TOP

‘Omuzimu gwa baze gwangoba mu nju nga nzadde mu musajja omulala’

By Musasi Wa

Added 9th September 2015

ENSI otuuka ekiseera n’ogiraga munno ng’atagiraba! Kuba ekyatuuka ku Annet Nakitende, 35, omutuuze w’e Kammengo mu disitulikiti y’e Mpigi kirina kumala kukutuukako n’okkiriza nti kisoboka!

2015 9largeimg209 sep 2015 151048640 703x422

BYA PADDY BUKENYA

ENSI otuuka ekiseera n’ogiraga munno ng’atagiraba! Kuba ekyatuuka ku Annet Nakitende, 35, omutuuze w’e Kammengo mu disitulikiti y’e Mpigi kirina kumala kukutuukako n’okkiriza nti kisoboka!

Emboozi ye y’ekakasa nti ddalaabantu bafa mibiri, naye emyoyo gyabe giba naffe essaawa yonna! 

“Taata w’abaana eyafiira mu kabenje yali angoba mu nju nga nzadde mu musajja omulala. Omuzimu gwe gwakonkonanga buli lunaku ne gugezaako okunkozesa, ekyannyamba kudduka mu nnyumba n’okweyambisa amagezi abantu ge bampa,” bwatyo Nakitende bw’atandika emboozi ye.

Agamba: Baze Joseph Ssentamu yali musomesa mutende. Yafa kabenje mu 2009 bwe yali agenda okusomesa. Ye yali akulira St. Peter’s LusunsaPrimary e Nkozi.

Wadde nnagezaako okwekuuma nga taata w’abaana bange ababiri afudde naye nnatuuka ne ntendewalirwa, ne nfuna omusajja gwe nnazaalamu omwana omulala.

Naye kino kyandiba ng’omugenzi kyamunyiiza kuba yatandika okunnumba mu nju gye yandekamu. Yakonkonanga buli lunaku ku ssaawa 3:00 ez’ekiro, naye nnabanga sinnaggulawo nga ng’enda okuwulira yayingidde dda!

Olwo ng’atandika okunkwatirira ng’ayagala okunkozesa ekintu ekyantiisanga ennyo ne nzirukira ku muliraano gye nnasulanga n’abaana bange nga ntidde mu nju.

Wabula bwe nnanyumizaako ku bantu abakulu abamu ne bampa amagezi nti ng’endeko ku musawo w’ekinnansi wabula ne ng’aana olw’okuba n’eddiini.

Kuba ne baze yali musajja Mukatoliki nnyo, kale ne ng’aana okugendayo. Kyokka bwe nnannyonnyolamu omu ku mikwano gyange n’angamba nti nnakola kikyamu nnyo okudduka mu nju olw’omuzimu era n’ampa amagezi nti ng’ende nneebaake, bwe mmuwulira ng’akonkona ntandike okumuyombesa ekintu ekyankolera n’okutuusa kati ke kalembereza.

Omulundi gwe yasembayo okujja n’obukambwe nga nzizeeyo mu nju gye yanzimbira ng’ayagala okunkozesa nnatandikirawo okuyomba nga yaakatandika okukonkona.

Nnamugamba nti, “ Ssentamu nvaako! Katonda bw’aba yasalawo n’atwawukanya kikkirize kuba nange sirina musango gy’oli!” Okuva olwo taddangamu kukomerawo mu mbeera eyo ey’obukambwe.

Mu kiseera kino atera okukomawonaddala mu budde bw’ekiro ennyo kyokka ajja musanyufu nnyo ng’ambuuza abaana be embeera gye balimu, bw’amala ng’abalerako oluvannyuma ng’atusiibula ng’agenda.

N’OKUFUNA AKABENJE YASOOKA KUNSIIBULA

Baze yali amaze ebbanga ddene nga tagenda ku mulimu, kyokka olunaku lw’afuna aka- benje yakeera n’andeetera emmere mu nnimiro n’antegekera buli kintuawaka era bwe yamala okwambala n’ajja we nnali ntudde n’anzigyako omwana n’amusitulako oluvannyuma n’ansiibula n’agenda. Waayita eddakiika nga 30 ne bambikira nti afiiridde mu kabenje!

Nga yaakafa waliwo omwana omuto gwe baaleeta nga batugamba nti yamuzaala bbali, kyokka nga ffenna tumubuusabuusa olw’ebbanga eddene Ssentamu lye yali amaze ng’ali ku kitanda e Mulago.

Bwe nnakiremerako ennyo nga mpakana nti siwuwe baze n’andabikira mu kirooto ng’ang’amba nti ebyo mbyesonyiwe, ekituufu kijja kuzuuka era ne mbiviirako ddala n’okutuusa kati.

Baze yaziba omumwa okuva lwe yagwa ku kabenje era nga tasobola na kutunula okumala kumpi omwaka mulamba nga tumujjanjaba e Mulago kyokka ennaku ze yatandikiramu okutunuulira abantu n’abategeera wamu n’okwogera we yafiira!

Wadde taata w’abaana yali mukozi wa Gavumenti era nga yagikolera emyaka egisoba mu 15, naye abaana bange tebalina buyambi ng’ate basoma. 

Ebanga lye twamala mu ddwaaliro e Mulago, omusaalatwali tugufuna okuva mu bbanka kyokka baze olwafa ssaddamu kufuna ssente n’emu. Ssezaala wange yang’amba nti baamuggya ku lukalala lw’abasasulwa kubanga yali amaze ebbanga ddene nga takola.

Mbadde njiiya ng’omukazi ne mbaweerera mu masomero amalungiko naye we ntuuse bannemeredde kyokka nga babadde basoma bulungi nnyo naye gye bakoma okugenda mu bibiina ebya waggulu nga n’ebisale byeyongera.

Bwe nnagezaako okugoba ku by’akasiimo ka taata waabwe byagaana!

‘Omuzimu gwa baze gwangoba mu nju nga nzadde mu musajja omulala’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai