TOP

Polof. Bukenya asudde ttawulo 5 ne beesowolayo

By Musasi Wa

Added 23rd November 2014

Bataano beesowoddeyo okudda mu kifo ky'omubaka wa Busiro North mu Palamenti ekirimu eyaliko omumyuka wa Pulezidenti Polof. Gilbert Bukenya.

2014 11largeimg223 nov 2014 161416017 703x422

Bya ROGERS KIBIRIGE


Bataano beesowoddeyo okudda mu kifo ky'omubaka wa Busiro North mu Palamenti ekirimu eyaliko omumyuka wa Pulezidenti Polof. Gilbert Bukenya.

Ku bano kuliko owa Dp omu n'aba NRM bana nga buli omu agamba nti y'asaanidde okuba omubaka w'abantu ba Busiro North. Bonna balinda kugenda mu kamyufu k'ebibiina byabwe okusalawo anaaweebwa tikiti okuvuganya okuva mu kibiina ekirala.

1 YING. HUSSEIN KASTA BUKENYA (DP)

Alina diguli mu bwayinginiya w'amasannyalaze n’endala mu byobusuubuzi. Mu kiseera kino asoma mateeka. Kasta yavuganya Polof. Gilbert Bukenya mu 2011 wabula n'awangulwa n'addukira mu kkooti eyasazaamu Polof. Gilbert Bukenya n'emulagira okuliyirira Bukenya obukadde 107 era okulonda ne kuddibwamu era Polof. Bukenya n'awangula.Kasta agamba nti; “henda kusookera ku byobulimi era natandika dda okugabira abatuuze ensigo za kasooli okulwanyisa enjala. 

Abalimi abanaakola obulungi henda kubagabira enkoko ez'olulyo ze bagenda okuliisa kasooli gwe beerimidde.hhenda kuzimba enzizi ez'emidumu era naakazimba enzizi 16 mu ggombolola y'e Masuliita, Namayumba ne Kakiri abatuuze okuwona okunywa amazzi ag'ebidiba.

Njagala okutumbula ebyenjigiriza nga ntandikira mu kufuna abakugu okwongera okubangula abasomesa baffe kuba kati ekitundu kyaffe kye kisinga okukola obubi mu P.7, S.4 ne S.6 wadde disitulikiti yaffe y’emu ku zisinga okukola obulungi mu ggwanga.

Nsuubiza okugenda mu maaso n'enteekateeka zange ez'okukumaakuma abavubuka nga mpita mu kubategekera empaka z'emipiira ez'ekikopo ekimanyiddwa nga Kasta Cup ezibeerayo buli luvannyuma lwa myaka ebiri.”

2 YING. DENNIS GALABUZI SSOZI (NRM):

Ono mutabani w'omugenzi Asaph Ssozi ssentebe w'eggombolola y'e Masuliita eyasooka. Alina diguli bbiri mu bwayinginiya w'enguudo, ebizimbe n'amazzi era nga yakolerako mu minisitule y'ebyamazzi okutuusa lwe yatandika okwekozesa.

Ye mumyuka wa pulezidenti wa Uganda olympics committe era ng'atuula ne ku bukiiko bw'emizannyo e Mmengo era agamba nti; “Essira njagala kulissa ku kutondawo bibiina bya bwegassi mu Busiro North okusobola okutumbula ebyobulimi n'okubifunira obutale, abalimi bongeze ku nnyingiza yaabwe.

Nja okugatta omutindo ku byobulimi nga mpita mu makampuni ag’enjawulo okuli n’agange abalimi basobole okutunda ebintu ebiri ku mutindo ate bafunemu n'ensimbi ezeegasa.
Natandikawo ekikopo ky'omupiira oguwakanirwa ttiimu ez'enjawulo okuva mu miruka gyaffe era muno abavubuka mwe beemanyira ne bafuna n'emikwano egibatuusa ku mirimu.”

Olukalala lw'abesimbyewo

3 DAUDI MUKIIBI BYEKWASO (NRM);

Alina diguli mu byobulimi n’ebyebibira. Ye kansala w’eggombolola y'e Kakiri ku disitulikiti e Wakiso era ye Sipiika wa kanso. Mukiibi mulimi alina ekyuma ekikuba emmwaanyi n'ekikuba kasooli e Kakiri.Alina ebibira n'ebintu ebirala.

Agamba nti, Agenda kutumbula ebyobulimi ng’abyagazisa abantu naddala abavubuka kuba akizudde birimu ssente era naye mw’aziggya. Ngabira abatuuze endokwa z'emmwaanyi okuzzaawo emisiri gyabwe. “Njagala okugatta omutindo ku byobulimi, mu kusooka abalimi mu kitundu kya Busiro North baali badondolwa olw'okutunda ebirime byabwe nga tebyongeddwaako mutindo.

Kuno nja kuzzaako okutumbula ebyobulamu, nga nnyongereza ku malwaliro omubaka waffe g’azimbye nzimbe ne waadi z'abakyala mwe bazaalira kuba kati abakyala bazaalira mu waadi y’emu omubeera n'abalwadde abalala.
Okukubiriza abazadde okugemesa abaana n'okutwala mu maaso kaweefube w'okulwanyisa endwadde eziva ku bukyafu ne siriimu.

Essira eddala hhenda kulissa ku byanjigiriza era nja kugulira kugulira amasomero olupapula lwa Bukedde omubeera 'pass Ple' luyambeko abayizi okwetegekera PLE.”

4 SARAH NAMUGGA (NRM);

Alina diguli mu kubala ebitabo era ye kansala omukyala akiikirira Masuliita ku disitulikiti. Namugga agamba nti; “Njagala kutandikira ku byanjigiriza ebiri wansi ate abaana bangi bakoma mu P.7. Njagala okufuna emikwano tuzimbe amasomero n'okutandikawo aga siniya n'amatendekero ag’emikono.

Okutumbula ebyobulimi nga nfunira abalimi abakugu abagenda okubabangula mu nnima n'ennunda y'ebisolo ey'omulembe ate bakungule kinene tusobole okulwanyisa enjala n'obwavu. Kuno hhenda kuzzaako okutumbula embeera z'abakyala bakulaakulanye amaka gaabwe n'okukuza obulungi abaana.”

5 OMUBAKA PATRICK NAKABAALE (NRM)

Ono ye mubaka akiikirira abavubuka b'omu Buganda mu Palamenti ekifo ky'ayagala okuleka adde mu Busiro North. Alina diguli ne dipuloma mu byenfuna era mulimi. “Obukugu bw’enfunye mu kukiikirira abavubuka mu palamenti bunsobozesa okukiikirira abatuuze b'omu Busiro North ne nkola ku bizibu ebibaluma.

Njagala kulwanyisa bbula lya mirimu mu kitundu era nga kino nakitandikako dda. Njagala okubunyisa amasannyalaze mu kitundu nga mpita mu nteekateeka ya gavumenti okugabunyisa wonna. Nsuubiza okuyambako ku malwaliro gaffe nga ngasakira okuva mu gavumenti n’okulaba ng’obuweereza bweyongera.

Okukumaakuma abavubuka nga mpita mu kutumbula ebyemizannyo, okubafunira sikaala n’okubagatta ku nteekateeka ya gavumenti ebangula abavubuka mu mirimu gy’emikono. Nsuubiza okutereeza amakubo nga nkwatagana n’abavunaanyizibwa mu kugakola mu disitulikiti yaffe kisobozese abatuuze okutambuza ebyamaguzi.”

 

Polof. Bukenya asudde ttawulo 5 ne beesowolayo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa