TOP

Abooluganda lwange maama b’atandaga mu bulamu yabandaga afudde

By Musasi Wa

Added 3rd March 2013

Christine Mirembe, 19, ow’e Mukono bwatyo bw’atandika okunyumya ku ngeri nnyina gye yamuyamba n’amulaga abeng’anda ze b’ataamulaga ng’akyali mulamu

2013 3largeimg203 mar 2013 145922443 703x422

 

 

 

 

Bya BONITAH KIBALAMA

SSOSSOLYA bw’atafa atuuka ku lyengedde naye nange bwe nzijukira gye nvudde n’ebizibu bye mpiseemu ddala mu butufu atannafa teweevuma ggwanga.

Christine Mirembe, 19, ow’e Mukono bwatyo bw’atandika okunyumya ku ngeri nnyina gye yamuyamba n’amulaga abeng’anda ze b’ataamulaga ng’akyali mulamu:

Maama omugenzi Rose Nakyanzi yatuzaala abaana babiri nze ne muto wange Ntongo Catherine mu bataata ab’enjawulo n’atwabulira nga tukyali bato ddala kuba nze nalina emyaka munaana.

Yali 2008, maama we yafiira olwo muto wange n’agenda ne kitaawe, nze ne nsigala ewa kojja Deus Mulwana e Masaka.

Ng’oggyeeko kojja Mulwana, nabeera mu kyalo nga sirina muntu mulala yenna gwe mmanyi mu kika kyaffe.

Obulamu ewa kojja tebwali bwangu kuba yatandika okumpisa obubi, okunkuba buli kadde, okunnangira ebitategeerekeka, okwo kw’ossa okugaana okumpeerera mu ssomero.

Ekyo yalaba tekimumalira kwe kusalaawo okungoba awaka mmuviire ng’ende ewa kitange gwe nali simanyi wadde okuwulira omuntu yenna amwogerako ne nsalawo nti olukya nga ntambula wabula nga simanyi gye ndaga.

NVA EWA KOJJA E MASAKA
Mu kiro ekyakeesa, kojja lw’angoba nafuna ekirooto nga waliwo omukyala ang’amba nti, Mwana wange lwaki osalawo mangu olinga kitaawo!

Omugenzi Rose Nakyanzi.

Mu mboozi, namusaba antwale ewa kitange kwe kuntegeezza nti mwana wange bizibu wabula olwang’amba ekigambo ekyo we nazuukukira.

Saakyusaamu mu kusalawo kwange kuba obulamu bwonna nali njagala nnyo okujja e Kampala era kasita kojja yalekera awo okumpeerera mu 2010 ne ntambulirawo ekiwejjowejjo Mengo.

Eno nali sirina gwe mmanyiiyo naye bwe nalaba abantu nga bavaamu bangi mu bbaasi gye nalimu nange kwe kusalawo okugifuluma.

Obudde nga buzibye nasoberwa nabuuza omuvubuka eyali asiika capati oba nga yalina omuntu yenna gwe yali amanyi nga yandyetaaze omukozi.

Yambuuza ebinkwatako ne mmutegeeza nga bwe nali simanyi gyendi ate nga ne gye navudde sijjukirayo ono yasalawo okunsuza era twatandika okubeera fenna okutuusa bwe yatandika okunnekkaanya kuba ye yali ayagala tufuuke mukyala na mwami ekintu kye nagaana.

Mukadde ako obwongo bwanneesiba ne ntandika okukaaba nga bwe nkoowola mmange anziruukirire kuba nali mu buzibu bunene.

Mba nneebase ne ndaba omukazi mu kirooto ng’andaga geeti emu nti nnyingire munda eky’ennaku omukyala saamulaba feesi.

Lumu tuba tugenda ne mukwano gwange Sandra Buwembo e Namirembe ne ndaba geeti gye nafuna mu kirooto.

Enkoko nagikwata mumwa ne ng’enda ku geeti eno era omukyala gwe nasangayo gwe nabuuza oba alina gw’amanyi ayagala omukozi.

Omukyala ono gwe nategeera oluvannyuma nga ye Zam Nagawa yantegeeza nga bw’atalina gw’amanyi ayagala mukozi mpozzi okugira nga mbeera naye.

MAAMA ANZIJIRA OGUSOOKA
Ng’omuvubuka, natandika okwemakula n’abalenzi ekintu ekyanyiiza omukyala ono n’angamba nti bwe mba sisobola kwesonyiwa bulenzi nja kumuviira.

Kw’olwo lw’ang’amba okungoba mmange yajja mu kirooto era ku mulundi guno yanneeraga n’ang’amba nti, ‘Nze nnyoko Rose Nakyanzi okimanyi nti oli lubuto?

Nalwegaana wabula n’anziramu mu bukambwe nti, baaba wo mutegeeze ng’obudde bukyali, ekirala oyo omukyala y’ajja okukuyamba okukutuusa ku bantu bo, era ekintu ky’asinga obuteetaga, kwe kumulimba era tokigezangako.

Ng’obudde bukedde, baaba yakeera kung’amba nga bw’alina omukazi gwe yaloose ng’amugamba nga bwendi olubuto yabimbuuza era olwokuba nali ng’ambiddwa obuteegaana nakkiriza olubuto era ne mmubulira nnyini lwo.

Teyangoba ne mbeerawo okutuusa lwe nazaala. Mmange teyakoma okwo yajjanga buli kadde ng’ambuulira ebintu eby’enjawulo era wano we yantegeereza nga bwe yanzaala mu musajja Omutanzania gwe yasisinkana ku nsalo ya Uganda ne Tanzania gye yali atundira engoye wabula n’amubulako nga tannanzaala.


ANZIJIRA OGWOKUBIRI N’ANDAGA ABEEWAFFE
Maama yanzijira mu kirooto ne ndaba ng’antuuzizza mu nnimiro n’atandika okunombojjera ennaku y’ekikazi gye yayitamu ng’ali lubuto lwange yantegeeza nga bwe sirina kika kuba omusajja gwe yanzaalamu naye yali yafa wabula waliwo muganda we gwe yali yamugambako abeera e Busia wabula ng’ono mukambwe nnyo.

Yandagirira era n’ang’amba nti ssente nzisabe baaba ajja kuzimpa okwo kwe yagatta okundagirira ewa muganda we Sarah e Mukono mu Kigombya gwe yang’amba nti ajja kunnyaniriza ng’omwana we.

Nagenda e Busia era kitange namulaba ng’eno gye nava okudda e Mukono okunoonya maama Sarah.

Olunaku olusooka saamulaba ne nzirayo ogwokubiri nabuuza omukyala gwe bayita Sarah kuba lye linnya lye nail mmanyi wabula era ng’omuntu aliko ekitali kituufu bwentyo nayambibwa ne ntuuka ewa maama ono eyannyaniriza mu ssanyu.

Namunnyonnyola byonna era kati gye mbeera ne baaba simwerabiranga kuba ye yannyamba okuntuusa ku bantu bange.

NAGAWA BY’AGAMBA
BAABA ZAM NAGAWA akolera e Juba ng’ono ye yasooka okubeera naye agamba: Waliwo omukazi eyanzijiranga mu birooto ng’andaga omwana omuto eyali yeetaaga obuyambi kuba n’omulundi gwe namulaba ku geeti ekiro ekyo nali nfunye ekirooto kye kimu nga kyekuusa ku mwana eyali abonaabona.

Nagawa

Saafunanga kirooto kiri dayirekiti okuggyako omwana oyo bwe yafuna olubuto ng’ali wange era kino kyanneewuunyisa nnyo.

MAAMA SARAH, Mirembe gy’abeera kati agamba: Bwe nalaba Mirembe mu luggya ng’atuuse, enviiri zanva ku mutwe ng’enda okulaba ng’amaziga ge saateegera kwe gaava gampitamu.

Namwaniriza ng’abagenyi bwe baba wabula aba tannayogera kintu kyonna kwe kumuyita nti Tinah n’ayitaba.

Nawulira ng’omutima gutoowolokose kuba nali sikisuubira kuba twali tetumanyi muwala wa mukulu waffe gye yalaga nga tetulinaayo ssuubi lya kuddamu kumulaba.

Mwannyinaffe yali yatutegeeza ng’omwana bwe yabula. Mukulu wange yateranga okunzijira mu kirooto kyokka nga talina ky’ayogera naye okuva omwana bwe yatuuka takyajja.

Abooluganda lwange maama b’atandaga mu bulamu yabandaga afudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini