TOP

Chameleone azzizza ekivvulu kya Konshens engulu

By Musasi Wa

Added 30th August 2015

WAKATI mu bantu okutolotooma olwa Konshens okuva amangu ku siteegi, Jose Chameleone yamumatizza n’akomawo.

2015 8largeimg230 aug 2015 123658857 703x422

Bya Martin  Ndijjo

WAKATI mu bantu okutolotooma olwa Konshens okuva amangu ku siteegi, Jose Chameleone yamumatizza n’akomawo.

Ekivvulu kyazzeemu ebbugumu nga Konshens ayise Busy Signal eyasumuludde endongo ebiwala ne bisituka mu butebe nga bwe biwaga.

Abadigize nga bayaayaana okukwata ku Konshens Mu katono ye Busy Signal.

Chameleone y’omu ku baayimbye mu kivvulu kino ekyateekeddwaamu ssente aba Pepsi ekyabadde ku Cricket Oval e Lugogo ku Lwokutaano era yayitiddwa Konshens. Konshens olwalangiridde nti “kambaleetere mukwano gwange omuyimbi Munnayuganda, Jose Chameleone abayimbiremu…” abantu ne bacamuka.

Chameleone we yalinnyidde ku siteegi nga zigenda kuwera ssaawa 5:00 ez’ekiro n’ayimba Walewale ne Gimme Gimme, ekivvulu ne kikwata omuliro!

We yajjidde nga Konshens ayimbye ennyimba eziwera kyokka ng’abantu tebazitegeera kubanga bazze beesunga ennyimba ez’amaanyi ze bamumanyiddeko okuli Gal A Bubble, Do Sum’n, Simple Song kyokka bwe yazikubye ate ng’azikutula yaakazitandika.

Bakira abantu bamusaba nti: Tukubire ‘Ow’olubina ow’olubina ow’olubina lwe….. naye nga tategeera bye boogera. Olwo baabadde basaba luyimba “We no worry about dem” nga luno Amooti Omubalanguzi lwe yaddamu n’alutuuma “Ow’olubina”! Konshens bwe yatuuse okuluyimba, n’alusala nga lwakatandika ne bava mu mbeera.

Chameleone ne Konshens

Wabula Busy Signal baamumatidde naddala bwe yasuddeemu ennyimba Reggae Music Again, One More Night ne Sweet Love.

‘Tweyagala ffekka ffekka’ Meddie Ssentongo ne Fabiola

Chameleone we yamatirizza Konshens okudda ku siteegi abantu baabadde beecanze nga n’omugenyi omukulu Kasule Lumumba Ssaabawandiisi wa NRM bagezaako okumulemesa okwogera. Muky. Lumumba ye yakiikiridde Pulezidenti Museveni.

 

Chameleone azzizza ekivvulu kya Konshens engulu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.