TOP
  • Home
  • Bugwanjuba
  • Gen. Kayihura agumizza ab'e Bundibugyo ku kittabantu

Gen. Kayihura agumizza ab'e Bundibugyo ku kittabantu

By Eria Luyimbazi

Added 25th March 2016

OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura agenze bukubirire mu disitulikiti y’e Bundibugyo okusobola okumalawo okulwanagana wakati w’Abakonjo n’Abamba okwabaluseewo ku ntandikwa ya wiiki eno abantu 11 ne bafiiramu.

Bundi11 703x422

Gen Kayihura ng'awa abserikale ebiragiro bwe yagenze e Bundibugyo awaabadde obulumbaganyi wakati w'Abakonjo n'Abamba . EBIFAANANYI BYA ERIA LUYIMBAZI

OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura agenze bukubirire mu disitulikiti y’e Bundibugyo okusobola okumalawo okulwanagana wakati w’Abakonjo n’Abamba  okwabaluseewo ku ntandikwa ya wiiki eno abantu 11 ne bafiiramu.

Mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano,  ebiwayi ebirwanagana byalumbye ekyalo Bukisi ne batemaatema omukyala Faith Nayite n’omwanwe Simon Asiime  ne baddusibwa mu ddwaliro n’ebisago ebyamanyi ate abantu abalala ne basiba engugu okuva mu maka gaabwe okudduka ekibambulira.

 

 

Embeera eno yawaliriza Gen Kayihura eyabadde e Kasese okugenda e Bundibugyo okusobola okugumya abaayo nga poliisi bw’egenda okubawa obukuumi n’abasaba okusigala nga bakkakkamu .

“Njagala okubateegeza nti tuli mu kunoonyereza b’ani abali emabega w’ekitta bantu ekigenda mu maaso era tuleese abasirikale okubakuuma nga bwe tukola okunoonyereza,” Kayihura bwe yategeezezza.

 

 

Yagambye nti oluvannyuma lw’obulumbaganyi buno, poliisi yakwataganye n’amagye okulawuna ebyalo ku bigere ne ku mmotoka okutangira obulumbaganyi  bwonna obuyinza okubaawo.

Bundi5 703x422

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda