TOP

Akwatiddwa lwa kutta baana be 2

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd March 2016

POLIISI e Iganga ekutte omusajja ow’emyaka 45, nga kigambibwa nti yateeredde abaana be babiri obutwa mu buugi obwabasse.

Mirambo 703x422

Batwawula

POLIISI e Iganga ekutte omusajja ow’emyaka 45, nga kigambibwa nti yateeredde abaana be babiri obutwa mu buugi obwabasse.

David Batwawula ow’e Kasozi, Mukutu mu disitulikiti y’e Iganga kigambibwa nti okuva mu mbeera, mukyala we omuto yamaze kumunobako.

Abaana abaafudde ye Bosco Bawulira 7 ne Dorah Nalubanga 5 ng’obuugi yabubawadde kawugeenzi ku Mmande.

Ssentebe w’ekyalo Asadi Musulo, yagambye nti mukyala wa Batwawula abadde akyali omugole Zakiya Mutesi yanobye wiiki bbiri emabega ng’agamba nti tasobola kubeera na musajja anywa omwenge buli kiseera ate nga tasobola kuggula bintu bikozesebwa mu maka.

Musulo yagambye nti Batwawula yawalirizza abaana okunywa obuugi kyokka mutabani we omukulu Moses Bikumbi yagaanyi n’adduka n’ategeeza abatuuze nga kitaabwe bwe yabadde awadde baganda be obutwa mu buugi.

Abatuuze baasitukiddemu ne bagenda awaka ne basanga nga Batwawula amaze okuwa abaana be obutwa nga bombi bafudde.

Akulira bambega ku poliisi e Iganga, Nnaalongo Sophie Naboth yategeezezza nti Batwawula yakkirizza mu buwandiike nga bwe yasse abaana be nga yakikoze olw’obusungu oluvannyuma lwa mukyala we omugole okunoba ate ne bamugamba nti yafumbiddwa omusajja omulala ekyamuggye mu mbeera n’asalawo okuwa abaana obutwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...