TOP
  • Home
  • Bugwanjuba
  • Nja kulinnya ensozi nkwate abatemu - Pulezidenti Museveni

Nja kulinnya ensozi nkwate abatemu - Pulezidenti Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 8th April 2016

PULEZIDENTI Museveni agenze e Bundibugyo n’agumya abaayo bw’ajja okulinnya ensozi bwe kiba kyetaagisa, yeekwatire abatemu.

Kabaale1 703x422

Museveni ne mukyala we Janet, ku lutindo lw’e Lamia.

PULEZIDENTI Museveni agenze e Bundibugyo n’agumya abaayo bw’ajja okulinnya ensozi bwe kiba kyetaagisa, yeekwatire abatemu.

Okwogera bino abatuuze baasoose kumukaabira nga bwe babasalako emitwe ng’abasala enkoko.

“Ssebo Pulezidenti weebale kujja. K’ozze, otuwadde essuubi nti embeera ejja kudda mu nteeko. W’ojjidde ng’embeera mbi era abasajja bava mu nsozi ne batusala nga mbuzi.

Abalala amaka twagaddukako era tetumanyi we tuliddirayo,” Idd Muwanga omutuuze w’e Bundibugyo bwe yamutegeezezza.

 useveni ngayogera eri abantu be undibugyo ku wokusatu akawungeezi Museveni ng’ayogera eri abantu b’e Bundibugyo ku Lwokusatu akawungeezi.

Museveni obugenyi buno yabubaddeko ku Lwokusatu akawungeezi nga yatandikidde ku kulambula ekkuumiro ly’ebisolo erya Semuliki National Park, n’alambula ebiyiriro bya Sempaya Hotsprings, e Bundibugyo.

Pulezidenti yagendedde mu yunifoomu y’amagye ng’awerekerwako mukazi we Janet Museveni era ng’okusooka yabadde asitudde emmundu ye ekika kya AK47.

Yatuuse ku mugga gwa Lamia ogwawula Uganda ne DR.Congo.

Yabuuzizza abaayo obuzibu bwe basanga ne bamutegeeza ng’embeera bw’egenze etereera. Yayimiriddeko mu bubuga obuwerako n’ayogerako eri abatuuze.

 useveni ngayogera eri abantu be undibugyo ku wokusatu akawungeezi Museveni ng’ayogera eri abantu b’e Bundibugyo ku Lwokusatu akawungeezi.

Mu bitundu bye yatuuseemu ye Lusunga, Kabutabule, Nyawoka, Kayenje ne Bundibugyo mu kibuga wakati.

Mu kabuga ke Kayenje, abantu baamutegeezezza nga bwe batalina kye balya kuba emmere baagirekayo.

Baamutegeezezza nga bo bwe bali Abamba, kyokka nga balumbibwa Abakonjo. Museveni yagumizza abantu nga bw’azze okwerabira embeera era n’abagumya nti ne bwe kinaaba kyetaagisa kulinnya nsozi kukwata batemu ajja kukikola.

 useveni ngayogera eri abantu be undibugyo ku wokusatu akawungeezi Museveni ng’ayogera eri abantu b’e Bundibugyo ku Lwokusatu akawungeezi.

 

“Nzize kwerabirako ndabe embeera gye mubeeramu. Kye mbakakasa tewali agenda kuddamu kutabangula mirembe era ne bwe kinaaba kyetaagisa kulinnya nsonzi okukwata ababakolako obulabe nja kukikola,” Museveni bwe yaweze ng’abantu bwe bawoggana nti ‘oyogedde ssaabalwanyi.’

Guno gwe mulundi ogwokubiri nga pulezidenti alambula ekitundu kino mu mwezi gumu. Ebyokwerinda byongedde okunywezebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....