TOP

Bannayuganda 46 balinze kuttibwa e China

By Musasi Wa

Added 10th November 2013

ABAVUBUKA Bannayuganda abayivu 46, abaakwatibwa mu China olw’okukukusa enjaga balindiridde kuwanikibwa ku kalabba n’abalala baasaliddwa kusibwa mayisa.

2013 11largeimg210 nov 2013 102613280 703x422





Bya MARGARET ZIRIBAGGWA

ABAVUBUKA Bannayuganda abayivu 46, abaakwatibwa mu China olw’okukukusa enjaga balindiridde kuwanikibwa ku kalabba n’abalala baasaliddwa  kusibwa mayisa.

Abakwate bavunaanibwa kusangibwa n’enjaga oba ebiragalalagala ekimenya  amateeka ga China. Abalala b’oyinza okuyita bannamukisa baakuyimbulwa oluvannyuma lw’emyaka musanvu n’ekitundu.

ABAASIBIBWA MU CHINA: 

Abali ku kibonerezo ky’okufa kyokka nga bakyalina omukisa gw’okukyusa ekibonerezo kino: George William Nsubuga, yasibwa December 21, 2011-

  1. Bosco Tugumisirize, yasibwa  October  16, 2012-
  2. Robert Baluku yasibibwa December 13, 2012
  3. Alfred Ssempewo yasibwa February 21, 2011.
  4. Bako Maria  Piara, yasibwa July, 5, 2010
  5. Robinah Nakato-yasibwa March 10, 2011
  6. Sandra Nalumansi yasibwa April 15, 2011
  7. Josephine Mulimbi Kaczorowski yasibwa June 10, 2011
  8. Stellah Kabatoro yasibwa May,9 2012

Abaasibiddwa amayisa

  • Jimmy Sendigya Kaboba yasibwa December 21, 2011
  • Yasin Mahamood Bukenya yasibwa December 22, 2011
  • Faridu Kalema yasibwa April, 29, 2011
  • Tadoo Kirwana yasibwa April 21, 2009.
  • Felix Robert Nsubuga
  • Peter Bogere yasibwa August 27, 2009.
  • Reagan Ssekajja yasibwa November 17, 2009
  • Anthony Kalule yasibwa November 19, 2009
  • Joseph Mulindwa Mukasa yasibibwa November 19, 2009
  • Isaac Jaggwe yasibwa October 25, 2010.
  • Bonitor Naggayi yasibwa December 12, 2008
  • Jean Ndawula Kirunda yasibwa March 13, 2009
  • Lucy Awor Ocen yasibwa April, 17, 2009
  • Annet Namisango yasibwa May 20, 2009.
  • Habiba Musa yasibwa May 20, 2009
  • Nalukwago Nambi yasibwa August 13, 2009
  • Lillian Deborah Nakungu-yasibwa December 22, 2009
  • Gertrude Ndagire yasibwa October 20, 2009
  • Sera Musoke yasibwa March 11 20011
  • Stella Sewagaba yasibwa November 11, 2011
  • Alex Nanyange yasibwa nga  November 11, 2011 
  • Hindu Nantamu yasibwa nga  December 7, 2011 

Abaaweebwa ekibonerezo 

  1. Christine Nalubwama yasibwa May 15, 2008 ng’ekiboneezo ekyamuweebwa asigazzaako emyaka musanvu n’ekitundu.
  2. Lucky Bako yasibibwa nga April 17, 2009  ng’asigazza emyaka 18 n’ekitundu.
  3. Sarah Nakayiza yasibwa December 24, 2009, asigazza emyaka 19
  4. Aminsi Maliro yasibwa December 21, 2011 asigazza emyaka 12 n’emyezi musanvu.
  5. Jason Mukiibi yasibwa September 3, 2007 asigazza emyaka 17 n’emyezi mwenda.
  6. Val Musa Kisa yasibwa June,2 2008 asigazza emyaka 16
  7. Ausi Muyibwa yasibwa June, 2, 2008 asigaza emyaka 17.
  8. Nassur Salim yasibwa June 3, 2008, asigazza emyaka17
  9. Ssaalongo Ibraimu Kaweesa yasibwa June 3, 2008 asigazza emyaka 16
  10. David Maria yasibwa May,6 2010 asigazza emyaka 18
  11. Ayub Bisaso yasibwa June, 30, 2010, asigazza emyaka 18.
  12. Abaakwatibwa basibibwa mu kkomera lya Guangdong ne Dongguan. 
  13. Mildred Natuhumuza muwala wa Justus Byamuhangi ne Robinah Byamuhangi ab’e Kigango Karuhembe. Natuhumuza yakwatibwa mu   Hong Kong  mu February wa 2011 n’asalibwa ekibonerezo nga  November 23, 2011, nga waakusibwa emyaka esatu n’ekitundu  asuubirwa okudda mu 2015.  Ono ali mu  Correctional Service Department, Wanchai Tower, 12 Harbour Road Hong Kong. 

Abazadde kye boogera:

Muky. Jane Nantale ng’abaana be babiri Tonny Kalule ne Angella Nanfuka baakwatibwa asaba gavumenti ebayambe okubataasa. “Abaana baffe baali bamaze okusoma nga tebalina mirimu ne babalimba nti babatwala kukola n’ekyaddirira kubasiba. Ennaku gye nnina ng’omuzadde siyinza kugikunnyonnyola n’ogitegeera naye tusaba gavumenti etuyambe abaana baffe babataase okuttibwa.

Abazadde abamu bagamba nti balinga abaweddemu essuubi kuba ensonga zino ziruddewo kyokka tewali gavumenti ky’ekozeewo. 

Bayingira batya ekitimba

Abantu bayisa ebirango n’okutimba obupande nga bayita abaana naddala abamaze okusoma diguli okugenda mu China okusomesa abaayo Olungereza. Abavubuka engeri gye batalina mirimu basalawo okusaba era ne babatwala. 

Bwe babeera bagenda babatikka ebintu nga bagamba nti bya bang’anda zaabwe abali ebweru kyokka nga tebamannyi nti mulimu njaga. 

Batambula bulungi okutuuka mu China nga waliwo n’abamu  abasobodde okutuusa ebintu bino ne batafuna mutawaana gwonna.  

Bw’otuuka mu China ogenda okulaba nga bakukwata kyokka nga tomanyi lulimi kusobola kwetaasa. Olaba kukutwala mu kkooti n’oluvannyuma kkomera. 

Gavt. ebiyingiddemu- SAM KUTEESA 

Ensonga z’abaana abaakwatibwa mu China natandika dda okuzikolako nga nawa omubaka waffe mu China, Wagidoso obuyinza okuteesa ne gavumenti ya China nga twagala  ekkirize abakwate okuzzibwa mu Uganda mwe baba bakolera ebibonerezo byabwe.  

Enteeseganya zino zikolebwa mu buntu na mukwano Uganda gw’erina ne China era nnina essuubi nti zijja kuggwa bulungi. 

Bannayuganda 46 balinze kuttibwa e China

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...