TOP
  • Home
  • Bugwanjuba
  • Kkampuni esima Copper e Kirembe yaakuwa abantu 4,000 emirimu

Kkampuni esima Copper e Kirembe yaakuwa abantu 4,000 emirimu

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd March 2016

KKAMPUNI egenda okuddamu okusima copper e Kirembe etegese okuwa Bannayuganda 4,000 emirimu.

High 703x422

Tuleyini mu kirombe e Kirembe.

KKAMPUNI egenda okuddamu okusima copper e Kirembe etegese okuwa Bannayuganda 4,000 emirimu.

Bino byategeezeddwa Alex Kwatampora akulira pulojekiti eno n’agamba nti emirimu bagenda kugigabira mu mitendera ng’abagyagala bagenda kulindako bamale okuzimba ekyuma ekisaanuusa copper.

Ekirombe kino kiri mu disitulikiti y’e Kasese ku byalo okuli: Ihandiro, Kalonge, Buhabura ne Kihara era kitudde ku bugazi bwa ‘square Kilometer’ 62.

Ekirombe kino kyali kyaggalawo kati emyaka 40. Kwatampora yagambye nti baasoose kulongoosa mbeera abakozi mwe banaakolera nga balina okusooka okutunula mu byobulamu n’okutangira obubenje nga tebannatandika kukola mirimu.

Mu kiseera kino bali mu kutendeka bakozi ku ntambuza y’emirimu gy’ekirombe kubanga abamu bakyali bato tebakolangako mirimu nga gino.

Yannyonnyodde nti egimu ku mirimu gye baamalirizza kwe kuteekamu ebyuma ebipya nga bidda mu bikadde ebibaddemu okuva mu 1970.

Ebyuma ebipya ebyassiddwaawo birina obuwangaazi bwa myaka 30. Omulimu baagukwasizza kkampuni ya Tibet Hima Mining Company okuva e China era ekyuma ekipya ekyasa n’okutemaatema copper kisobola okukola ku ttani 1,500 buli lunaku.

Yayongeddeko nti kaweefube bamutadde ku kutumbula ebbibiro ly’amasannyalaze erya Mubuku Hydro, okwongera ku bungi bw’amasannyalaze.

Kwatampora agamba nti bbeeyi ya Copper okugwa kwe kusoomoozebwa kwe balina kubanga gye buvuddeko ttani yagwa okuva ku doola 800 okudda ku 500 ku katale k’ensi yonna ng’ebirombe ebimu e Congo ne Zambia byaggalawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...