TOP

Sserugga akaabye nga yeetondera mukaziwe Kusaasira

By Musasi Wa

Added 10th November 2013

OMUYIMBI Fred Sserugga owa Eagles Production akaabizza abantu ng’atongoza oluyimba ‘Nneetonze maama’ mu Club Obligato.

2013 11largeimg210 nov 2013 102430870 703x422



Bya Steven Musoke

OMUYIMBI Fred Sserugga owa Eagles Production akaabizza abantu ng’atongoza oluyimba  ‘Nneetonze maama’ mu Club Obligato.

Ku ssaawa 5.00 Maama Kabina muyite Catherine Kusaasira yalinnye ku siteegi wakati mu kukubirwa emizira n’okumulangira nti ‘Sserugga omulese wa?’ n’ebirala.

Oluyimba ‘nneetonze’ lwabasaanudde.

Oluvanyuma ng’amaze okuyimbira akabanga, yayimbye oluyimba  ‘Sitima Empya’ lwe yayimba ne Sserugga era wano bba eyabadde anekedde mu ssuuti enjeru ttuku we yajjidde ki siteegi.

Nga tannatongoza, yasoose kutegeeza abawagizi be nti abadde n’ennaku nnyingi ng’asula bwomu ate nga mukyalawe bamututte olw’amawaggali y’ensonga lwaki yawalirizibwa okuyimba oluyimba olwo nga yeetonda.

Yasesezza abawagizi bwe yawaanye Kusaasira bw’alina akabina akakuba buli muntu ekimuwalirizza okumwetondera badde eka.

‘Mwami tokaaba.’ Kusaasira ng’agumya bba.

Wabula mu kiseera we yabadde ayimbira oluyimba luno lwe yayimbye ng’afukamidde, abaabadde mu kivvulu kino abamu baakaabye era bangi ne bamufuuwa nga bamutenda obusajja, okwetonda mu lujjudde.

Eno yabadde ayimba nga Kusaasira ayimiridde amutunuulira oluvannyuma naye yasse wansi n’afukamira olwo emizira ne gitta abantu nga bwe baleekaanira waggulu nti ‘Kusaasira sonyiwa omusajja’.

‘Cathy, nsonyiwa okomewo empewo enzitira mu nju...’ Sserugga nga yeetonda.

Abayimbi  ba Eagles bonna baayimbye mu lonki eno era ekivvulu kino abantu baasoose kuba baalubatu naye oluvannyuma ne beeyongera.

Abamu ku baabaddeyo.

Sserugga akaabye nga yeetondera mukaziwe Kusaasira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’