TOP
  • Home
  • Bugwanjuba
  • Ekiri e Kasese: Bagaanyi abantu okutambula ekiro, bbeeyi y’ebyamaguzi erinnye

Ekiri e Kasese: Bagaanyi abantu okutambula ekiro, bbeeyi y’ebyamaguzi erinnye

By Musasi wa Bukedde

Added 6th April 2016

EMBEERA mu kibuga Kasese ekyali ya bwerende. Buli akoleramu ateekwa kuggalawo ssaawa 2:00 ez’ekiro.

20147largeimg206jul2014102820097703422 703x422

EMBEERA mu kibuga Kasese ekyali ya bwerende. Buli akoleramu ateekwa kuggalawo ssaawa 2:00 ez’ekiro.

Ebibinja by’abantu abatemu bakyagenda mu maaso okulumba abantu ekiro era ebitongole ebikuumaddembe ne biragira; tewali kutambula kiro mu kibuga.

Amagye n’emmotoka z’abakuumaddembe zisula zirawuna. Ebbula ly’ebintu ebyenjawulo mu kibuga naddala emmere nalyo lyeyongedde.

Amazzi ga Gavumenti ag’emidumu gaasaliddwaako mu kibuga nga kati abantu bakozesa mazzi ge bakima mu mugga Nyamwamba.

Ekidomola ky’amazzi ekibadde kigula 200/- ku midumu kituuse ku 1500/-. “Tusaba Gavumenti etutaase. Amazzi agava mu Nyamwamba macaafu.

Ente mwe zinywa, abaana mwe bawugira,” kansala Thembo Lusenge bwe yagambye. Ate Captain Muwongo, omu ku bakulira ebyokwerinda by’ekitundu yasabye abantu babe bakkakkamu, embeera Gavumenti egikutteko bulungi.

“Tetwagala bantu kulumba bannaabwe. Obudde bw’ekiro abantu basaana babeere bakkakkamu, tetwetaaga kutambula nnyo kiro kubanga abamenyi b’amateeka basobola okututuusaako obulabe,” Muwongo bwe yagambye.

Ate mu lubiri lw’Omusinga Mumbere, basabye poliisi ne Gavumenti biggyeyo abaserikale kuba bo ebyokwerinda bagenda kubyekolerako.

Embeera yatandika okusajjuka e Kasese oluvannyuma lw’okulonda, akamu ku bubinja bw’abavubuka bwe kaalumba poliisi ne bakubagana.

Obusambattuko buno bwe bwaleetedde Pulezidenti Museveni n’aduumira Poliisi mu ggwanga Kale Kayihura okugendayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...