TOP

Abaana b'omugenze Paul Kafeero beetemyemu lwa nnyumba

By Musasi Wa

Added 11th October 2015

FAMIRE y’omugenzi Paul Kafeero, eyali omuyimbi wa Kadongokamu, efunye obutakaanya ne beekutulamu ebiwayi bibiri ng’olumu lulumiriza olulala nga bwe lwagala okutunda amaka agali e Lweza ku lw’e Ntebe.

 Bya PATRICK TUMWESIGYE

FAMIRE y’omugenzi Paul Kafeero, eyali omuyimbi wa Kadongokamu, efunye obutakaanya ne beekutulamu ebiwayi bibiri ng’olumu lulumiriza olulala nga bwe lwagala okutunda amaka agali e Lweza ku lw’e Ntebe.

Kigambibwa nti waliwo abamu ku baana abawagira okutunda amaka ago bafunemu ssente eziyinza okubayambako nga balumiriza nti tewali kye bagifunamu oluvannyuma lwa bannaabwe abalenzi abakulu okuli Schwarz Kafeero ne Simon Kafeero okwekomya ssente zonna ezigivaamu kyokka ne beerabira banaabwe abato abakyasoma. 

Muto wa Kafeero, Joseph Mugerwa yategeezezza nti okufuna amawulire g’okwagala okutunda amaka gano, kyaddirira mwannyina Sarah Nantongo eyakubira omusika Martin Kafeero essimu ng’amuyita mu lukiiko.

“Olw’okuba omusika ono ali mu S.2 akyali muto, bwe yatutegeeza nti yali ayitiddwa mu lukiiko, twafunamu okwekengera ne nsalawo okugenda mu ofiisi ekola ku nsonga z’abafu ne nkizuula nti waliwo abaali bagenze okufuna olukusa okutunda amaka gano ne babasindika mu famire bakole olukiiko,” Mugerwa bwe yategezezza.

Mugerwa yalumirizza mwannyina Nantongo, omu ku bannamwandu ba Kafeero gw’amanyiiko erya Namata ne Kinobe Mandeevu eyali mukwano gwa Kafeero nti be baali bagenze mu ofiisi eyo okulaba engeri gye bayinza okutundamu amaka ago bo be batakkiriziganya nakyo kubanga baagala okugaddaabiriza gaveemu ssente ezinaayamba bamulekwa.

MANDEEVU ABAANUKUDDE

Wabula Mandeevu bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno, yategeezezza bwati;

“Abantu abo baliko ekikyamu kuba abaana n’abakyala babadde batera okujja ewange nga bansaba obuyambi ate nga kinkakatako okubayamba kuba ba mukwano gwange. Naye nga bw’omanyi ebya ssente olumu tezibaawo. Lumu nnababuuza lwaki tebakozesa ku bintu kitaabwe bye yaleka okubayambako omuli n’amaka g’e Lweza ne bantegeeza nti abalenzi ababiri baagyefunza.

Waliwo abamu ku baana abatali basanyufu olw’obutafuna mu nnyumba eyo abantegeeza nga bwe baali baagala okugitunda ne mbagamba nti ekyo sikituufu era kwe kubawa amagezi bagendeko mu ofiisi ekola ku nsonga z’abafu bayambibwe. 

Kino nnakikola nga mmanyi nti ofiisi ejja kutuuza enkiiko za famire balabe nga ssente eziva mu nnyumba eyo teziriibwa baana babiri bokka wabula bonna bagabane.

Nneewunnyiza okuwulira nti ate baagala kunzibiikirizza bintu bya mukwano gwange”. 

Ate mwannyina wa Kafeero, SARAH NANTONGO eyayogeddwaako okuba mu lukwe luno agamba: Ebyo byabulimba era sisobola kusanyukira muntu ayinza kwagala kutunda bintu bya Kafeero kuba nkimanyi nti birina kuyamba bamulekwa’.

Omu ku baana ba Kafeero abakulu Liz Nagawa agamba nti Mugerwa ne banne bagezaako kusiiga Mandeevu ne ssengaabwe Nantongo enziro kuba tebabaagaliza ate balaba nga be babayamba.

Nagawa yalangidde Mugerwa okukozesebwa abantu abaagala okubba ebintu kitaawe bye yaleka era nti olukwe yalutandika ne jjajaawe Nahhanga akyali mulamu.

“Oyo Mugerwa eyeeyita taata nze simwetaaga era mu bataata simubala wabula akozesebwa bukozesebwa kubba mmaali ya kitaffe. Mugerwa ne Boogere kitaffe gwe yakuza be bamu ku bali mu lukwe luno.

Amaka kitaffe ge yaleka e Lweza tegalina kye gatuyamba kuba bannyinaffe Schwarz ne Simon balinga abagamba nti baagalekera bo bokka kyokka waliwo abaana abato bangi abeetaaga obuyambi.”

Wabula Schwarz Kafeero omu ku boogerwako okwekomya ssente eziva mu nnyumba ya kitaabwe e Lweza ye yategeezezza nti mukakafu tewali ayinza kutunda nnyumba eyo kuba y’agivunaanyizibwako.

Emyaka 10 bukya Kafeero afa: Abaana balwanira nju

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Condomismaelssempumatestimonywebuse 220x290

Enkozesa ya kondomu eneekutangira...

Okwesunga akaboozi ekisusse kiremesezza bangi okukozesa kondomu

Kab2 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze engeri butto w'obusigo bw'amapaapaali gy'akola ku maaso n'embuto ez'esiba...

Kig1 220x290

Akatabo ka Ham kawangudde engule...

Akatabo ka Ham kawangudde engule ey'okubiri

Kabaleeweb 220x290

Kabale Sharp bagikubye ne yeekwasa...

Kabale Sharp eya Big League, ewangudde Water FC, n'esannyalaza emikisa gyayo okwesogga liigi ya babinywera

Hajjathanifakawooya 220x290

Kkooti y'e Sembabule terina kaabuyonjo...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Sembabule, Hanifa Kawooya, asabye gavumenti okuzimba ekizimbe kya kkooti y’e...