TOP

‘Maama yandera mu buto, ne mu bukulu ampa eby’okukola’

By Musasi Wa

Added 4th October 2015

"MUWALA wange guma ensi bw’etyo wabula teweerabiranga kwebaza Katonda buli ku makya. Manya nti y’asalawo ate y’awa. Bw’ofuna ky’olya guma yongera omutendereze anaakuyambanga mu buli kizibu!".

Bya SOFIA NALULE


"MUWALA wange guma ensi bw’etyo wabula teweerabiranga kwebaza Katonda buli ku makya. Manya nti y’asalawo ate y’awa. Bw’ofuna ky’olya guma yongera omutendereze anaakuyambanga mu buli kizibu!".

"Mwana wange nkwagala nnyo wadde tondaba naye nze wendi, nnaakuyambanga mu buzibu ne banno bagumye sigenda kubalekerera!"

Maluusi Nakubulwa bw’atandika okunyumya ku nnyina eyafa oyinza okulowooza nti emboozi yaziraba mu firimu zino ez’Ekinigeria!

Kubanga nnyina Maluusi Nakacwa wadde yafa emyaka 19 egiyise, naye amunyumyako ng’akyaliwo era akola eby’ekyewuunyo n’amulabula mu buli nsonga!

Nakubulwa mutuuze w’e Makindye. Agamba nti nnyina ayita mu birooto oluvannyuma lw’okufa mu November wa 1996. Bw’ati bw’anyumya ku nnyina:

Maama yatuzaala abaana basatu abawala babiri n’omulenzi omu.
W’afiiridde nga tusuumuseemu wadde ng’okwebezaawo twalina kuyambibwako bang’anda okusobola okukakaalukana n’obulamu bw’ensi. Nkuze naye nkyalemeddwa okufuna amuddira mu bigere gwe nneeyabiza mu buli kimu.

Amazima ku nsi sifunangako muntu anjagala nga ye era w’abeeredde mu bulamu bw’ensi ng’aboogezi batuyita baaluganda! Nga mpezezza emyaka 11 nnali nnyingidde P7 yantwala mu kisulo nga kye yeewala kunkeeza ku makya empewo enfuuwe. Kino yakikola naye nga buli nkomerero ya wiiki ajja n’annambula n’antuusaako bye njagala byonna, omutima ne gumba wamu.Ate bwe yawuliranga nti ndwadde nga kisukka, olwo nga nfuuka nga waakuyonsa!

Maama Ambuulirira
Nga nsuumuseemu, maama yatandika okumbuulirira bye nsaanidde okukola ng’omwana ow’obuwala.Yantuuza mu bifo eby’enjawulo mu budde bwe obw’eddembe oluusi mu kisenge kye, mu kiyungu, mu luggya, mu ddiiro, mu nnimiro n’antegeeza nga bwe nsaanidde okweyisa obulungi ensi eng’ondere. Yankuutiranga okuwa abansinga ekitiibwa n’okwewala okuyomba kubanga tekulima kalungi.

Lumu yang’amba nti, "Eno ensi bw’ogikwata obulungi ofa ssanyu na bitiibwa ate bwe weeyisa obubi omuliro gukwokya.”
Buli lwe nzijukira bino nfuba okukola nga bwe yandagira bwe mba mpaba ne nfumintiriza mu mutima.

Maama yalwalira ekiseera kitono nnyo n’afa. Nnali mu P7 ku lunaku lwe nnali mmusuubira okujja okunkyalira mukulu wange omulenzi ye yajja n’ebbaluwa mukwano gwa maama gye yawandiika ng’entegeeza nga maama bwe yali aweeredwa ekitanda mu ddwaaliro e Kibuli.

Olwamaliriza okusoma ebbaluwa nnazirika. Nnasaba olukusa ku ssomero ne ng’enda ndaba maama mu ddwaaliro.
Okumutukako ng’agonze era mu kiseera ekyo yantegeera n’akwatako mu ngalo ne mmubuuza naye nga ndaba obulamu talina. Yamala omwezi gumu ku kitanda n’asiibulwa ng’embeera etandise okulongookamu.Twadda mu maka ge ge yali yazimba ku luguudo lw’e Busaabala.

Naddayo ku ssomero okukola ebibuuzo, mukulu wange ye yannona mu kiro nga kumpi ku ssomero nsigaddeyo bw’omu era bwe nnamulaba nnagenda siteredde nga nkimanyi maama tali bulungi. Oluvannyuma lw’ennaku bbiri nga ntuuse eka, maama oba yali alinda nze asooke andabeko nange ssaamanya kuba embeera yaddamu okubeera embi n’afa.
Twateekateeka okuziika enkeera e Butale-Masaka.

Akomawo n’ambudaabuda
Mpise mu bizibu bingi okutuuka wendi wabula buli katuubagiro ke mbadde ntuukamu nga maama ambudaabuda mu birooto. Nga yaakafa, yajja mu kirooto n’antuuza ku mubiri gwe n’ansangula amaziga nga bw’ang’amba nti, ‘Mwana wange ne banno bagumye gye bali nze siribasuulirira.’

Bino okubing’amba nnali mbeera wa kojja Sabbaani Matovu ku lw’e Busaabala.
Nga nfumbiddwa, nnafunanga nnyo kinsimbye kale ne mbeera nnyo mu kutya wabula bwe nneebakanga nga maama anzijira n’abaako obubaka bw’ampa nga bwe nnina okusaba ennyo Katonda.

Nnali mugayaavu okusaala okuva olwo ne ntandika okusaala n’okwegayirira ennyo Katonda. Okutya okungi kwe nnalina kwanzigwamu ne nguma ne ku mwana wange owookubiiri ssaafuna buzibu bwonna.

Nga nzadde, nnatandika okunoonya omulimu ntandike okukolerera abaana bange era mu kutya okugufuna n’obutagufuna.Nanoonya omulimu okumala omwezi mulamba ne gumbula ne nkubirako ku booluganda nabo banjiggire ne bigaana.

Okulimba kubi, essuubi lyanzigwamu ne nzira eka ne nneebaka. Wabula nga wayise ekiseera lumu mba nneebase, nnawawamuka mu tulo ne nneekanga nga mpulira omuntu ankwatako.

Maama yang’amba nti, ‘Mwana wange nkulaba weevuma ensi n’obutaba na maama ku nsi naye si kye kikulu. Ky’ekiseera buli ky’okola okussaamu obuguminkiriza kubanga tewali kyangu!’

Yang’amba nti tewali kigenda kuntuukako nga si nteekateeka ya Katonda kyokka n’ankuutira okukola ennyo mu myaka gyange egy'obuvubuka.

Bino by’ebigambo ebyasembayo n’abula, zaali ssaawa munaana ez’ekiro. Okuva olwo otulo twambula okutuuka ku makya.
Era buli lwe nzijukira by’ang’amba ne ngezaako okubissa mu nkola nfuna essanyu ku mutima.

 

‘Maama yandera mu buto, ne mu bukulu ampa eby’okukola’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...