TOP

Kayanja avuddeyo ku bya mutabaniwe okumuwa obutwa

By Musasi Wa

Added 12th May 2013

Brig. Elly Kayanja yasimattuse okufa mutabani we ng’akolagana n’omu ku bakyala be bwe yamuwadde obutwa kata bumutte ng’amaze emyezi ena ng’ajjanjabibwa.

2013 5largeimg212 may 2013 111739310 703x422 

 

 

Bya MARGARET ZIRIBAGGWA

EBINTU nga bwe bizze bibaawo ennaku zino bikulekera ekibuuzo kimu kyokka nti ‘Kiki ekituuse ku bajaasi ba Uganda ennaku zino?’

Brig. Elly Kayanja yasimattuse okufa mutabani we ng’akolagana n’omu ku bakyala be bwe yamuwadde obutwa kata bumutte ng’amaze emyezi ena ng’ajjanjabibwa.

Alex Sekitto Kayanja nga mwana wa muganda wa Kayanja eyafa, yasimbiddwa mu kkooti e Nakawa n’avunaanibwa omusango gw’okugezaako okutta Brig. Kayanja era n’asindikibwa ku limanda e Luzira ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Brig. Kayanja mu kiseera kino ali mu Amerika, agamba nti eby’okukwata mutabani we yabitegedde era ne bimukuba wala kubanga omwana ono yatandika okubeera naye nga wa mwaka gumu n’amusomesa okutuusa bw’afunye diguli eyookubiri mu Buyindi.

Yagambye nti Sekitto y’abadde addukanya bizinensi ze zonna era ng’amwagala ng’omwana we kuba mu Buganda omwana wa muganda wo abeera wuwo.

Omukwano gwabadde naye abadde tasuubira kufuna buzibu naye wadde okufuna omuntu asobola okumubuzaabuza n’amukozesa ekintu ekikyamu.

Sekitto sitatimenti gye yakoze ku poliisi ku fayiro nnamba CRB /E/193/2013 annyonnyola bwati;

Nakomawo okuva mu Kayanja) n’ampa obuvunaanyizibwa kkampuni ze zonna era nga mu kkampuni ya Equator ne ATS International yanfuula dayirekita.

Nabeera ne maama (muka kitange) eyankuza naye ne baawukana ne Brig. Kayanja n’abeera nga takyasula waka newankubadde ng’oluusi ajjawo ebbalirirwe.

Maama yambuulira nga waliwo ssente ze yeewola mu bbanka n’endala mu kibiina ky’abakyala kyokka ne zimulema okusasula. Yatya okubuulira taata kuba yali ajja kumubuuza kye yakozesa ssente ezo.

Kuba nnakula naye, nnasalawo okumuyamba ne nsooka okusasula ebbanja ly’abakyala kyokka erya bbanka ne linnema.

Olumu yampita nang’amba nti alina obuzibu nti bagenda kutwala ennyumba ye nti era waliwo pulaani gye tusobola okukola etuggya mu bwavu.

Yang’amba nti tutte taata. Omutima gwekanga kyokka n’angumya nti tewali ajja kutegeera ate nange nja kufuna ssente nfuuke mugagga binojjo okuva bwe mbadde nga nzirukanya kkampuni ze ate nga nze mmanyi n’ebyobugagga bye byonna.

Kyantwalira ebbanga okukkiriza wabula okuva maama bwe tubadde ab’omukwano nga ye yankuza nnakkiriza era ne mmusisisnkana mu maka ge e Kiwatule ne tuluka olukwe ng’obutwa twabugula ku Kaleerwe.

Twasooka kubussa mu mmere nga January 16 ng’enva byali binyeebwa omuli ebyennyanja.

Enkeera twamuteera mu ssupu gw’akeera okuwuuta era olubuto lwatandika okumuluma nga twakozesa butwa bwa mmese.

Bwe twalaba tewali kikyukako ne tuddayo ne tugula obutwa obulala nga buno bwali bw’amaanyi okusinga obwasooka kyokka mu kutya, nnabusaamu amazzi nga maama simubuulidde.

Buli lunaku yalyangako katono okutuusa nga January 27 embeera bwe yayonooneka ne tumutwala mu ddwaaliro kyokka bw’ataakyukako ne bamutwala mu Amerika okwongera okujjanjabibwa, nga gy’akyali.

Kayanja avuddeyo ku bya mutabaniwe okumuwa obutwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.