyi.

Sheikh Kasule yategeezezza nti ekibiina kino tekiri ku mulamwa gwa ddiini yokka naye n’okulaba ng’entegeka za Gavumenti ez’okugoba obwavu n’obutamanya mu maka binnyikira mu Basiraamu.

Hajati Pheillah yasuubizza okutandika ku kaweefube w’okukung’anya ensimbi okulaba nga bye boogeddeko bikolwako.

Akunze Abasiraamu okukuliza abaana mu ddiini

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte