TOP

Abalumba e Kasese tubategedde - Gen. Kayihura

By Ali Wasswa

Added 14th March 2016

Ku Lwomukaaga, ennyumba ezisoba mu 10 e Kasenyi mu ggombolola y’e Buhirira - Busongora, Kasese okuli n’eya GISO, zaakumiddwaako omuliro mu bulumbaganyi obwalese ng’abavubuka 4 battiddwa n’abapoliisi 3 baakubiddwa bubi.

Save1 703x422

SPC Mbusa Joes eyalumiziddwa ng’ayambibwa okulinnya ennyonyi eneemutwala mu ddwaaliro e Kampala. Gen. Kayihura n’abaalumiziddwa mu bulumbaganyi bw’e Kasese.


OMUDUUMIZI wa poliisi, Gen. Kale Kayihura, agambye nti, abaalumba poliisi n’okwokya ennyumba e Kasese bali mu bubinja bw’abalwanyi (mirisiya) nga balina emitima emigumu n’akakwate n’abakungu b’Obusinga bwa Rwenzururu.

Ku Lwomukaaga, ennyumba ezisoba mu 10 e Kasenyi mu ggombolola y’e Buhirira - Busongora, Kasese okuli n’eya GISO, zaakumiddwaako omuliro mu bulumbaganyi obwalese ng’abavubuka 4 battiddwa n’abapoliisi 3 baakubiddwa bubi.

Kati abantu baweze 6 abaakaafi ira mu bikolwa eby’obulumbaganyi. Kino kyaddiridde abavubuka abakambwe okulumba abaserikale ba poliisi abaabadde ku kabangali.

Ekyaddiridde poliisi kwe kuttako bana. Bo abapoliisi 3 be baalumiziddwa ne batwalibwa mu ddwaaliro Ekkulu e Mulago.

Abattiddwa ye; Nasoni Sagi, Kaki Saleri, James Wayekwa ne Jokas Kirembera ate omulala, Gideon Bwambale yalumiziddwa era Kayihura yagambye nti bagenda kumujjanjaba n’oluvannyuma bamukunye.

Kayihura, eyagenze e Kasese eggulo, yategeezezza abaamawulire eggulo nti, “Tuzudde ng’obubinja bwa bamirisiya bwe buli emabega w’abalumbaganyi bano.

Yagasseeko nti, waliwo n’obukakafu obulala nti abavubuka bano balina akakwate ku bantu abamu mu Businga. Yavumiridde ababaka ba Palamenti, Winnie Kiiza (Mukazi Kasese) ne William Nzou (Busongora North) okunenya poliisi okutta abalumbaganyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Parliamentofuganda640381 220x290

Palamenti eyimrizza eby'okuyisa...

PALAMENTI eyimirizza eby’okuyisa ebbago lyetteeka erikwata ku kubonereza abantu abazza emisango egyekuusa ku mukwano...

Mbabazi 220x290

Boogedde ebinobya bakazi ba Ssegawa...

ABAALI bakazi ba Vincent Ssegawa bamulangidde bw’atalisobola kuwasa mukazi n’amugumiikiriza kubanga alina obuzibu...

Masomeroweb 220x290

Empaka z'amasomero ga siniya ziyiiseemu...

Abaddukanya empaka z'amasomero ga siniya basuubizza okulinnyisa omutindo kkampuni ya Fresh Diary bwe bayiyeemu...

Kanga 220x290

Isabirye ayawukanye n’omukazi omupya...

JOEL Isabirye eyali bba wa Rebecca Jjingo ayawukanye n’omukazi omulala omupya gw’abadde amaze naye omwaka gumu...

Kulula 220x290

Owa Romi Wine eyatemeddwa azze...

OMUGAGGA wa Romi’s eyatemeddwa ebijambiya abatemu oluzze engulu n’attottola engeri agasajja gye gaamusazeeko n’alemwa...