TOP
  • Home
  • Bugwanjuba
  • Akulira ebyokwerinda e Kasese abazigu bamufumise ebiso

Akulira ebyokwerinda e Kasese abazigu bamufumise ebiso

By Musasi wa Bukedde

Added 16th March 2016

Yasangiddwa adda waka ne muganda we Johnson Mulumbira 37, okuliraana essundiro ly’amafuta erya Delta erisangibwa ku luguudo oluva e Kasese okudda e Fortportal.

Royalgurdskasesegiso703422 703x422

Jame Mulumbira, GISO wa Buhuhira ng’ajjanjabibwa mu ddwaaliro lya Kilembe Mines

ABANTU abatannategeerekeka bateeze GISO James Mulumbira, akulira ebyokwerinda mu ggombolola y’e Kyabarungira mu Busongora North, mu kiro ky’Olwokubiri ne bamufumita ebiso ne muganda we, baweebwa ebitanda.

Yasangiddwa adda waka ne muganda we Johnson Mulumbira 37, okuliraana essundiro ly’amafuta erya Delta erisangibwa ku luguudo oluva e Kasese okudda e Fortportal.

GISO Mulumbira gwe twasanze ng’ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Kilembe Mines yategeezezza nti, “Nnabadde mpeese muganda wange ku pikipiki, abantu bana ne batuyimiriza.

Twabadde tetunnaba na kuyimirira bulungi, ne batandika okutufumita amafumu n’ebiso bye baabadde nabyo era omu yanfumise mu bulago...!”

ame ulumbira  wa uhuhira ngajjanjabibwa mu ddwaaliro lya ilembe ines oluvannyuma lwokulumbibwa ku wokubiri Jame Mulumbira, GISO wa Buhuhira ng’ajjanjabibwa mu ddwaaliro lya Kilembe Mines oluvannyuma lw’okulumbibwa ku Lwokubiri.

Yayongeddeko nti, “bandibadde bansazeeko omutwe singa seetangidde bulungi n’emikono gyange. Baabadde bana nga bonna mbamanyi. Bakuumi b’Obusinga bwa Rwenzururu nga bakolera mu ggombolola eno.”

Akulira eby’okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu kitundu ky’Obuvanjuba bwa Rwenzori, Joseph Andama yakakasizza obulumbaganyi buno.

Dr. Boris Bwambale yategeezezza nti abaalumbiddwa bonna embeera yaabwe tetiisa n’ayongerako nti, “Eky’omukisa emisuwa gy’ensingo ya GISO tegyasaliddwa.

Ebiwundu byonna twabisibye.” Obulumbaganyi buno bwajjidde mu kiseera ekitawera na wiiki emabega nga Mulumbira alumizibwa okuyamba ku poliisi okuzuula ebikwata ku bantu abana abattibwa poliisi ku kyalo Kasenyi mu ggombolola y’e Buhuhira e Kasese.

ohnson ulumbira naye ali mu ddwaaliro Johnson Mulumbira naye ali mu ddwaaliro.

 

Okuttibwa kw’abatuuze bano kwaleetawo okunenya ku njuyi ez’enjawulo okuli poliisi ate nga yo poliisi enenya abakulembeze b’Obusinga okuyita mu kiwayi ky’abavubuka ekiyitibwa ‘Kirumiramutima’, ng’Obusinga bukyegaana.

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura yasinzidde mu lukuhhaana lwa Bannamawulire ku Ssande n’ategeeza nti ekibinja ky’abavubuka ba ‘Kirumiramutima’ kye kyakola obulumbaganyi ku Mulumbira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?

Kita 220x290

Ebya Kitatta bijulidde

Kino kitegeeza Kitatta wakubeera mu kkomera okumala okumala ebbanga eritamanyiddwa okutuusa abakulu lwe banakomawo...