TOP

Ziroobwe: akabuga k'abalimi

By Musasi Wa

Added 26th August 2012

ZIROOBWE kamu ku bugaga obukadde obusangibwa mu ssaza ly’e Bulemeezi erikulirwa musajja wa Kabaka, Kkangaawo

OBUBUGA BWAFFE: ‘Gavumenti edduukirire abalimi b'e Ziroobwe’

Bya PROCOPIOS LUMU

ZIROOBWE kamu ku bugaga obukadde obusangibwa mu ssaza ly’e Bulemeezi erikulirwa musajja wa Kabaka, Kkangaawo. Kisangibwa mayiro 28 okuva mu kibuga Kampala era okutuukayo okozesa oluguudo oluyita e Gayaza - Ziroobwe.

Akabuga kano kasangibwa mu ggombolola y’e Muwambya Mitubamukaaga mu disitulikiti y’e Luweero okuliraana disitulikiti y’e Mukono.

Omulimi ng’atwala ensukusa ku booda boda mu kabuga Ziroobwe

Ziroobwe akolebwa emiruka munaana okuli; Nambi, Kyetume, Bukimu, Bubuubi, Nakigoza, Ngalonkalu, Kabulannaka
ne Kakakala.

Ggombolola y’e Muwambya Mitubamukaaga omusangibwa akabuga k’e Ziroobwe y’esinga okulima kubanga ettaka lyabwe ggimu. Ssentebe w'ekyalo Ziroobwe, Umaru Makoona agamba nti emisana babeera n'abantu abatakka wansi
wa 7,000 kubanga babeera n'abasuubuzi olwo ekiro abasulamu ne baba nga 5,000.

Omulamuzi mu kkooti ye Ziroobwe Charles Muyingo

Bizinensi ezikolebwayo

Bizinensi ezikolebwayo Bannaziroobwe abasinga balimi era lino limu ku masaza ga Ssaabasajja agasinga okulima. Abaayo basinga kulima nva ndiirwa omuli nnakati, obutungulu, bulokoli, emboga, ebbugga n'ebirala. Kyokka era balima
nnyo kasooli, ennaanansi, omuceere n’obutungulu era abasuubuzi bagendayo ne babisuubula ku balimi.

Kyokka abalimi abamu babitikka ne babyetwalira mu butale bw’e Kampala okuli Nakasero n’obulala ne babyetundira.

Balinayo n’amaduuka agatunda ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo nga sukaali, sabbuuni, omunnyo n'ebirala.

Abavubuka abasinga Mbavuga bodaboda.

Abakozi nga bakakkalabya ku kyuma ky’omuceere e Ziroobwe


Abamu ku bakozi ku kyumma kya kasooli nga bawewa kasooli ku kyuma e Ziroobwe.

Engeri gye balima ennyo omuceere ne kasooli, eriyo ebyuma bya kasooli bibiri n’eky’omuceere kimu era Bannaziroobwe abamu gye bakola.

Balina akatale omutundirwa ebintu nga ennyaanya, muwogo n’amatooke.

Embeera
Balina enguudo ng’ezimu za koolaasi kyokka n'ezettaka nazo ziri mu mbeera nnungi ddala. Tebalina nnyo bifo bisanyukirwamu era teri bbaala za mulembe kubanga abatuuze abasingayo Basiraamu.

Balina eddwaaliro limu kyokka ekyennyamiza temubaamu ddagala wadde dokita era abatuuze bagamba nti bwe balwaza, abalwadde babaddusa Busiika eri eddwaaliro. Amasomero balina aga siniya ne pulayimale. Obumenyi
bw'amateeka balinamu obutonotono naye basinga kubeera na bubbi bwa nte n’okumenya amaduuka.

Abamuzimbye
Abazimbye ekibuga kinokuliko Henry Semanda nga ye nnannyini Semanda and Sons ne Haji Isma Kiyaga nnannyini Ziroobwe Coffee Factory.

1 Abalimi batawaanyizibwa nnyo okugenda okugula ensigo mu Kampala. Noolwekyo, ggwe ayagala okweyoolera ssente, ssaayo edduuka otunde ensigo z'ebimera nga omuceere, obutungulu, ennyaanya, kasooli, n'entangawuuzi.

2 Emmotoka ezisomba ebirime okuva mu nnimiro nga pikkaapu ne tulakita zibeekubya mpi. Gula mmotoka nga zino ozitwaleyo oyoole kaasi.

3 Abalimi beetaaga bbanka mwe basobola okutereka ssente zaabwe. Bw’oba olina ssente entonotono, osobola okussaayo kabbanka akatonotono.

4 Gendayo osuubule ebirime obitunde wonna w’oyagala, ojja kufunamu.

Ziroobwe: akabuga k''abalimi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja