TOP
  • Home
  • Bukedde Ku Ssande
  • Bannayuganda abali mu Amerika: Bangi basula ku nguudo ate abaasoma bayoola ccupa

Bannayuganda abali mu Amerika: Bangi basula ku nguudo ate abaasoma bayoola ccupa

By Musasi Wa

Added 15th December 2013

Okutambula kulaba okudda kuseetula naye abakunyumiza emboozi ya Amerika nti liri ggulu lya ku nsi bakoma kulaba bizimbe na nguudo tebalondoola Baddugavu bannaabwe mbeera gye balimu.

2013 12largeimg215 dec 2013 123931200 703x422



Bya Norman Katende, Amerika

Okutambula kulaba okudda kuseetula naye abakunyumiza emboozi ya Amerika nti liri ggulu  lya ku nsi bakoma kulaba bizimbe na nguudo tebalondoola Baddugavu bannaabwe mbeera gye balimu.

Bw'oyogera n'Abaddugavu abagenda okukuba ekyeyo mu 'ggulu' ly'oku nsi, n'obabuuza Amerika bwe bagisanga tebaagala kwogera bingi olw'okuba embeera ekaluba nnyo era bejjusa nti singa baali bategedde bandibade tebatawaana kutunda byabwe oba kwewola ssente kugenda mu Amerika.

Ng'oggyeeko abo abagenda mu Amerika nga balina emirimu mu butongole nga Joshua Mmali akolera mu kibiina ky'Amawanga Amagatte (UN), n'abalala ababa bagenze okusoma, ebitundu 95 ku 100 abasigadde embeera yaabwe y'esinga okuba embi.

“Amazima gali nti eno ensi si nnyangu lwa kuba abasinga tetwagala kwogera mazima. Bangi bali bubi nga n'okunoonya tikiti okudda eka basobole okutandika obuto tebagiraba,” Mmali bwe yang'ambye.

Omuddugavu ng'ali ku luguudo asabiriza. Abamu embeera bw'ekaluba bakomekkereza bazze ku luguudo.

Okufuna w'osula lutalo;

Mmali abeera mu New York asasula obukadde butaano (eza Uganda ekisenge kimu n'eddiiro) ku Apartment e Roosevelt mu Manhattan naye esinga okuba eya ssente entono mu New York ya bukadde busatu buli mwezi. Abakuba ekyeyo ebasinga bafuna akakadde kamu buli wiiki ku oyo afunye omukisa n'akola mu wooteeri oba mu dduuka eddene . Kino kiwaliriza abasinga okunoonya obufo ku nguudo oba mu bizimbe ebitannagwa okufuna we beegeka oluba.

Abavuga mmotoka za 'sipensulo' basula mu mmotoka zaabwe ate abalala beegatta nga babiri ne basasula ennyumba okusobola okusigaza ezinaagulira magala eddiba, n'okutambula ebimu ku bintu ebisinga okuba eby'ebbeeyi. Abamu be beegatta nabo okufuna akazigo baba tebabamanyi gye baava wabula olw'okuba mwenna muba mulina obwetaavu bw'ennyumba w'osanga ennyumba nga muteesa.

Omulala ng'atereeza w'agenda okwebaka.

Entambula n'emmere bizibu;

Entabula mu New York okozesa eza Uganda 500,000/- buli mwezi ate emmere ey'ebbeeyi entona ya 10,000 naye bw'oba oyagala okukkuta weevaamu 40,000/-.

Kyokka waliwo abaatunda ebyabwe ne bagenda nga beewaana nga bwe batayagala kwessa ddaala beewanika ku mmotoka ez'ebbeeyi oba ku bizimbe ebirungi ne babiweereza abaasigala e Kampala okubalowoozesa nti kiri bulungi.

Naye bw'obasaba obakyalireko  obuzibu buba butuuse. Awo nga amasimu gatandika okubuukako oba emirimu okutandika okweyongera. Embeera ya 'jjangu onkwekule' tekoma ku bantu bali kuno bokka, naye obulimba bwe buvaako abali kuno okutunda ebyabwe nga basuubira okuba obulungi mu Amerika.

Omu ku Bannayuganda Ben Mugalula ali mu Amerika agamba nti, “waliwo gwe baalagirira agende ku sitenseni y'eggaali y'omukka n'amalawo ennaku nnya bwe yalaba nga ssente zimuggwaako n'agenda mu kkanisa eyamuyamba okufuna w'asula ng'abaamuyita tabalabako. Oluvannyuma lwa wiiki yasobola okufuna omwami kitaawe gwe yayamba okugenda mu Amerika n'amutwala,” Kyokka abasinga tebalina mukisa ng'ono beesanga basibidde ku nguudo ate ng'eyo obudde buba bunnyogoga ne gujabagira ssaako n'okufuna ekyokulya.

Abalala obasanga ku nguudo nga basabiriza oba beewandiisa ng'abatalina waakusula basobole okufuna obuyambi naye buno tebubasobozesa kubaawo. Ekyewuunyisa osanga abasawo, abaali bamaneja nga balonda macupa basobole okufuna ekyokulya ate abalala bakondakita.

Waliwo n'abo embeera be yayonoonekera abavubuka n'abawala ne batandika okwetunda, okutambuza enjaga, okufera n'okubba mmotoka oba pikipiki ne bazitunda ebweru wa Amerika.

Omuwandiisi waffe Norman Katende mu maaso g'amaka ga Pulezidenti wa Amerika aga White House.

Abasinga bakwatibwa kyokka nga baalimba obuzaale bwabwe ekibonerezo bwe kiggwaako gwe bandibadde bakomyawo mu Uganda bamutwala Ivory Coast gye yalimba nti gy'ava.

“Teweewuunya nnyo nga tokyawuliza muganda wo. Oluusi basobola okuba nga baabatikka ne babatwala mu nsi endala nga Senegal oba Nigeria. Ate abalala bakyusa mannya. Munnakenya Ebuya Eddie, gwe nasanze ku Times Square bwe yagambye.

AMAKA OKUSASIKA;

Abamu ku bagenda ne bakyala baabwe wadde oluusi baba n'empapula nga Green Card, okuyimirizaawo amaka oluusi kikaluba abakazi ne bapaala n'Abazungu amaka ne gasasika. Naye si buli Muddugavu avudde kuno ali mu mbeera mbi, waliyo abali obulungi era nga buli kimu basobola okukyetuusaako.  Wakati mu mbeera eno, Bannayuganda bakyatunda ebyabwe okufuna viza ku 360,000 buli mulundi lwe balabikako ku kitebe ky'Amerika. 

Bannayuganda abali mu Amerika: Bangi basula ku nguudo ate abaasoma bayoola ccupa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...