TOP
  • Home
  • Bugwanjuba
  • ‘Ng'enda kunoonya buli eyeetabye mu ttemu e Bundibugyo - Museveni

‘Ng'enda kunoonya buli eyeetabye mu ttemu e Bundibugyo - Museveni

By Ali Wasswa

Added 29th March 2016

PULEZIDENTI aweze nti buli eyeetabye mu kutemula abantu e Bundibugyo agenda kukwatibwa omukono gw’amateeka gumukoleko n’amaanyi.

Lwana 703x422

Pulezidenti ng’ayogera n’abeebyokwerinda e Bundibugyo eggulo.

PULEZIDENTI aweze nti buli eyeetabye mu kutemula abantu e Bundibugyo agenda kukwatibwa omukono gw’amateeka gumukoleko n’amaanyi.

Bino yabyogedde eggulo e Kanyansiri mu ggombolola y’e Ntotoro mu Bundibugyo ng’obugenyi buno buddiridde abantu abasoba mu 10 okuttibwa mu kirowoozebwa okuba obutakkaanya bw’amawanga.

Kigambibwa nti Abakonzo be baalumbye Abamba ne batemaatema abamu ebiso ate abalala ne bafuna ebisago eby’amaanyi ate nga ne poliisi mu kugezaako okubalwanyisa, baalwanaganye nayo oluvannyuma ne badda mu nsozi.

Pulezidenti yagumizza Abamba nti obumenyi bw’amateeka obw’ekika kino tebugenda kuddamu kubatuukako.

“Okuddukira mu nsozi beerimbye kuba eyo si Ggulu nti omala kufuna biwawaatiro okubuuka otuukeyo. Bagenda kuwanulwayo oba baagala oba tebaagala,” Pulezidenti bwe yaweze enkolokooto.

 ulezidenti ngayogera nabeebyokwerinda e undibugyo eggulo Pulezidenti ng’ayogera n’abeebyokwerinda e Bundibugyo eggulo.

“Mbeegayiridde temuwoolera eggwanga ku Bakonjo kuba nabo Bannayuganda. Mudde eka mukole emirimu era mbakakasa nti buli alina omukono mu ttemu lino agenda kukisasulira. Lino eggwanga si lya kuzannyirako.

Abaakoze obutemu buno eno y’entandikwa yaabwe era y’enkomerero yaabwe,” Museveni bwe yagumizza Abamba abaabadde abangi.

Pulezidenti eyagendedde mu nnyonyi, yayogeredde eddakiika ezitasukka 20 ng’eno nnamunkanga bwe zirawuna ebbanga wakati mu kwerinda okw’amaanyi.

Yeeyamye okuyamba famire eyalumbibwa omwana ow’emyaka 14, omusajja n’omukyala ne babatema ebiso, wamu n’ez’abo bonna abaafiiriddwaako abaabwe.

 ulezidenti useveni ngasala omugga okwolekera ekifo awaali obulumbaganyi e undibugyo Pulezidenti Museveni ng'asala omugga okwolekera ekifo awaali obulumbaganyi e Bundibugyo

Yawerekeddwaako minisita Kamanda Bataringaya, abataka b’omu kitundu gwe baakubye olube nga Pulezidenti amusabye okubaako ky’ayogera.

Omuduumizi w’enkambi y’amagye eyookubiri, Peter Erweru naye yabaddeyo.

“Nja kukuuma Bannayuganda n’ebyabwe era abaagala okutabangula eggwanga lino bakiggye mu ndowooza,” bwe yayongedde okubakalaatira.

Ssentebe wa Bundibugyo, Jolly Tibamanya yasabye Pulezidenti atuuze abataka b’enjuyi zombi bategeeragane n’agamba nti, “Nze nawanguddwa mu kalulu era mu May nja kuwaayo obuyinza mu ddembe. Simanyi lwaki abantu abamu tebaagala mirembe.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.