TOP

Faaza azadde omwana ne yeewaana

By Musasi Wa

Added 10th April 2013

FAAZA akawang’amudde bw’ayabulidde Eklezia n’awaana akaboozi bwe kawooma ng’emmere nti era tewali musajja asobola kubeerawo nga takafunye.

2013 4largeimg210 apr 2013 150654590 703x422

 

 

 

 

 

Bya MUSASI WAFFE

FAAZA akawang’amudde bw’ayabulidde Eklezia n’awaana akaboozi bwe kawooma ng’emmere nti era tewali musajja asobola kubeerawo nga takafunye.

“Okusinda omukwano n’omukazi kulinga kulya mmere oba kussa mukka era tewali asaanidde kugaanibwa kweyagalira mu bintu bino ebyatuweebwa Katonda,” Faaza John Karimi ye yavudde mu busosodooti era n’ategeeza nti kati alina abaana basatu mu bbanga ery’emyaka 15 gy’amaze mu buweereza.

‘Neebakanga n’abawala ekiro enkeera ku Ssande ne nnyimba mmisa ne ngaba n’amasakalamentu naye nga muli ndaba kinnyiga ne nsooka ne nkigumira,” Karimi bwe yategeezezza olupapula lw’amawulire olwa Daily Nation olufulumira mu Kenya ng’akutte akalenzi ak’emyaka nga 12 k’agamba nti ke kamu ku baana be.

Milingo eyagobwa Klezia n’omukyala gwe yawasa.

Yagambye nti yalabye ng’obulamu bw’okubeera obw’omu bumunyiga kwe kusalawo okwatula ng’akooye okubeera omukuusa eri Katonda n’eggana ly’asumba.

Karimi eyabadde anekedde mu gganduula lya faaza eriddugavu ng’alina ddiguli esooka mu by’amasomo g’eddiini (Theology) okuva mu Yunivasite y’e Ubaniana mu Yitale alumiriza nti bafaaza edda baawasanga okutuusa Paapa omu (gw’atayogera) lwe yasikirwa mutabani we ne bakiwera.

Karimi abadde omusosodooti mu kigo ky’e Ichagaki - Kenya agamba nti ng’akyali Bwanamukulu, yalaba obwenzi bumuyinze era ng’alowooza nti by’akola Katonda si by’ayagala kwe kutuukirira Omusumba w’essaza lye n’amutegeeza ky’asazeewo.

“Omusumba yang’umya nti nja kugumira mpola eky’okubeerawo awatali kusinda kaboozi era n’ampa omwaka ng’ende mpummulemu,” bwe yannyonnyodde.

Karimi agamba nti omwaka bwe gwaggwako n’addayo n’ategeeza nti akyasibidde ku kye yagamba we yagendera, eky’okunyumya akaboozi era kuno n’ayongerako n’ebbaluwa gye yawandiikira Paapa John Paul II ng’asaba akomye awo obuweereza bwe nga Faaza naye teyaddibwamu bw’atyo nga tasiibudde n’ava mu Klezia n’agenda mu makaage agali mu ssaza ly’e Kirinyaga kati gy’ali ne mukyala
we Mary Nanjekho gw’alinamu abaana abasatu.

Nagezaako okugattibwa mu Klezia ne Mary kyokka nga yonna bangobaganya kwe kusalawo okwegatta ku Ecumenical Catholic Church of Christ ekkiriza bafaaza okuwasa era nga kati Bisopu mulamba.

Faaza Musaala

FAAZA MUSAALA
Bino we bijjidde nga wano mu Uganda Klezia yaakafuna ekyekango ky’ekimu omwezi oguwedde Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga bwe yayimirizza Faaza omuyimbi Anthony Musaala olw’okuvaayo n’ategeeza nti bafaaza baganza abakazi ne babazaalamu n’abaana era n’asaba baweebwe eddembe abaagala bawase n’abasisita bakkirizibwe okufumbirwa.

Awalala mu Afrika, eyali Ssaabasumba w’e Lusaka mu Zambia, Emmanuel Milingo mu 2001 yagattibwa n’omukazi mu ddiini eyitibwa eya ba Moon esibuka mu South Korea era mu 2009 oluvannyuma lw’okumwogereza baawukane n’omukazi ne yeerema Vatican n’erangirira nga bw’ayambuddwa obwakabona n’okugobwa mu Klezia.

KLEZIA KY’EGAMBA
Omukugu mu byafaayo n’ennono ya Klezia, Rev. Fr. Peter Bakka yannyonnyodde nti okusinziira ku mateeka ga Klezia, omusosodooti bw’azaala ayimirizibwa mbagirawo obutaddayo kusoma mmisa, kubanga aba amenye ekirayiro kye yakola.

Kyokka nti asigala nga musosodooti, kubanga obusosodooti buba bwalubeerera okutuusa okufa, okuggyako nga Paapa amuwadde olukusa okuwasa.

Faaza azadde omwana ne yeewaana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...