TOP

Eddogo ly'abayimbi lyangoba ku nnyimba z'ensi-Samalie Matovu

By Musasi Wa

Added 1st February 2015

OMUYIMBI Samalie Matovu, eyakuyimbira Omukwano gunyuma bwe guba gutandika, n’abula wuuno Bukedde Ku Ssande amuguddeko n’ayogera wa gye yeekwese na lwaki.

2015 2largeimg201 feb 2015 120915647 703x422

Bya PROCOPIOS LUMU

OMUYIMBI Samalie Matovu, eyakuyimbira Omukwano gunyuma bwe guba gutandika, n’abula wuuno Bukedde
Ku Ssande amuguddeko n’ayogera wa gye yeekwese na lwaki.

Matovu muwala w’omwami n’omukyala Gerose Matovu ab’e Munyonyo. Yasomera e Nakasero Primary School, St. Balikuddembe Mitala Maria ne ku APTEC gye yakugukira ebya kompyuta.

Matovu yasangiddwa mu kkanisa y’omusumba Imelda Namutebi e Lugala n’awayaamu naffe.
Okuyimba nakutandikira mu kkanisa ya Kisugu Church nga ndi muto kuviira ddala e Nakasero mu P.1 ne 2 we
twabeereranga mu kkwaaya.

Eddogo n’obutayagaliza ebiri mu bayimbi biremesezza abayimbi abalungi bangi era be mutalaba be basinga
obungi.

Nze akkiririza mu Katonda nali siyinza kubisobola kwe kuddayo mu kkanisa nnyimbe eza Mukama era gyendi. Oluyimba lw’omukwano gunyuma lwanteeka ku maapu nga buli kivvulu baagala nduyimbe ekyansanyusa kuba nali nfuna ku kasente akeegasa.

Ettutumu lye nafuna wano natandika okulowooza ku nnyimba ez’ensi n’eza Mukama. Teri muyimbi ayagaliza
munne kuba bulungi era ekimu ku bintu bye nzijukira, olunaku olumu n’atwala akatambi kange ku mukutu gwa leediyo ogumu ne nsasula ssente bankubire ennyimba zange.

Ekyammala enviiri ku mutwe omwami gwe nawa akatambi kange yahhamba nti awulira ensonyi naye alina okuhhamba nti waliwo omuyimbi eyali amuwadde akakadde k’ensimbi aleme okukuba ennyimba zange nti
era yali amusuubizza okumwongera ssente endala singa omulimu aba agukoze bulungi.

Muyimbi munno ng’ajja mu kivvulu n’ekigendererwa akukwate mu ngalo akusiraanye naye Mukama wa maanyi ebimu ku bino nabitebuka.

Ebizibu bino byonna byansindika ne nzirayo mu kkanisa gye natandikira era gyendi n’ennyimba nnina mpitirivu.
Abantu balowooza nti okuyimba nakuvaako nti oba oli awo ne mu ggwanga navaamu, nedda gyendi e Lugala mpeereza Mukama n’okuyimba.

Omukwano gunyuma lwe luyimba lwe nasooka okuyimba nga lwa nsi nga mu luno nali ngezaako kuwa bafumbo bubaka. Nali mmaze ebbanga nga ndaba emikwano egikaddiye ng’olumu abantu beefumita n’ebiso ekintu ekibi era kwe kuyiiya oluyimba luno. Ng’oggyeeko omukwano, nali nnina ennyimba endala omuli Destiny to win, Omusaayi gwa yeesu gwa Yesu n’endala 

Eddogo ly''abayimbi lyangoba ku nnyimba z''ensi-Samalie Matovu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja