TOP
  • Home
  • Bugwanjuba
  • Mube n'omwoyo ogulumirirwa eggwanga lyammwe - Winnie Byanyima

Mube n'omwoyo ogulumirirwa eggwanga lyammwe - Winnie Byanyima

By Musasi wa Bukedde

Added 27th December 2016

BANNAYUGANDA basabiddwa okuba n’omwoyo ogulumirirwa eggwanga lyabwe n’okulisabira live mu ddubi ly’enguzi gye litubiddemu.

Manya 703x422

Fr. Didus Kasapuli (ku kkono) Besigye, Anslem ne Byannyima mu kusaba.

BANNAYUGANDA basabiddwa okuba n’omwoyo ogulumirirwa eggwanga lyabwe n’okulisabira live mu ddubi ly’enguzi gye litubiddemu.

Bino bye bimu ku byabadde mu bubaka bwa Winnie Byanyima bwe yeetabye mu kusaba kwa Ssekukkulu mu Klezia ya Uganda Martyrs e Mbarara.

Byanyima eyabadde ne bba Kiiza Besigye ne mutabani waabwe Anslem, yeebazizza olw’okukwatirako bba mu kaweefube gw’aliko okulwanyisa enkola embi mu ntambuza y’eggwanga n’okumusabiranga okuyita mu makomera gy’asibwa entakera, amasasi ne ttiyaggaasi wa poliisi.

Yabagumizza okukolagana nabo wonna we kyetaagisa okulaba ng’eggwanga lidda ku mulamwa.

Wabula yabasabye okwenyigira mu mirimu eginaabayamba nabo ng’abantu okwekulaakulanya.

Ate Besigye mu kwogera kwe yasabye abantu okwongera okusabira eggwanga ng’agamba nti waliwo akakundi k’abakenuzi abaagala okulittattana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top11 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo...

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo z’amapaapaali akola ku maaso ne kookolo ? Soma wano mu mboozi z'omukenkufu

Wat12 220x290

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula...

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula Vipers mu Stambic Cup

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu