TOP

Omulema awasizza embooko ne yeewaana: Teri musajja ansinga kumanya mukwano

By Musasi Wa

Added 7th October 2013

OMUVUBUKA omulema akubye embooko y’omuwala embaga eyuuguumizza akaalo Kyengera n’aleka abatuuze okusingira ddala abavubuka nga bamunyeenyeza mutwe nga tebakkiriza nti yabadde asobola okubawangulako embooko y’omuwala.Bya HAFSWA NANKANJA

OMUVUBUKA omulema akubye embooko y’omuwala embaga eyuuguumizza akaalo Kyengera n’aleka abatuuze okusingira ddala abavubuka nga bamunyeenyeza mutwe nga tebakkiriza nti yabadde asobola okubawangulako embooko y’omuwala.

Abalala baavuddeyo bamatidde nti ddala omukwano teguzibirwa kkubo! Sulaiman Busuulwa ye yeewangulidde embooko y’omuwala Shirat Namulondo enzaalwa y’e Jinja. Namulondo yayanjudde munne Busuulwa mu bazadde be e Jinja ku Ssande ewedde oluvannyuma ne bawoowebwa ku Muzikiti gwa Nkokonjeru e Kyengera gye baavudde ne bagabula abagenyi baabwe e Mugongo- Kyengera mu bazadde ba Busuulwa.

“Bannange Busuulwa abalibwe mu bazira b’e Kyengera, era Katonda eyamumma byonna amukubyeko embooko y’omuwala. Eno embaga ya kyasa!”

Omugole Namulondo ng’asitudde bba Busuulwa eyamukubye embaga ku Ssande ewedde.

Bino bye bimu ku bigambo obwedda abavubuka b’e Kyengera bye beewuunaganya nga n’abandi bagamba nti bagenda kutuukirira Busuulwa abasomese ku bukodyo bwe yakozesezza okumatiza omuwala n’atuuka n’okumwagazisa obufumbo.

Bo abantu abakulu obwedda beewuunaganya oba ddala Busuulwa mulamu bulungi ng’omusajja.

Ebibuuzo bino byonna abagole Babusuulwa babyanukudde bwe bati:

Babusuulwa nga baakawoowebwa. Ku ddyo, Babusuulwa nga bali mu maka gaabwe oluvannyuma lw’embaga.

BASISINKANA:

SULA BUSUULWA agamba nti: Nkola mu kitongole kya Riley Packaging Uganda limited abakola bbookisi ezisabikwamu ebintu eby’enjawulo ng’omulimu gwange kuyingiza miwendo (Data) egikwatagana n’ebikolebwa, ebiyingira n’ebifulumizibwa mu kkampuni.

Omwaka gwa 2011 Namulondo yatwegattako mu kkampuni wabula nga ye akola mu kyapa (Production). Yakola omwezi mulamba nga tetulabaganangako era nga simanyi nti gy’ali kuba nze buli lwe najjanga ku mulimu nga ng’enderawo mu ofiisi yange. Wabula Katonda nga bw’agera, lumu najja kyokka mu kifo ky’okuyingira mu ofiisi nasigala bweru nga nnyumyamu n’abaaliwo. Waali waakayita eddakiika nga ttaano n’omulungi ono n’ayitawo ng’ayingira ggeeti.

Olwamutunulako omutima gwange ne gunkubirawo. Mukwano gwange gwe nali naye yalaba ndobedde ku muwala kwe kumbuuza kye mbadde, yadduka n’ayita omuwala oyo n’amusaba atubuuzeeko.

Abagole ku mbaga ne kalabalaba w’omwami.

Omuwala teyali mubi n’ajja n’atubuuza oluvannyuma ne yeeyongerayo nga simunyeze kigambo na kimu.

Namala ebbanga ng’ebirowoozo byange tebiteredde, nasiibanga n’okusula nga ndaba kifaananyi kya muwala ono. Lumu nneevaamu ne nnyumizaako mukwano gwange ono ku kintawaanya. Yanvuga ne mmutwala okumulaga omuwala antutte ebirowoozo, naye talina magezi ge yampa ndowooza ng’alaba nga nze aloota okwagala omuwala ng’oyo ne nsigalira kusaba Katonda.

Katonda yaddamu n’atusisinkanya ng’omuwala ono era ayingira ggeeti. Namugamba sentensi emu nti njagala kukulaba twogeremu. Ekifaananyi kye yandaga oluvannyuma lw’ekigambo ekyo kyandaga nti ddala ndabika nnonze bulungi. Yalwawo nga tannajja kunsisinkana ne ndowooza nti oba kye namugambye kye kyamunyiizizza ate ne nnyongera okweraliikirira.

Omugole Namulondo ng’addaabiriza bba Busulwa oluvannyuma lw’okugattibwa

Nga wayise wiiki nga bbiri, yajja n’ansisinkana era namugamba sentensi emu nti ‘Mpulira nkwagadde’. Yasooka kusirika nga tavaamu kigambo okutuusa lwe namusaba ennamba y’essimu kwe nnaamukubira ambuulire ansa bw’aba tasobola kuging’amba maaso ku maaso. Yampa ennamba ya nnyina omuto naye okumufuna lwali lutalo anti buli lwe nakubanga nti taliiwo.

Lwali lumu ne mmukwasa era ansa gye yampa yanzizaamu amaanyi. Kw’olwo nasula nkukunadde nga nninga aloota bye twayogedde ku ssimu. Namulondo Shirat ebya ssente si by’aliko kuba ne bwe twagendanga awutu nga bwe mmuwa ssente z’entambula ng’azigaana. Nkizudde kati nti yalinga tansaasira busaasizi wabula kye kikula kye.

OBUSOBOZI MU BY’EKISAJJA MBUSINZA N’ABASAJJA ABEETAMBUZA

Namulondo ye muwala ateemakulamakula na basajja. Muwala wa wa ensangi zino agaana mukama we n’asalawo waakiri okuleka omulimu gwe nga ye bwe yakola nga mukamaawe ayagala okumuganza! Nze ani Sula waabwe eyeewangulira omuwala ng’ono! Ndi mwetegefu okuzaala abaana baffe n’okubalabirira kuba obusobozi mbulina nga mbusinza n’abasajja abeetambuza.

Namulondo ng’agabula bba eky’enkya oluvannyuma lw’embaga.

Mu biseera byange eby’eddembe mba mu kuyimba nga tulina ekibiina kyaffe ekiyitibwa Mascular Entertainment Crew. Mu kibiina kino tusisinkana ku wiikendi bwe tubaako abatupangisizza nga tugenda tuyimba. Tuli bana mu kibiina kyaffe okuli Twaha Katongole, Nashibu Mayiga ne Daudi Matovu.

NAMULONDO: Twasisinkana ne Sula ku mulimu emyaka ebiri emabega. Nali nnaakatandika okukola n’ajja n’essimu kyokka nga ku mulimu tebakkirizaako masimu. Asikaali yali aginzigyako n’egwa n’eyonooneka era bwe yansaba essimu
namuwa nnamba ya maama gwe nali mbeera naye nga kw’annoonyeza.

Maama namugamba nti oyo mukwano gwange era ennaku ezimu mu mwaka ogwasooka nasaba maama okukyalira ku mukwano gwange oyo gwe yali tannasisinkana.

Abagole nga bakoona ddansi

Lumu twali tuva kukyalira baana, maama kwe kunsaba mmutwale alabe ku mikwano gyange egyo eginkubiranga ku ssimu ye. Nange namutwala ne mmulaga omulenzi andya obwongo. Omwaka ogwokubiri twatandika okubeera ffembi e Ng’andu, Mukono.

Emabegako nali nafunamu obutakkaanya ne mukama wange eyali agezaako okunsaba omukwano ne ng’aana. Sula olwabitegeera n’ang’aana okuddamu okukola era kati nasigalira kumulabirira kwokka. Sula tayagala kuwulira
nti ng’enda wadde okufulumako wabweru mbu kugula bintu. Waliwo abavubuka be tutuma ne batuguliza nze nga mmuli ku lusegere.

Omwaka guno nga gwakatandika yansaba okunkuba embaga ne nsanyuka nnyo okulaba ng’asazeewo bwati. Namutwala mu bazadde bange okubasaba ampase era sseng’ange yaddamu nti ‘bw’oba bw’otyo bw’osazeewo kiri gy’oli kuba ggwe ogenda okufumbirwa. Muli ba ddembe okugenda mu maaso n’enteekateeka zammwe’.

Namulondo ng’ali n’abamu ku balamu be. Nabo balema.

NAMULONDO: ENSONGA 4 EZINSIKIRIZZA OKUFUMBIRWA BUSUULWA

1. Ekisookera ddala, bazadde bange abanzaalira ddala baafa, mbaddenga mbeera na bang’anda zange abalala nga kweggamba obulamu bwa kupangirira.

2. Nafunako omusajja eyannimbalimba n’anfunyisa olubuto era ne nzaala omwana we. Okuva nga ndi lubuto okutuusa kati omusajja ono abadde antwala ng’ekitagasa gy’ali. Abadde aganzaganza abawala n’andaga nti nze tandiiko. Omusajja ono ye yantamya abasajja bonna nga buli ang’ambako mmulaba ng’oyo. Sula bwe yang’amba nabirowoozaamu ne ng’amba nti mu kifo ky’okwetunda kang’ende n’ono osanga anaabeera wange bw’omu era abawala mbalabula nti kw’ono nja kulwana.

Bazadde ba Busuulwa nga beebaza abagenyi abazze ku mukolo

3. Muvubuka alina empisa, taboggoka wadde okuyomba. Mukkakkamu nnyo era ne maama yali yamusiimirawo dda ku ssimu nga tannamulaba.

4. Sula yeesobola mu buli mbeera ya kisajja yonna era we njogerera ndi lubuto lwe lugenda mu myezi ebiri. Kino kiraga nti sizze kunoonya ssente wa Sula wabula mukwano era mmusuubiza okumukuuma n’okumuzaalira abaana bonna b’anaaba ansabye nga Mukama ye mubeezi waffe.

Omulema awasizza embooko ne yeewaana: Teri musajja ansinga kumanya mukwano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...