TOP
  • Home
  • Bugwanjuba
  • Poliisi yeezoobye ne Besigye ne Lukwago e Kabale: Mmotoka ya Besigye bagyasizza endabirwamu

Poliisi yeezoobye ne Besigye ne Lukwago e Kabale: Mmotoka ya Besigye bagyasizza endabirwamu

By Dickson Kulumba

Added 19th April 2016

POLIISI yezoobye ne Dr. Kizza Besigye ne Loodi Meeya Erias Lukwago oluvannyuma lw’omusango gwabwe okwongezebwayo okutuuka nga June 6,2016.

Kabale 703x422

Mmotoka ya Besigye gye baayasizza endabirwamu

POLIISI yezoobye ne Dr. Kizza Besigye ne Loodi Meeya Erias Lukwago oluvannyuma lw’omusango gwabwe okwongezebwayo okutuuka nga June 6,2016.

Kkooti ebadde yaakaabuka nga bakutte n'eridda e Kampala, babadde batuuka e Butobere ne basalwako mmotoka za poliisi ssatu okuli vvaani nnamba UP 4860.

Oluvannyuma ereese ekimmotoka kyayo n'ekulula mmotoka mwebabadde batambulira nga bayisiddwa mu nsozi eziri mu bitundu by’e  Kangondo mu kitundu ky’e  Rukiga wakati mu nnamutikwa w’enkuba bakira afuddemba.

Bakunguziddwa okuyita e Rwemucucu, tawuni y’e Muhanga ne batuusibwa ku luguudo oluva e Kabale-Mbarara kyokka bwe batuuse e Muhanga mmotoka ya poliis ennawunyi ebadde ebakulembedde yeezoobye n’aba Bodaboda ababadde babagoberera nga bwe bawanika obugalo bubiri mu bbanga. Abamu kigambibwa bakubiddwa ne kibooko.

We ziweredde ssaawa 10:00 ez'olweggulo nga batuusiddwa ku poliisi mu kibuga ky’e Ntungamo balindirira ekisaliddwawo abakuumaddembe.

Ku makya, poliisi yasoose kwezooba n’abawagizi ba Dr. Besigye mu kibuga Mbarara nga bano baakanyugidde mmotoka za poliisi bbiri amayinja okukkakkana nga baasiiza  endabirwamu wamu n’okulumya omuserikale.

Mu kwanukula poliisi yakutte abantu basatu ng’ebavunana okwenyigira mu buvuyo obwabaddewo e Mbarara mu kiseera Besigye ne banne bwebabadde bayimiriddeko mu kibuga ky’e Mbarara okufuna eky’enkya.

Abalala ababadde ne Besigye kwabaddeko Ingrid Turinawe, Mubarak Munyagwa ne Imam Makumbi ng’ono y'atwala DP mu Buvanjuba bwa Uganda kyokka bano kyababuuseeko okutuuka mu kkooti ne balindisibwa kyokka oluvannyuma omulamuzi Lafeal Duweni n'akubiriza kkooti ne bategeezebwa nti omusango tegusobola kugenda mu maaso kubanga omulamuzi, Agatonica Mbabazi, owa kkooti enkulu e Kabale era ali mu mitambo gy’omusango guno ogw’okukuma mu bantu omuliro oguvunanibwa, Dr. Besigye, ali mu luwummula bwegutyo ne gwongezebwayo!

Lukwago mu kwogerako ne bannamawulire avumiridde ekikola kya kkooti okubamalira ebiseera ne batuuka okutindigga olw’e Kabale kyokka nga bamanyidde ddala nti omulamuzi taliiwo.

Ye Dr. Besigye yagambye nti “ Ebikolwa bya poliisi biragira ddala nti si nneetegefu kulaba Bannayuganda nga boolesa ebirowoozo byabwe n’obuwagizi bwabwe eri bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya gavumenti”.

Dr. Besigye abadde akyaggaliddwa mu kaduukkulu ka poliisi e Ntungamo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...