TOP

Ebizibu abakazi bye bafuna mukwambala obuwale bw''omunda obukadde

By Musasi Wa

Added 2nd August 2015

OMUBAKA wa Palamenti yeekyaye n’asitula obuwale bw’abakyala obw’omunda obukozeeko n’abutwala mu Palamenti olwo n’abuuza gavumenti ky’egenda okukolera abakazi abafa endwadde ze baggya mu kugula obuwale buno obukozeeko kyokka nga tebasobola kubwesonyiwa kubanga bwa bbeeyi ntono ate ng’obuwale obupya

2015 8largeimg202 aug 2015 112313550 703x422

Bya VIVIEN NAKITENDE

OMUBAKA wa Palamenti yeekyaye n’asitula obuwale bw’abakyala obw’omunda obukozeeko n’abutwala mu Palamenti olwo n’abuuza gavumenti ky’egenda okukolera abakazi abafa endwadde ze baggya mu kugula obuwale buno obukozeeko kyokka nga tebasobola kubwesonyiwa kubanga bwa bbeeyi ntono ate ng’obuwale obupya buli ku buseere.

Bino byabadde mu Palamenti ya Zimbabwe kyokka ekiri e Zimbabwe kye kiri ne wano ewaffe. Abakazi bangi wano bettanidde okukozesa obuwale bw’omunda obukozeeko buyite emivumba.

Obuwale buno obukozeeko buba bukadde nnyo nga ne wakati waabwo langi yakyuka dda ne buguba ate obulala nga bukunjubuse. Abakyala abakozesa obuwale buno bagamba nti buwangaala ate nga bugula ssente ntono anti bugula okuva ku 100/- okutuuka ku 1,000/- Ababusuubula bagamba nti bukola nnusu ku nnusu.

JOSEPHINE NAKKONDE omusuubuzi w’empale z’abakyala ez’omunda enkadde mu katale e Kibuye agamba: Nasookera mu kutunda mpale mpya wabula nagenda okulaba nga nsigalira emabega anti nga bannange abatunda enkadde bamazaawo mangu nga nze ntunula nange ne nziyingira.

Empale enkadde zikola nnusu ku nnusu, nsuubula ez’abakazi n’abasajja era nzitunda 1,000/- nzisuubula wakati wa 200/- ne 500/- ate bazigulira ku sipiidi nnene era olunaku nnyinyuka ne ssente ezitakka wansi wa 50,000/-.

Oluusi ziba zikaddiye nnyo naye ziba ngumu nange ze nnyambala  era sizifunangamu buzibu kuba za layisi ate mpangaazi. Kye nkola nzifumbira amazzi ne nzinnyikamu nga ntaddemu ssabbuuni w’obuwunga ne jik ate sizambala nga sizigolodde awo obuwuka bwonna buba bufudde.

SHARIFA MIREMBE musuubuzi w’obuwale obukadde mu katale e Wankulukuku: Nze bye mbufunyeemu sibirojja oba waakabuteekawo ku mudaala ng’abasuubuzi bayiika, endibota gye ngula 100,000/- nsobola okugikolamu 300,000/- mu lunaku lumu oba bbiri.

Nsuubuza ez’abakazi, abasajja n’abaana abato okuva ku 300/- - 500/-. Sikoma ku kuzisuubuza nange ze nnyambala era nga nzooza mu mazzi agookya omuli ssabbuuni w’obuwunga ne jik nga sinnazambala. N’abangulako mbakubiriza okugoberera enkola eno.

Kyokka oluusi tufuna Abazungu ze baayambalamu ennyo nga zonna zaaguba wakati n’okuyulika naye era ezo kye nkola nzitunda layisi wakati wa 100/- ne 200/- era nazo bazitwala balwana kuba bagamba ziwangaala ate munda teri alabayo. Ensangi zino kyangu okusanga omukazi nga bukya azaalibwa tayambalanga ku kawale kapya, nga nnyina yamugu¬lira bukozeeko okuva nga yaak¬agwa ku nsi ate naye bwe yakula n’atandika okubwegulira.

SULAINA NALUWOOZA w’e Kitebi: Wadde nkimanyi nti empale enkadde zibeera nnyambalemu ate nga ncaafu naye teri ayinza kuzinzigyako era nzifumbira amazzi oku¬sobola okutta obuwuka.

Ziwangaala ate nga za ssente ntono, empale empya eya layisi ennyo etandikira ku 2,000/- ate awo nga nsobola okufunamu enkadde nnya ate nga mpangaazi, empale empya zibeera nnafu nnyo era ogyambalira ennaku mbale ng’etandise okuyulika ekitali ku nkadde.

Ate okusinziira ku mbeera y’ebyenfuna eri mu ggwanga obwavu bungi, awo ffe tujja kufiira ku nkadde kasita sizifunangamu buzibu bwonna.

Empale enkadde ezaasangiddwa mu katale.

HUSSEIN SSERUNKUUMA, omusuubuzi w’empale empya mu katale e Wankulukuku agamba: Empale enkadde za bulabe naye abakyala bangi tebakimanyi kuba bazijjumbira olwo ffe abatunda empya ne tuba nga tetukola nnyo. Ez’abaana ze zisinga okutambula. Empale empya ziva ku 2,000/- okutuuka ku 15,000/- okusinziira ku mutindo gwayo naye kizibu abantu okugula empya ng’enkadde za layisi abasinga basalawo okugula enkadde okukekkereza.

Nze ndowooza nti endwadde z’obukaba mu bakyala nga kan¬dida zisinga kuva ku mpale nkadde ze bambala. Nkubiriza abakyala n’abantu bonna okwettanira ebintu ebipya wadde ekikadde kibeera kya layisi naye ate oba weegu¬lidde ndwadde oluusi eziyinza n’okukutwalako ssente ennyingi okujjanjaba.

JEREMIAH GWAYAMBADDE omusuubuzi w’engoye mu katale e Namasuba ye azoogerako bwati: Si kirungi kwamba¬la ngoye nkadde, lwa mbeera ya nsi nti abantu baavu ate enkadde za bbeeyi ntono.

Ekisinga okuba eky’obulabe abantu baffe balina obuta¬manya bungi olugula empale zino enkadde bayoza ng’abayoza en¬goye za bulijjo ne bambala ek¬intu eky’obulabe kuba empale ezo enkadde aba kasasiro w’abazungu gwe batusuulira, ddala weewuunye abantu beenyinyala naye n’oteenyinyala kwambala mpale munno gy’ayambddemu?

Nsaba ekitongole kyaffe eky’omutindo ekya UNBS kiyambeko ku mutindo gw’ebintu ebiyingira mu ggwanga kuba empale nga zino tezisaanye kubeera ku katale za bulabe eri abantu baffe.

OMUSAWO BY’AGAMBA

Dr. Jeninah Ssempewo owa Nsambya Nursing Home annyonnyola: Empale ennyambalemu za bulabe era abakyala tebasaanye kuzeesembereza kuba ne bwe bazooza mu ngeri gye balwoooza nti etta obuwuka si buli buwuka nti buvaamu n’okwoza oba okugolola, empale zino zibeera zikaddiye era nga zivaamu obuwuzi obutonotono bw’otosobola kulaba obusobola okuyingira mu bukyala ne bugenda mu mu¬biri ne bumuleetera endwadde okuli n’eya kkansa naddala ow’omumwa gwa nnabaana.

Endwadde endala kuliko okusiiyibwa mu bitundu by’ekyama, okuvaamu amazzi agawunya mu bitundu by’ekyama, okufuna amabwa n’ebizimba mu bitundu by’ekyama, kandida n’endwadde ez’ekikaba n’endala.

AMAZZI AMAFUMBE TEGATTA BUWUKA?

Wadde abakyala abamu bagamba nti bazifumbira amazzi naye basaanye okumanya nti empale zino ziba zikooye era nga zituuse okusuulibwa, zivaako obuwuzi obutono ddala bw’otosobola kulaba obuyingira munda nga buyita mu buky¬ala bw’omukazi ne buleeta endwadde.

Obuwuka obumu obw’endwadde enzibu nga kkansa ne kandida tebumala gafa era tebusobola kufa na mazzi gookya, busigalamu ne bukuleetera endwadde.

Singa omuntu eyasooka okwambala empale zino abeera n’endwadde y’ekikyala yonna, endwadde zonna ezikwata¬gana ku bukyala bw’omukyala zisobola okuva ku muntu eya¬sooka okwambala empale eyo ate ne zidda ku ggwe azzeemu okugyambala.

Empale empya ze zokka ezisaanye okwambalwa naddala ku bitundu by’omukyala ebyekyama wabula nazo zirina okuba nga za ppamba kuba zino zisobola okunywa amazzi amatono agava mu bitundu by’ekyama ne gakala so nga eza nayironi tasobola ate ekiyinza okuvaamu obulabe n’endwadde endala. N’empale empya nazo zirina ekiseera kasita ogiraba ng’ekooye ng’ogireka ng’ogula endala.”

Omukungu omu yagambye nti singa omusajja olaba mukazi wo ng’aguze akawale akakozeeko, manya nti ggwe nga omusajja olemeddwa. Naye ate watya nga n’omwami naye era obuwale obukozeeko naye bw’agula! Olwo ani aba alem

 

Ebizibu abakazi bye bafuna mukwambala obuwale bw''omunda obukadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika nakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.

Johnfb 220x290

Njagala alina empisa

Njagala eyeetegese okukola obufumbo, alina empisa n’omulimu gw’obuvunaanyizibwa okuva ku myaka 30 n’okweyongerayo....

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...