TOP

Eyavudde ku kyeyo n’omudidi gw’ensimbi abuziddwaawo

By Musasi Wa

Added 18th October 2015

OMUVUBUKA abadde yaakava ku kyeyo e South Afrika ng’azze n’ensimbi abuziddwaawo ng’abooluganda lwe bali mu kusattira olw’okumunoonyeza kati wiiki nnamba nga tebamulaba.

Bya SHAMIM NABUNNYA

OMUVUBUKA abadde yaakava ku kyeyo e South Afrika ng’azze n’ensimbi abuziddwaawo ng’abooluganda lwe bali mu kusattira olw’okumunoonyeza kati wiiki nnamba nga tebamulaba.

Farouk Gingo 25, yavudde e South Afrika wiiki ewedde gy’amaze ebbanga lya myaka musanvu ng’avuga mmotoka mu kkampuni emu. Ebyabaddewo muganda wa Gingo ayitibwa Juma Kasule abinnyonnyola bwati:

JUMA KASULE ANNYONNYODDE

Ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde twabadde tuli awo nga muganda waffe, Farouk Gingo atutuuseeko okuva e South Afrika. Yatuukidde wa mwannyina Ndamina Nakagimu gye yavudde n’ajja ewange.

Oluvannyuma lw’okunyumyamu, yantegeezezza nti, mu kusooka kwa byonna yandyagadde agule emmotoka gy’agenda okutambuliramu ng’akola emirimu gye wano, wadde nnagezezzaako okumumatiza asooke agule ettaka. Yagaanyi n’ahhamba nti ayagla mmotoka.

Twagenze mu Equity bbank n’aggyayo ssente ze saategedde muwendo ne tugenda mu Ndeeba mu kibanda ekiyitibwa Sharijah Motors n’agulayo mmotoka ekika kya Premio nnamba UAT 437A ku bukadde 11. Yasasuddeko obukadde 10 ne batuwa ebbanga lya mwezi gumu okusasula akakadde akaasigaddeyo.

Gingo yasazeewo mmufunire ddereeva amuvuge nga bw’amanyiira enguudo za Uganda ne mmutegeeza nga bwe nnina muliraanwa wange Godfrey Kintu ajja okumuvuga. Oluvannyuma nnasisinkanyizza Kintu ne Gingo ne bakwatagana ne batandika okutambula bombi.

Ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, Kintu ne Gingo baasiiba batambula bombi nga banoonya ebintu eby’enjawulo era nga Kintu yafunira Gingo ennyumba y’okupangisa e Kabalagala mwe yali agenda okubeera okumala ekiseera nga bw’akyetereeza.
Obudde bwe bwazibye ku Lwom

kaaga, Gingo yasabye Kintu bagende bombi ewa Kintu asule eyo era Kintu n’akkiriza ne bagenda bonna. Olwo mmotoka baabadde bagitutte mu garagi emu okugifuuyira awantu awaabadde wakalabuddwa.

GINGO ABULA:

Kasule agamba nti, ku Ssande yabadde ku dduuka lye, Kintu n’ajja n’amutegeeza nti, Gingo yabadde abuze nga tamanyi gy’alaze. Kasule yasoose kubiyita bya kusaaga, bwe waayiseewo akaseera kwe kugenda ewa Kintu n’amugamba batandike okunoonya muganda we naye basookere ku kuggulawo musango ku poliisi.

Kintu agamba nti, ku Lwomukaaga ekiro beebaka bulungi kyokka bwe bukeera ku Ssande, yagenda okwetegereza nga, Gingo tamulaba mu nnyumba era bwe yamagamaga, n’akizuula nti akaggi ak’emmanju ku kikomera kaali kaggule.

Amaka gano Gingo mwe yabulidde, gasangibwa ku lw’e Salaama mu Makindye era nga waliwo omugagga omu eyagalekera Kintu okugakuuma nga bwakola n’emirimu gye egy’okuvuga mmotoka mu kibuga.

Kintu yasoose kugaana kugenda ku poliisi kyokka oluvannyuma ne bagenda ne baggulawo omusango gw’omuntu okubula ku fayiro nnamba REF:09/12/10/2015.Oluvannyuma Kasule yazzeeyo yekka ku poliisi n’aginnyonnyola.

Kintu yategeeza poliisi nga mugandawe bwe yalina ssente ennyingi era ng’alina ebintu bingi by’ayagala okugula noolwekyo okubulawo kwe kumweraliikirizza nga kuyinza okuba nti kwekuusa ku ssente ennyingi ze yalina.

Poliisi yasazeewo okujja n’ekwata Kintu n’emuggalira ng’eyagala aginnyonnyole engeri Gingo gye yabulamu n’ebintu byonna bye baasiiba bakola ku Lwomukaaga. Poliisi bwe yazze okwaza awaka yasanzeewo abavubuka babiri nga kuliko n’omukazi kyokka omuvubuka omu bwe yalaba abasirikale n’akwata ekisawo ekyabadde okumpi n’afubutuka era n’adduka.

Poliisi yayazizza enju n’esangamu ensawo ennene ejjudde kaadi z’essimu n’egitwala. Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, Benon Ayebare agamba nti, Kintu bakyamunoonyerezaako

 

Eyavudde ku kyeyo n’omudidi gw’ensimbi abuziddwaawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”