TOP

Ssemaka agabidde mukyala mukulu ebibye byonna, Omuto n'amuleka nga yemagaza

By Kizito Musoke

Added 21st November 2016

Bakazibaggya obwedda tewali anyega munne, kyokka ng’abantu bwe babawereekereza obuluulu n’okutenda Nsereko nga bw’amalako.

Sherie5 703x422

Mukyalamukulu Sheri ku kkono, bbaabwe Nsereko ne mukyalamuto ku ddyo nga basala keeki ku mukolo eyabaddeko ebigambo ebiwaana Sheri.

Bya KIZITO MUSOKE, RONALD MUGENYI ne PONSIANO NSIMBI

SSEMAKA ow’abakazi ababiri ebyobugagga byonna abiwadde mukyalamukulu mu maaso ga mukyalamuto, abantu ne bamutenda okuba omusajja.

Muhammad Idris Nsereko omukubi wa pulaani yategese omukolo mu maka ge agasangibwa ku kyalo Bukasa mu Wakiso.

Abagenyi baategeezeddwa nti gwabadde gwa kwebalizaako Katonda olw’okumusobozesa okuzimba ennyumba n’okuwonga omwana we, Farid Nsereko mu mikono gya Katonda kye bayita Akiika.

Wadde ng’omukolo gwabadde mu maka ga mukyalamukulu Hanifah Nsereko, kino tekyalobedde mukyalamuto Shamsa Muhammad kugwetabako.

 ukyala muto ngali ku ssimu wakati ngomukolo gugenda mu maaso Mukyala muto ng'ali ku ssimu wakati ng'omukolo gugenda mu maaso.
Emabega y'enju eyawereddwa mukyala mukulu.

 

Bakazibaggya baabateereddewo obutebe obuliraanaganye era mukyalamukulu ye yasoose okutuula n’akkalira.

Mukyalamuto oluvannyuma yazze n’atuula okuliraana muggyawe, kyokka yeewaze akatebe akaabadde kaliraanye muggyawe n’asalawo okutuula ku kalala.

Kino kyalabise nga kitaataaganyizza entegeka z’abategesi, era omu ku booluganda lwa Nsereko yasabye mukyalamuto aliraane  munne, kye yagaanyi.

Bakazibaggya obwedda tewali anyega munne, kyokka ng’abantu bwe babawereekereza obuluulu n’okutenda Nsereko nga bw’amalako.

Omukolo gwatandise n’okusaba n’okwebaza Katonda nga kwakulembeddwa Sheikh Idris Nsereko ow’e Makerere- Kikoni, era nga ye taata wa Nsereko nnyini mukolo.

Agabidde mukyalamukulu ebintu bye byonna, n’abotola ekyama

SSEMAKA ABOTOLA EKYAMA

Oluvannyuma ng’omukolo gutambudde, nnyinimu yayitiddwa ayogereko eri abagenyi baabwe. Baganda be baasoose kumuzinyisa wakati mu kumutendereza nti “Nsereko olimu ekyama”.

Yagambye: “Bannange abamu mubadde temumanyi lwaki olunaku nalonda lwa November 11, 2016 okutegekerako omukolo guno.

Ekituufu luno lwe lunaku lwe nafunirako Sheri (obwedda bw’ayita mukyalamukulu). Bannange omukazi yajja n’emikisa era mbadde nnina okumwebaza mu maaso gammwe kuba leero lwe giweze emyaka etaano nga tuli ffembi.

” Nsereko bwe yatandise okwogera kwe. “Sherie okuva leero gano amaka ge nkuzimbira wadde tegannaggwa, gago. Emmotoka yaffe ekika kya Vitz nnamba UAV 633 ngikuwadde, edduuka eritunda ebizimbisibwa ery’e Kabulengwa ndikuwadde. Mukyala kkiriza n’omuzikiti gwe ηηenda okuzimba wano ku kyalo ngubbule mu mannya ga taata waffe Mustapha eyafa kuba yakukuza n’empisa.”

 ukyalamukulu herie ngagudde mu kifuba kya bba sereko okumwebaza byamuwadde Mukyalamukulu Sherie ng’agudde mu kifuba kya bba Nsereko okumwebaza by’amuwadde.

 

Wano mukyalamukulu yavuddeyo n’agwa bba mu kifuba ng’amwebaza, wakati mu bantu okumukubira emizira.

Obwedda bino byonna bigenda mu maaso nga mukyalamuto ali mu kunyiga ssimu awamu n’okwewujja okumukumu.

Kyokka oluvannyuma omu ku baganda ba Nsereko yawaliriziddwa okuggyako mukyalamuto essimu asobole okugoberera obulungi ebyabadde bigenda mu maaso.

Nsereko yategeezezza nti Katonda yamuwa ekirabo ky’omukazi omuyiiya, alina eddiini, ayagala abantu, ow’empisa ate nga mwetoowaze.

Yagasseeko nti wadde yamuwasizaako muggyawe ku nkomerero ya 2015, kyokka teyapaapaala wadde nga kyamuluma.

“Okumanya mukyalamukulu mukazi, bwe baamuweerezanga obubaka ku ssimu obumuvuma ate ng’abuweereza nze, nga talina mulala gw’agambyeko.

Ekyewuunyisa n’abooluganda lwe tebakimanyangako nti namuzzaako era bakitegedde leero.” Nsereko bwe yagambye.

Obwedda buli Nsereko lw’awaana mukyalamukulu, ng’abooluganda lwe bafuuwa mukazi we ssente!

Nsereko yeewaanye nti okumanya Katonda yamuwa ku bakyala be ababiri kibeera kizibu okwawula omukulu ku muto, kuba bombi bakyali mbooko ate bimyula. Ekyaddiridde kusala keeki ne bakyala be bombi.

MUKYALAMUKULU AYOGEDDE EKIMUWANGUZZA

Mu bulamu sirina gwe mmanyi asinga mwami wange, era y’asooka mu buli kimu. Omwami wange ye musajja gwe ntegeera obulungi ate naye antegeera, tomala gamunzigyako. Buli ekijja eba nteekateeka ya Allah”. Ye mukyalamuto yagaanyi okubaako ky’ayogera.

 sereko owookubiri ku kkono ngali nabagenyi be Nsereko owookubiri ku kkono ng’ali n’abagenyi be.

 


ENGERI GYE NZIMBYEMU KALINA

Bangi baba n’ebirooto by’okuzimba, kyokka ne balemesebwa okutandika olw’okubeera ne ssente entono.

Muhammad Idris Nsereko eyatandika n’obukadde obusatu akulaze engeri gy’asobodde okuzimbamu amaka ge aga kalina agasangibwa e Bukasa mu disitulikiti y’e Wakiso.

“Mu bulamu bwe mba nkola, nkulembeza kye njagala ku mutima okusinga obusobozi bwange we bukoma kuba kino kinnyamba obutagayaala, ate nga simanyi busobozi bwange we bulikoma.

Olw’okuba ndi mukubi wa pulaani, nayagala okubeera n’amaka ag’omulembe ng’omuntu bw’agatuukamu tannyooma, nti bye mbaguza sisobola kubyekolera.

Nasooka ne nfulumya pulaani y’ennyumba ne tupima we nnaasaliza wadde nga nali sirinaawo ssente zimmala. Bwe nafuna obukadde obusatu saalindiriza ne tutandika okusima omusingi gw’eddiiro lyokka ne tutandika okuguzimba.

Oluvannyuma naddamu okusima omusingi gwa bisenge bibiri n’eddiiro era ne tuguzimba.

Natandika okuzimba okusitula ennyumba ebisenge ne mbeerako we mbituusizza. Siraabu nasooka kuyiwako kitundu wadde ennyumba yali ekyeyongerako. Naddamu okusima omusingi gw’ebisenge ebirala bibiri, ekiyungu n’eddiiro omuliirwa.

Bwe nabituusa waggulu ne njiwa siraabu ne nserekako ebisenge bibiri. Mu kiseera kino ennyumba eya kalina ebbiri, omwaliiro ogusooka guwedde nga nagukuba pulasita ne nguggala era mwe mbeera n’abantu bange.

 aata wa mukyalamuto nga yeebaza mukyalamukulu ne ssente Taata wa mukyalamuto nga yeebaza mukyalamukulu ne ssente.

 

ENGERI GYE NTETENKANYIZZA OKUZIMBA

Natandika okuzimba emyaka ebiri emabega nga nkozesa abazimbi babiri olunaku okwewala okusaasaanya ennyo.

Ssente ze nali ntadde ku nnyumba ennyingi omulundi ogumu bwali obukadde 12 mu kiseera ky’okuyiwa siraabu, ezisigadde zonna ze mbadde nfuna nga ze nkozesa.

Kye navaako, kwe kubalirira ennyo ze ntaddeko kuba kyali kiyinza okundeetera omutima ogulaba nga ssente ezigenda ennyo.

Kye nfaako kwe kulaba nga ssente gye ntaddeko ekoze ekintu ekisaanidde. Ssente ezaakagendako zandiba obukadde nga 150.

Ebintu ebigenda ennyo nga bbulooka n’omusenyu ebiteewalika bye ngula mu bungi, olwo endala zonna ze mba nkwasizza nga ngulamu seminti ng’okuzimba kugenda mu maaso. Enzimba y’okuyunga ennyumba eyamba mufunampola, kyokka olina okukakasa ng’oyambibwako abakugu abategeera kye bakola nga bagoberera bulungi pulaani y’ennyumba.

Entabula y’ebizimbisibwa erina okuba ng’ekwatagana bulungi, enju okutambula n’otolabawo njawulo we baagigattira. Kyandibadde kisingako bw’okozesa abazimbi nga be bamu.

Abazimbi balina okukakasa nga ku nkomerero y’ekisenge baleka bazimbyeyo awaneeyunga ekisenge ekyeyongerayo ne batagattawo bugassi.

Omutindo gw’ebizimbisibwa gufeeko oleme kukozesa bikolerere, okwewala obuzibu gye bujja kuba tebiwangaala kye kimu.

Olw’okuba tewabeerawo ssente za wamu, kirungi okusasula abakozi buli lunaku lwe baba bakoze. Bw’onoobapatanya ekitundu ate nga ssente teziriiwo ez’omuzindo kijja kukumenya.

Anaazimba olina okwekkiririzaamu n’oba n’ebirooto ebinene. Olumu emitima gyaffe tuginafuya ne twesiba ku bintu ebitono nga weerabidde nti n’ekitono ky’olowozaako okukifuna mwalimu okusaasira kwa Katonda.

Munnange teweenyooma, naawe osobola. Tandika kati 2016 bw’oba tokungudde ate 2017 oleme kuviiramu awo.

MAAMA WA NSEREKO AWAGIDDE MUTABANI WE

Hajati Hamidah Nsereko, azaala Nsereko yagambye nti takirinaako buzibu mutabani we okukola ky’ayagala.

Yagambye nti jjajjaawe yalina abakazi bana nga basula mu nju emu. Ate nga naye yafumba ne muggyawe emyaka e Butambala nga basula mu nnyumba emu.

“Omusajja okuwasa abakazi abasukka mu omu aba ayagadde era nga bw’akiremerako kirina okubeerawo.

Bakazibaggya mulina okukomya okwesojja kuba musobola mwembi okubeera n’eddembe nga tewali atawaanya munne.

 ukyala muto hamsa uhammad ku ddyo yagaanye okutuula ku katebe ke baamutegekedde okuliraana mukyalamukulu wookubiri ye nnyazaala waabwe amida  Mukyala muto Shamsa Muhammad ku ddyo yagaanye okutuula ku katebe ke baamutegekedde okuliraana mukyalamukulu. Owookubiri ye nnyazaala waabwe Hamida.

TAATA WA MUKYALAMUTO AFUUWA MUKYALAMUKULU EMITWALO 20

Mu ngeri eyeewunyisizza abantu, taata wa mukyalamuto, Omulangira Kimera Namugala Kakungulu (muganda w’Omulangira Kassim Nakibinge e Kibuli) bwe yayitiddwa okwogera eri abantu yatandikidde ku kwebaza mukyalamukulu okubeera omufumbi.

“Okusinziira ku bye mpulidde bakwogerako, kindaze nti oli mukazi mufumbi era nkusaba okugendera awo”. Yakutte mu nsawo n’aggyayo emitwalo 20 n’agimukwasa nga bw’amwebaza.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Abagambibwa okutta Bayinvesita...

Abagambibwa okutta Bayinvesita bakwatiddwa abalala babataddeko obukadde 10

Kam2 220x290

Abagambibwa okusanga akawanga ka...

Abagambibwa okusanga akawanga ka maama waabwe mu ssabo beebazizza Museveni okubayamba

Tip2 220x290

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana...

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana we

Tot1 220x290

Vision Group etandise enteekateeka...

Vision Group etandise enteekateeka y'ekivvulu kya Toto

Jose11 220x290

Abaggyeemu obwesige

ManU, eri bubi nga mu Premier eri mu kifo kyamunaana nga Man City ekulembedde ebasinza obubonero 12.