TOP

Sophie Nantongo ne Simbwa bakubye abadigize ebibajjo bya laavu

By Musasi Wa

Added 20th January 2013

OMUYIMBI Sophie Nantongo asinzidde ku lonki ye n’awera nga bwe watali muntu agenda kumwawukanya n’Omulangira Sam Simbwa kubanga laavu yaabwe baagisibisa lujegere.

2013 1largeimg220 jan 2013 111156863 703x422

BYA MARTIN NDIJJO NE EDWARD KALUMBA


OMUYIMBI Sophie Nantongo asinzidde ku lonki ye n’awera nga bwe watali muntu agenda kumwawukanya n’Omulangira Sam Simbwa kubanga laavu yaabwe baagisibisa lujegere.

‘Nze wansiba ku bbampa y’omutima gwo, buli gy’ogenda ngoberera. Njagala kuwa bujulizi ssebo, wanfuukira mmere yange era lumu ogenda n’ombuuza bebbi oyagala ki?

Nziramu kasita w’oli kuba ggwe lunch yange ate ggwe supper yange (ekyeggulo) ggwe olimu ssupu wange……..Aliba ani, aliba ani alindesa omwana ono, aliba ani?

Omulaba bw’atunuza laavu... Sophie kata afe essanyu ng’alabye Omulangira Ssimbwa mu lonki.

Aliva wa, aliva wa alinzigya kw’ono Omulangira. Super laavu tekyalabika ebintu byajjamu abafere. Nze ndi wuwo, wuwo, wuwo tombuusabuusa...,” ebyo bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba lwa ‘Laavu super’ Nantongo lwe yasoose okuyimbira Simbwa ng’atenda omukwano ol-wamucamudde (Simbwa) n’asituka ne mu ntebe anyeenye ku galibenjole wakati mu nduulu okuva mu bawagizi.

Yagasseeko nti, ‘mwami wange weebale kubaswaza, tuyise mu bizibu era ebigambo bingi byogeddwa naye tonsuuliridde.’

Bino Nantongo yabyogeredde ku Equatorial Parking bwe yabadde atongoza oluyimba bwe olupya ‘Kagiiko Nnattabula’ ku Lwoku¬tano ekiro.

Nantongo yafukamidde ne yeebaza abawagizi be b’agamba nti nabo tebamuvuddeemu mu kaseera akazibu k’ayisemu era yabasabye bongere okumuwagira.

Bwe yabadde aggalawo ekivvulu, yasuddemu oluyimba ‘Kagiiko Nnattabula’ olwo n’ayita bba, Simbwa ku siteegi bazinemu ekintu ekyayongedde okucamula abawagizi ne baleekaana nti, ‘mubalumye bakitegeere nti laavu yammwe ddala ekyali super.’

Emiziki gya Sophie gyafuukudde abawagizi.Ebifaananyi byonna bya Martin Ndijjo.

Obufumbo bw’Omulangira Simbwa ne Nantongo okumala ebbanga bubadde buyuuga era en-tikko ya bino byonna yaliwo ku nkomerero ya September w’omwaka oguwedde, Simbwa bwe yanaabira Nantongo mu maaso n’amulagira afulume ennyumba mwe baali basula e Ntebettebe ekisangibwa e Bweyogerere olw’okuba eno baali bagikaayanira ne mukyala mukulu.

 

 

Sophie Nantongo ne Simbwa bakubye abadigize ebibajjo bya laavu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...