TOP

Gen. Elly Tumwiine azimbye enju amatiribona

By Ali Wasswa

Added 23rd April 2018

GENERO Elly Tumwine, eyaakalondebwa ku bwa minisita ayingidde enju ye amatiribona esangibwa e Rwemikoma mu disitulikiti y'e Kiruhura ku mukolo kw’afumbirizza n’abaana be.

Gentumwiinehouse1 703x422

Abatuuze nga balambula enju ya Gen. Tumwine. EBIFAANANYI BYA ALI WASSWA

Ku mukolo guno yeebazizza Katonda olw’ebyo by’ayiseemu okuli okusimattuka okufi ira mu lutalo lw’e Luweero n’okuttibwa emisota egyamubojja enfunda eziwera era n’atongoza n’okuzimba Ekkanisa mu maka ge okukkaatiriza nti emirimu gy’akola gyonna kuliko n’okubuulira enjiri.

Kyokka yategeezezza nti eky’okubeera minisita kyamusanga ali mu ntegeka za kusiima kuno.

 en umwine ngabuuza ku bagenyi ku mukolo gwokuggulawo ennyumba amatiribona Gen. Tumwine ng'abuuza ku bagenyi ku mukolo gw'okuggulawo ennyumba amatiribona

Tumwine y’akulira ekibiina kya ‘Revival Church’ mu bugwanjuba bwa Uganda.

Omulabirizi wa West Ankole Rev. Johnson Twinomujuni yategeezezza nti abantu batono abasiima Katonda olw’ebyo by’abawadde.

Yasesezza abantu bwe yabuuzizza abasajja oba beebaza bakazi baabwe nga bamaze okulya emmere n’agamba nti bangi beemulugunya lwe batawoomeddwa.

 nju amatiribona en umwine gyazimbye Enju amatiribona Gen. Tumwine gy'azimbye e Rwemikoma mu disitulikiti y'e Kiruhura

Nampala w’ababaka ba NRM mu Palamenti, Ruth Nankabirwa eyakiikiridde Pulezidenti Museveni yatenderezza Tumwine olw’okwetaba mu kuleeta emirembe n’akunga abantu okugikuuma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...