TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Looya, omupunta oba bbulooka eyakola ku by’ettaka lyo yandiba yalikutwalako!

Looya, omupunta oba bbulooka eyakola ku by’ettaka lyo yandiba yalikutwalako!

By Kizito Musoke

Added 29th May 2016

EKYAPA ky’oterese okimanyi nti kikyayinza okubeera ekikyamu, oba nga baakolamu dda ekirala ng’okuuma lubugo lubaale mubbe?

Ttaka1 703x422

Abantu baasimbye ennyiriri okutwala okwemulugunya kwabwe mu kitongole ky’ebyettaka .

EKYAPA ky’oterese okimanyi nti kikyayinza okubeera ekikyamu, oba nga baakolamu dda ekirala ng’okuuma lubugo lubaale mubbe?

Bino bye bimu ku byazuuliddwa mu mwoleso ogwategekeddwa minisitule y’ebyettaka ogwamaze ennaku essatu nga gubumbujjira ku National Theatre mu Kampala.

Abantu abasoba mu 3,000 baakebedde ebikwata ku ttaka lyabwe, kyokka abalala ne bavaawo nga banyeenya mitwe, anti nga lyabbibwa, abalala baloina ebyapa kyokka nga byakyusibwa!

Denis Obbo, omwogezi wa minisitule y’ebyettaka mu ggwanga yagambye nti baasazeewo okutegeka omwoleso guno, kisobozese abantu okumanya ebifa ku ttaka lyabwe.

Yagambye nti okuva lwe baatandika okussa ebyapa byonna mu kompyuta wabaddewo amawulire agayitiηηana nti baakyusibwa abantu abalala ne babitwala ekitali kituufu.

Disitulikiti y’e Wakiso yazuuliddwa nga we wasinga emivuyo mu by’ettaka, era abamu obwedda abalowooza nti baafuna ebyapa, beesanze nga biri mu mannya ga babbulooka abaabibakolerako!

Minisitule yasazeewo nti mu myezi esatu, bagenda kutegeka omwoleso gw’ettaka e Wakiso, basobole okumalawo emivuyo gy’ebyettaka mu disitulikiti eno kuba gisusse okubeera emingi.

Ebyapa by’ettaka erimu e Wakiso era byasangiddwa nga biri mu mannya ga bapunta b’ettaka abaakwasibwa omulimu gw’okukola ku by’ekyapa. Bangi abalina ebyapa ebikadde ebiriko MRV, nga bano baakubiriziddwa okubikyusa okufuna ebyapa ebirina bbulooka nnamba ne poloti nnamba.

Abakungu ba minisitule y’ebyettaka omuli ne minisita Daudi Migereka kyababuuseeko okulaba nga tewali muntu yavudde Wakiso, ng’alina ekirungi ky’ayogerera ofiisi z’ebyettaka eza disitulikiti!

Abantu baategeezezza nti okukyusa ekyapa e Wakiso, olina kusooka kuwaayo ssente eziri wakati w’emitwalo 25 ne 50 ez’enguzi.

Bw’obeera tosasudde ssente zino bakutambuza obwoya ne bukuggwa ku ntumbwe, naye nga tofunye buyambi.

 

Mu kaweefube w’okulwanyisa enguzi, buli mukozi yenna mu ofi iisi z’ebyettaka yaweereddwa yunifoomu ze balina okwambala nga kuliko n’amannya gaabwe. 

Omuntu yenna ssinga bamusaba enguzi alina okutuukirira ofi isi y’omwogezi wa minisitule, omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule oba kaminsona mu minisitule. 

Waliwo abantu abeemulugunyizza olw’ebitongole okuli UMEME, ekya Posta ne UNRA okuteeka ebintu ku ttaka lyabwe nga tebabategeezezzaako.

Bano baaweereddwa amagezi okutuukirira abakulira ebitongole ebyo, kuba basuubira nti bwe baleetera ebintu byabwe waliwo entegeeragana ebeera yatuukibwako.

Minisitule y’ebyettaka egenda kutandika enkola y'okuwandiisa babbulooka b’ettaka, nga bano baakuweebwa densite okusobola okubalondoola n’engeri gye bakolamu emirimu gyabwe.

OKUKYUSA EKYAPA

Abantu abasinga ebyapa biri mu mannya ga bafu, kyokka nga mu mateeka omufu tabeera na ttaka.

Bano baabakubirizza okugenda mu ofi isi y’akola ku nsonga z’abafu (Administrator General) bafune omuntu gwe bawa obuyinza (Letters of Administration) ku ttaka ly’omufu.

Abamu bagula ettaka ne bateeka ne ku biwandiiko omukono okukyusa obwannannyini. Kyokka olw’okuba baba tebawadde musolo gwa Gavumenti .

Aguze ettaka olina okufuna empapula ezikyusa ekyapa, n’ofuna ekyapa kye waguze, obufaananyi bw’aguze n’atunze awamu n’endagaano kwe wagulira.

Omubalirizi wa Gavumenti (Chief Government Valuer) alina okubalirira omuwendo gw’ettaka olwo ekitundu 1 ku buli 100 ku muwendo gw’ettaka mu kiseera kino n’ozisasula ng’omusolo.

Ettaka bw’obeera waligula obukadde buna, nga mu kiseera kino libalirirwamu obukadde 40, babeera balina okubala ekitundu kimu eky’obukadde 40 n’ozisasula ng’omusolo.

Obbo awa abagula ettaka okuli ekyapa amagezi okulikyusizaawo okwewala okusasula ssente ennyingi.

BAKAKASIZZA OBWANNANNYINI KU TTAKA LY’E MUTUNGO

Ebiwandiiko bye twalabyeko mu mwoleso gw’ettaka biraga nti ettaka ly’e Mutungo lyatundibwa mu 1968, Ssekabaka Muteesa II bwe yawa obuyinza mwannyina Nnaalinnya Victoria Mpologoma eyali mu biseera ebyo alabirira ebintu bye (Sekabaka Muteesa II) ng’ali mu buwanganguse e Bungereza.

Nnalinnya Mpologoma ettaka eryo yaliguza omwami Paul .A. K. Kintu ow’e Masaka nga 13 June 1968 Kintu naye ng’amaze okuligula, yalitunda ng’ekitundu ekisinga obunene ku ttaka eryo, yakiguza kkampuni ya Lake View Properties Ltd (LVP) nga November 25, 1968.

Kkampuni ya LVPL yali y’abantu bana; Ben Kiwanuka (eyali Ssaabalamuzi), Joseph Mubiru (eyali Gavana wa Bbanka Enkulu), Lawrence Sebalu (eyali Minisita mu gavumenti ya DP eya 1961) ne Muky. Kabenge, ono nga ye yali muka Mw. Kabenge eyali akulira UCB.

kyapa kye utungo ekiri mu mannya ga uwule Ekyapa ky’e Mutungo ekiri mu mannya ga Buwule.

 

Okusinziira ku biwandiiko bye twalabyeko, kkampuni eno yasinga ettaka eryo mu bbanka ya Barclays (ku Equitable Mortgage) mu ofi isi y’ebyettaka, era ekyapa kiraga envumbo (kaviti) eya Barclays Bank eyabawola (Aba LVP) ssente ezitamanyiddwa muwendo kyokka nga kigambibwa nti zaali nnyingi, era ekyapa ne kisigala mu bbanka okumala emyaka mukaaga (6) nga ssente tezinnasasulwa.

Sebalu ye yatuukirira Dr. Muhammad Buwule Kasasa okugula ettaka ly’e Mutungo basasule bbanka anti olwo Barclays yali ebawadde notisi okutunda ettaka lyabwe ku nnyondo ssinga tebasasula nsimbi ezibabanjibwa.

Dr. Buwule olw’akakasa mu ofi isi y’ebyettaka nti ettaka lya kkampuni ya LVP, n’alisasula bye lityo ne lidda mu mannya ge (Dr. Muhammad Buwule).

Omutaka Emmanuel Ddamulira, eyali akulira okuwandiisa ebyapa mu myaka gya 1970 era nga ye yakyusa ekyapa ky’ettaka ly’e Mutungo okuva mu mannya kkampuni ya LVP okudda mu mannya ga Dr. Buwule.

Ddamulira yali yawummula emirimu gya Gavumenti kyokka mu kiseera kino aba Minisitule y’ebyettaka baamuyiseeyo mu kuwummula mu ngeri eyenjawulo okukola ku pulojekiti y’okuyingiza ebyapa byonna mu kompyuta nga kati yaakamala emyaka mukaaga ng’azziddwaawo mu ofi isi y’ebyettaka.

Bwe namutuukiridde, Ddamulira yakakasizza nti yennyini ye yaggya amannya ga LVP n’agazza mu mannya ga Muhammad Buwule era n’agamba nti tewali kintu kyonna kikyamu kyakolebwa.

Yagambye nti omuntu yenna alina okubuusabuusa asobola okugendayo n’ayongera okumunnyonnyola.

Ekyapa ky’e Mutungo, bwe yakirabyeko, Ddamulira yagambye omukono ogwaliko tulansifa gwegwo gwennyini nga yagussa ku kyapa ekyo mu 1979.

Mu byafaayo bino, abantu abaakola ogw’okuwandiisa oba okukyusa ebyapa, bo bennyini balabwako.

Omugenzi Kulumba- Kiingi bwe yali tannafa mu 2015, yawa obujulizi ng’akakasa nga bwe yali ye yennyini eyawandiisa tulansifa nga Kintu aguze ettaka ku Ssebabaka Muteesa mu 1968.

Ate kati Omutaka Ddamulira eyawandisa tulansifa okuva mu mannya ga LVP ne lidda mu mannya ga Buwule mu 1979 naye awade obujulizi.

Ekyapa kiraga envumbo ya Barclays Bank n’engeri envumbo eno gye yavaako nga ssente ezaali zibanjibwa LVP zisasuddwa olwo ekyapa ne kiwandisibwa mu manya ga Dr.Muhammad Buwule.

Dr. Buwule ye nnanyini ttaka ly’e Mutungo okumala emyaka 36 ng’ono avunaanyizibwa ku bintu by’abafu (Administrator General) yali yamusibako amatu g’embuzi okuva mu 2003 nti ettaka yalifuna mu bukyamu kyokka yabulwa obujulizi omusango n’aguggyamu enta mu September wa 2015.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Munnayuganda atuuziddwa nga omusumba...

MUNNAYUGANDA eyalondebwa okufuuka Omusumba w’essaza ly’Eklezia erya Aliwal e South Afrika atuuziddwa mu kitiibwa,...

Br1 220x290

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto...

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto Gama De Olivieira amanyiddwa nga Bebeto eyali emmunyenye ya Brazil

Carol 220x290

Omwawule akoze siteetimenti ekontana...

REV. Isaac Mwesigwa bwe yaggyiddwa e Soroti yatwaliddwa butereevu ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu Kampala n’akola...

Jit1 220x290

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka...

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...