TOP
  • Home
  • Bugwanjuba
  • Okulwanagana kw'amawanga e Bundibugyo kuzzeemu: 8 bafu!

Okulwanagana kw'amawanga e Bundibugyo kuzzeemu: 8 bafu!

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2016

Poliisi ekutte abantu 13 abagambibwa okuba nga beenyigidde mu kulwanagana kuno okwabaddewo eggulo.

Bundibugyoclash13703422 703x422

OKULWANAGANA okulala e Bundibugyo kufiiriddemu abantu munaana ng’abasatu ku bano baakuddwa masasi nga kigambibwa nti baabadde bagezaako okuggya emmundu ku baserikale.

Poliisi ekutte abantu 13 abagambibwa okuba nga beenyigidde mu kulwanagana kuno okwabaddewo eggulo.

Poliisi yategeezezza nti okulwanagana kwatandikidde ku bukuubagano bw’amawanga wakati w’Abakonjo n’Abamba okukkakkana nga bataano bafiiriddewo.

Kigambibwa nti Abakonjo baalumbye poliisi nga bagirumiriza okudda ku ludda lw’Abamba era abaserikale kwe kubakubamu amasasi ne gattirawo abantu abalala basatu.

Ettemu omwafiiridde abantu abataano lyatandise mu kiro ekyakesezza Olwokusatu wakati w’essaawa 8:00 ne 9:00 ez’ekiro, ekibinja ky’abavubuka Abakonjo abasukka 25 nga babagalidde amajambiya, emiggo, emitayimbwa n’ebissi ebirala bwe baalumbye ekyalo okuli Abamba.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bya Rwenzori, Lydia Tushabe abavubuka bano baatuukidde mu maka ga Samson Tibamwenda e Busendwa mu ggombolola y’e Ntotoro mu disitulikiti y’e Bundibugyo ne bamutemaatema ne mutabani we ow’emyaka 12 eyategerekeseeko erya Aaron.

Tushabe yagasseeko nti abalala abaasangiddwa mu maka gano okwabadde nnamukadde Night Faith 50, ne mutabaniwe eyategeerekeseeko erya Basiime, baabatemye ebiso ne balowooza nti babasse ne balyoka beeyongerayo mu maka ga Nelson Mulyabwana 75.

Mulyabwana baamutemyetemye ne mukyala we Flora Kajoina ne babaleka nga bafudde era poliisi kwe kuyingiramu okutaasa abantu.

Omuduumizi wa poliisi y’e Bundibugyo, Martin Kamuhebwa yagambye nti emisana abavubuka bano era bazzeemu okubagalira ebissi ne balumbe abantu abalala kyokka bwe baasanze abaserikale abaabadde bayiiriddwa okubalemesa ne bagezaako okubasikako emmundu nabo ne babakubamu ebyasi.

Kamuhebwa yagambye nti baasobodde okukkakkanya embeera ne banyweza eby’okwerinda mu kitundu kino oluvannyuma lw’amagye ne poliisi okuyiibwa okutangira embeera ey’okuyiwa omusaayi.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga yagambye nti olutalo olwakoleddwa lwekuusa ku ttaka Abakonjo lye bagamba nti Abamba baalyesenzaako mu bukyamu ate ne baliremerako.

Yagambye nti ebyalo bibiri okuli eky’e Busendwa ne Bukisi II mu ggombolola y’e Ntotoro era e Bukisi gye basse omusajja owookutaano gwe bayita Kubomwe. Gye buvuddeko abantu bana battibwa e Kasese nga baggya emmundu ku baserikale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasubibwafanana1 220x290

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro...

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro g'e Kasubi n'agumya Abaganda

Minisitaruhankanarugundangakwasaugandaekikopo 220x290

Uganda ekoze likodi ng'ewangula...

TTIIMU ya Uganda ey’okubaka esitukidde mu kikopo kya 2018 World University Netball Championship ezibadde ziyindira...

Kasubibwafanana2 220x290

'Abaganda temuggwaamu ssuubi, omulimu...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asabye Abaganda obutaggwaamu ssuubi, omulimu gw’okumaliriza Muzibwazaalampanga mu...

Nalwoga2 220x290

Bbebi w'omwaka 1 agudde mu kinnya...

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Lweza A, omwana ow’omwaka ogumu n’ekitundu bw’asangiddwa ng’afiiridde mu kinnya...

Sheikhnuhumuzaatangabuulira 220x290

Muzaata alumirizza abakulembeze...

Muzaata yakuutidde Abasiraamu okwewala abantu abaagala okubeeyambisa okuggusa ebyabwe era bakomye n’emize egy’okwekutulamu...