TOP

Eddwaaliro eryamenyeddwa likwasizza 2

By Musasi Wa

Added 9th May 2012

POLIISI y’e Ntungamo ekutte bakanyama abagambibwa okumenya eddwaaliro lya Ntungamo Medical Centre ne baliwangulamu enzigi n’amadirisa ne bakuuliita nabyo.

Bya Rwambuka Mugisha

POLIISI y’e Ntungamo  ekutte bakanyama abagambibwa okumenya eddwaaliro lya  Ntungamo Medical Centre ne baliwangulamu enzigi n’amadirisa ne bakuuliita nabyo.

Abakwate ye Moses Ankwatireire  ne Bagire  bonna abatuuze b’e Nyakasa  mu Ggombolola y’e Ntungamo.

Eddwaaliro lino lya Dokita Hillary Twizirimana  nga lisangibwa mu kibuga ky’e Ntungamo ku luguudo lwa  Old Mbarara - Kabale Rd ennaku zino eyitibwa  Besigye Street.

Omu ku baserikale ba poliisi alondoola omusango guno yategeezezza nti  abakwate baabadde bapangisiddwa omugagga  Benon  Kanyarengwe  okumenyawo ekizimbe kino ky’akayaanira ne  Twizirimana nabo kwe kugenda n’ebimu ku bye baamenye ebyabakwasizza.

Poliisi yategeezezza nti  Twizirimana yapangisa ekitundu kino okuva ku booluganda musanvu abakulirwa  Joran Bashabe ne bakkaanya abazimbireko amayumba ate oludda azimbeko eddwaaliro alikoleremu okumala emyaka 12 abeere nga yeesasudde ssente obukadde 50 zaasasaanyizza.

Kyokka abamu ku booluganda abakulirwa  Moses Ankwatireire ne beefuula ne batunzaawo  Kanyarengwe ku bukadde 40 era be baapangisizza bakanyama abaakwatiddwa.
 
 

Eddwaaliro eryamenyeddwa likwasizza 2

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...