TOP

Omwana wuuno ow’ebyamagero

By Musasi Wa

Added 11th November 2013

NGA tusemberera Ssekukkulu Katonda ayongedde amaanyi mu kukola ebyamagero. omukazi yagenze ewa Dokita amuggyemu olubuto olwabadde luwezezza emyezi musanvu era olwalumuggyeemu ne yeetambulira n’agenda n’aleka dokita asuuleyo omwana gwe yamuggyeemu mu kasasiro n’ekyo kiggwe. Ky’ataategedde nti omwana

2013 11largeimg211 nov 2013 095623723 703x422Bya Sofia Nalule

NGA tusemberera Ssekukkulu Katonda ayongedde amaanyi mu kukola ebyamagero. omukazi yagenze ewa Dokita amuggyemu olubuto olwabadde luwezezza emyezi musanvu era olwalumuggyeemu ne yeetambulira n’agenda n’aleka dokita asuuleyo omwana gwe yamuggyeemu mu kasasiro n’ekyo kiggwe. Ky’ataategedde nti omwana gwe baamuggyeemu dokita yalemeddwa okumusuula ku kasasiro n’amuguza omukazi eyabadde ayagala omwana ku 300,000/-.

Bino byabadde Iganga kyokka omwana ono kati yaleeteddwa e Mpereerwe mu kitongole ekibudaabuda abaana era ali mu mbeera mbi. 

Abakungu okuva e Kaliro baaleese omwana eyaggyibwamu nga wa myezi musanvu kyokka nga kati awezezza emyezi omwenda ne bamugaba mu kitongole kya Makerere University and God’s Mercy Children’s Centre e Mpererwe okumubudaabuda nga bagamba nti tebalina gye bamutwala ne basaba ekitongole kibayambeko. (Ebbujje bwe liti ensi eyinza etya okulyegaana okutuuka ku kino?)

Abaaleese omwana ono ye Nelson Jumire avunaanyizibwa ku mbeera z’abaana mu  Kaliro ne Harriet Mwogeza avunaanyizibwa ku mbeera z’abantu. Yaggyiddwa Kaliro ku poliisi gye yabadde akuumirwa ennaku bbiri emabega.

Nelson Jumire yayogedde ku ngeri gye baafunyeemu omwana ono: ‘Waliwo omukyala  eyagenze mu ddwaaliro lya Dr. Bamudaziza e Iganga emyezi ebiri egiyise, n’asaba okumuggyamu olubuto olw’emyezi omusanvu era omu ku basawo  mu ddwaaliro eryo, Dr. Joseph Lwanga n’akikola.

Bwe waayiseewo essaawa emu omusawo ono ng’anoonya ky’akolera omwana ono eyaggyiddwaamu nga mulamu ne zireeta omukyala Josephine omukozi w’enviiri mu saluuni emu  e Kaliro n’amusaba okumufunirayo omwana amumuguze kubanga yabadde n’obwetaavu bwe nga muganziwe amutadde ku puleesa y’omwana.

Kigambibwa nti omusawo ono yasabye Josephine Katushabe amuwe akakadde k’ensimbi amumufunire kyokka n’agaana ng’ayagala kusooka kulaba ku mwana.

Omusawo yaleese omwana eyali amufuukidde ekizibu n’amumulaga kyokka olw’embeera gye yabaddemu  yasabye omusawo amuwe 300,000/- n’akkiriza era mu nnaku bbiri zokka Josephine  yatwalidde omusawo ssente n’amuguza omwana.

Muky. Basereka ng’abudaabuda omwana Tusuubira mu ddwaaliro lya Fronrier gye yatwaliddwa okujjanjabwa.

Olw’embeera omwana gye yabaddemu, bwe yamutuusizza gy’asula e Kaliro n’amuteeka mu nnyumba mu nkukutu nga tayagala bantu bamanye kigenda mu maaso.

Katushabe amaze n’omwana ono emyezi ebiri ng’amusibira mu nnyumba’, Jumire bw’agamba.

Ayongerako nti: ‘Omuzirakisa ye yatemezza ku poliisi Josephine Katushabe n’akwatibwa  era n’atutwala ew’omusawo gye yagula omwana n’omusawo naye n’akwatibwa ne baggalirwa omusawo n’aggulibwako omusango gw’okugezaako okutta omuntu mu bugenderevu omukazi n’aggulwako ogw’okutulugunya omwana nga giri ku fayiro nnamba CRB/1005/13  ne SD:36/04/11/2013 ku poliisi e Kaliro”, Jumire bw’agamba.

Agamba nti baagezaako okukaka eddwaaliro bababuulire  omukazi gwe baggyamu olubuto ne bategeeza nti tebasobola kumanya balwadde baabwe bonna gye bava  kubanga bafuna bangi.

Kyategeezeddwa nti kati omusawo n’omukazi eyali aguze omwana balya butaala so ng’omwana eyatuumiddwa Tusuubira kati ali Mpereerwe naye embeera ye si nnungi.

 Dr. David Nyenje akulira eddwaaliro lya Frontier Medical Centre Tusuubira gy’ajjanjabirwa agamba bwati;

Tusuubira alina enjala ya maanyi abadde taliisibwa era akonzibye. Alina kkiro bbiri zokka ku myezi omwenda gy’aliko. Wabula bw’omuwa ekyokulya kyonna ng’akizza. Mmukebedde ne nkizuula nti alina obuwuka mu lubuto ne mu kifuba olw’endabirira embi gy’abaddeko’, bw’agamba.

Nnyini Ddwaaliro ky’agamba

Dr. Bamudaaziza, nnyini ddwaaliro bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti ekisooka Lwanga si dokita wabula akola gwa kuyonja ddwaaliro lino. Yayongeddeko nti  poliisi yamutadde nga terabawo musango gwe yazzizza. Kyokka DPC wa Kaliro bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti Lwanga baamutadde ku kakalu ka poliisi nti era fayiro ye eri wa muwaabi wa gavumenti, bakyanoonyereza. (IVAN WAKIBI ayongerezaako)

Omwana wuuno ow’ebyamagero

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe