TOP

Mmange yafa alaba ttivvi

By Musasi Wa

Added 9th August 2015

KYANTWALIRA ebbanga lya myezi esatu nga sikikkiriza nti ddala maama yafa, namala kulaba nga sikyagula bintu bye namuguliranga olwo ne nzikiriza nti ddala si kirooto, mmange yanjabulira.

2015 8largeimg209 aug 2015 101030443 703x422

Bya HASIFAH NAAVA

KYANTWALIRA ebbanga lya myezi esatu nga sikikkiriza nti ddala maama yafa, namala kulaba nga sikyagula bintu bye namuguliranga olwo ne nzikiriza nti ddala si kirooto, mmange yanjabulira.

Emmanuel Kigozi Ssempala 61, ow’e Ndejje Aidan anyumya ku nnyina omugenzi Maria Ludoviiko Namutoggo Ssempala nga yali mutuuze w’e Bukulula Masaka lwe yamwabulira nga November 22, 2010.

Natandika okutegeera nga kitange yafa dda nga ndi ne maama kuba ewa kitange yanzaalayo nzekka. Bwe natandika oku¬soma maama yanona mwannyina okuva e Nkoni n’atandika okunsomesa ennukuta ezisookerwako.

Bwe nagenda mu pulayimale maama yankeezanga nnyo n’ansomosa omugga gw’e Kyannaggolo era nga nze omu ku baana abaasookanga ku ssomero. Bwe natuuka mu P.4 ne bampa ogw’okukubanga akade era kino nakibeeramu okutuuka mu P.7 nga nsoma ku St. Damian’s pulayimale.

Maama yayagalanga nnyo nsome wadde nga yali teyasoma. Yafubanga okukebera ebitabo byange n’alaba oba bangolola butuufu oba ebintu mbigwa bugwi.

Mmange yali mukyala atasangika alemera ku kigambo kye. Olw’okuba nti yali yanzaala omu yantegeeza nti ajja kugumira okulya entula, amaluma ssaako n’okuyita obute okutuusa lwe ndimala okusoma era nga nvuddemu omuntu gwe yali ayagala era kino yakituukiriza.

Ebbanga nga lyetoolodde maama namuleka mu kyalo ne nzira mu Kampala olw’obuvunaanyizibwa bwe nalina.
Olw’omukwano omungi gwe nalina eri maama bwe natandika okukola buli mwezi nga nnina okugenda e Masaka ne mmukyalira naye ng’ekisinga okunnyiiza nga buli kintu ky’omugulira akikwata n’akigaba. Nga bw’omubuuza lwaki akikola bwatyo akuddamu nti ye tasobola kubeera na bintu mu nnyumba ng’abalala tebalina.

MMUGGYA MU KYALO

Mu 2001 maama lwe yatandika okulwalira ddala naye yali tahhambye. Waliwo ebintu bye nalina okukwasaganya e Masaka era nga ndi waakusula wuwe nga mbimalirizza. Nagula ebintu nga mulimu n’enva ne mbiweereza ewa maama olwo nze ne hhenda ku byange. hhenda okudda olw’eggulo nga kirabika maama ali bubi kuba n’okuggulawo oluggi yeewalula bwewaluzi kyokka ate nga tayagala ntegeere nti mulwadde. Nasiriikirira era nagenda okutunula ku mmeeza ng’ebintu bye naweerezza bikyali mu ntebe nga bwe byazze.

Mu kaseera ako saakola kintu kirala kyonna okuggyako okumuteeka mu mmotoka ne mmutwala ewa
Dr. Musisi e Bunamwaya n’amukebera gye yazuulira nti akalulwe kaali kalwadde. Baamujjanjaba n’atereera era awo saamukkiriza kudda mu kyalo nga ntya nti ayinza okufiira mu nju.

Nga wayise emyaka munaana yatandika okulumizibwa amagulu naye nga tegamugaana kukola mirimu gye. Namutwala e Mulago ne bamukebera amagulu omusawo gye yantegeereza nti baali tebalina kyakugakolera okuggyako okumusabira obusabizi obulumi bukkakkane.

Omugenzi Namutoggo

MAAMA AVA MU BULAMU BW’ENSI

Mu 2010 yatandika okugondera ddala nga bw’omanyi abakadde ekyampaliriza okumutwala ewa Dr. Kaboggoza ne bamukebera buli kimu nga talina tabbu.

Ekyammala enviiri ku mutwe ku lunaku olw’okusatu wiiki maama mwe yafiira yafunamu omusujja ne mmuddusa ew’omusawo n’agamba nti yali ajja kuterera era bwe twali tuva e Mulago olwatuuka e Wandegeya n’ahhamba nti, ‘Kale wanguliranga ku bbiya naye oba ensangi zino waba ki.’ Ne tudda awaka nga talina tabbu. Ku Lwomukaaga nagenda ne ngula buli kimu nga bwe nateranga okukola ne mbimutwalira era ne ndya naye ekyeggulo oluvannyuma ne mmusiibula.

Mu biseera ebyo yali amanyi n’okugaana emmere singa mpisaawo ennaku eziwera essatu nga sigenzeeyo era nga mmala kutuuka n’alyoka alya.

Ku Mmande nga navuddeyo ku Lwomukaaga nali waakugendayo naye ne nfuna abagenyi. Namukubira essimu ne mmugamba sigenda kusobola kugendayo ne mmuwa n’ensonga. Yanziramu nti, kale wabula mba ndi awo olweggulo mukwano gwange Zziwa n’ankubira essimu n’ahhamba nti, ‘Oliwa tugende tulabe ku maama?’ Ono namuddamu nti bw’oba oya¬gala okugenda okumulaba genda, bulijjo hhenda naawe?

Ekyanneewunyisa waayitawo essaawa nga emu yaddamu n’ankubira n’ahhamba nti naawe Ssempala tugende tulabe ku maama. Mu kaseera mpaawo kaaga hhenda okulaba nga mukyala wange ava mu kisenge amaze okwambala gomesi ne mmanya nti kirabika waliwo obuzibu naye tebaayagadde kuhhamba.

Nasiriikirira olwamala ne mmugamba tugende.
Bwe twatuuka e Nalumunye gye yali abeera ne tubuuza abaana ogubadde ne batugamba nti, abadde alaba ttivvi n’abayita n’abagamba nti bino ebizzeeko byammwe nze ebyange biweddeko. Bwe yeewunzika mu ntebe otulo ne tubeera ng’otumutwala ne bamuggyawo okumutwala mu kisenge yeebake nga naye agonda bulala. Baagenda okumutuusa mu kisenge nga mufu”.

Awo we nakitegeerera nti okujjanjaba osobola naye obuyinza Mukama Katonda y’abulina. Kye nakola ne nkubira omusawo we eyahhamba nti, ‘Mmwe temumanyi muntu aba afudde kansooke nzije nkakase’, era bwe yajja n’akakasa nti afudde.

Twakola enteekateeka ne tugenda ne mmuziika naye nga sikkiriza nti yafudde. Bonna abaali bammanyi engeri gye nali njagalamu maama kirabika banneewuunya okuba nga ndi mugumu ne mu kwogera ku mugenzi. Nayogerera eddakiika nga 20 nga sirina tabbu yonna.

Okutuusa nga wayise emyezi esatu olwo lwe ntandika okuwulira obulumi, ng’ebintu bye nali mmanyidde okumugulira ne mmutwalira sikyabigula. Namala emyezi ebiri nga siva waka nga nkungubaga.

ANZIJIRA
Okuva lwe yafa mu November wa 2010 siyisangawo myezi esatu nga simuloose n’okutuusa kati. Olwasooka naloota nga hhenzeeko ku biggya gye twamuziika, hhenda okutuukayo ng’entaana yeggudde, nga ne sanduuko mwe twamuziika nayo yeebikkudde. Yalimu ng’amwenya era olwamala n’afulumamu.

Olumu mmuloota tuli ku mikolo, oba mu Klezia, olumala ng’ate abula. Lwe nsembyeyo okumuloota namuloota ng’azze ewange n’ahhamba nti, ‘Nzize kubalabako mbadde ndudde okubalabako.’ Namuzzeemu nti tusanyuse okukulaba kati mba hhenda okumuggulira ayingire kye nva nzijukira naye ono gwe njogera naye yafa dda era awo we naviira mu tulo
 

Mmange yafa alaba ttivvi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa Bobi Wine luli mu...

POLIISI eyiye abaserikale baayo mu Ndeeba okuziyiza olukiiko lwa Bobi Wine lw’ategeseeyo olwaleero; okwebuuza ku...

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere