TOP
  • Home
  • Bugwanjuba
  • Olutalo lwendiko okuggya Gavt. ya NRM mu buyinza lutandika butandisi - Besigye

Olutalo lwendiko okuggya Gavt. ya NRM mu buyinza lutandika butandisi - Besigye

By Ali Wasswa

Added 18th July 2016

DR. KIIZA Besigye asinzidde mu Klezia ya Yesu Kabaka e Rukungiri mu kibuga n’awera enkolokooto nti olutalo lw’aliko okuggya Gavumenti ya NRM mu buyinza atandika lutandike era tajja kukozesa mmundu okuggyako obuwagizi bw’abantu.

Samba 703x422

Abantu nga bakulembeddemu Besigye (mu katono) okugenda ku Klezia.

DR. KIIZA Besigye asinzidde mu Klezia ya Yesu Kabaka e Rukungiri mu kibuga n’awera enkolokooto nti olutalo lw’aliko okuggya Gavumenti ya NRM mu buyinza atandika lutandike era tajja kukozesa mmundu okuggyako obuwagizi bw’abantu.

Yagambye nti tayinza kuwummula kulwanirira ddembe lya Bannayuganda era tayinza kusirika ng’alaba ebintu bingi bisobye .

‘Nja kugenda mu maaso n’okwogera ku nsobi za Gavumenti okutuusa eggwanga lwerinaatereera’, Besigye bwe yategeezezza.

Yagenze okwetaba mu kusaba kuno okwebaza Katonda byamuyisizzaamu era kwakulembeddwaamu Fr. Gaetano Tibanyenda ow’ekigo ky’e Kuitanda mu Kabale.

Besigye yagambye nti bwe bukeera ku makya Pulezidenti Museveni n’atereeza ensobi zonna eziri mu Gavumenti, okumuwakanya wekukoma.

Yavumiridde obulyi bw’enguzi obuyitiridde mu gavumenti n’agamba nti busaana kulwanyisibwa.

Fr. Tibanyenda mu kubuulira, yanenyezza bannaddiini banne olw’obutavaayo kunenya gavumenti nsobi z’ekola.

Yawadde ekyokulabirako nti ebbanga lyonna Besigye ly’amaze mu kkomera tewali munnaddiini yenna yamukyalirako kyokka nga bagenda ewa pulezidenti Museveni n’abawa amabaasa n’emmotoka.

Besigye yawerekeddwaako Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago ne bammemba ba palamenti.

Olwaleero Besigye asuubirwa mu kkooti ne Lukwago e Kabale ku musango gw’okwekalakaasa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA