TOP

'Taata kata ansuuze obuweereza'

By Eria Luyimbazi

Added 12th February 2017

Okutuuka ku kkula lino agamba tebibadde byangu kuba kitaawe yali asimbidde ekkuuli ekirooto kye kino ng'agamba nti tayinza kukkiriza mutabani we kuva mu Bukristaayo okwegatta ku Basodokisi.

Lule1 703x422

Bya ERIA LUYIMBAZI

REV. Fr. George William Lule 29, yayawuddwa okuva ku Budyankoni n'afuuka omusosodooti omujjuvu mu Eklesia y’Abasodokisi ng’omukolo ogw’okumwawula gwakoleddwa Metropolitan Yonah Lwanga ku Eklesia St. Nicholas e Namuηηoona.

Okutuuka ku kkula lino agamba tebibadde byangu kuba kitaawe yali asimbidde ekkuuli ekirooto kye kino ng'agamba nti tayinza kukkiriza mutabani we kuva mu Bukristaayo okwegatta ku Basodokisi.

Byonna abinyumya bwati: Nazaalibwa mu maka Makristaayo ag’omwami Musa Musoke n’omukyala Florence Kalibbala ab’oku kyalo Kawumu- Semuto era gye natandikira okusoma mu Semuto Parents School.

Taata yasalawo okunzigya e Semuto n'andeeta ewa ssenga Victoria Namyalo ng’ono yali afumbiddwa e Namuηηoona.

 

Amaka mwe yali baali Basodokisi era we nafunira omukisa okulaba ku Ssaabasumba Theodorus Nankyama eyatuwanga sswiiti.

Natandika emisomo mu Namuηηoona Orthodox Primary School ng’eno nalinga nnengera ebikolebwa mu Eklesia ng'abaweereza bakola emirimu nange ne mbeegomba.

Bwe natuuka mu P.6 nneegomba okubeera omuweereza mu Eklesia kuba nali ndabye engeri gye basabamu ne ntandika okugoberera ebikolebwa mu kusinza era wano Fr. Patrick Nsubuga kati omugenzi we yankwatira ku mukono n'atandika okunjigiriza.

Mba ntandise okugoberera ebikolebwa mu Eklesia amawulire ne gatuuka ewa taata nti Obukristaayo sikyabugoberera n'ayagala okunzizaayo mu kyalo, ssenga Namyalo ye yamukkakkanya.

Oluvannyuma yakkiriza nneegate ku Basodokisi.

Lumu tuba tuli mu Eklesia, Fr. Nsubuga n'aηηamba nti anzuddemu ekitone ky’obuweereza.

Fr. Nsubuga yalwala era amaanyi ne gamuggwaamu wabula aba ali ku kitanda n'addamu n'akikkaatiriza nti nnina okubeera omuweereza mu Eklesia wano nalaba ng'asitudde ekirooto kyange.

Ebigambo bino byajjira mu kaseera we nali nkirowooleza nga mbulamu ansukuma.

Nafuna amaanyi okwagala okubeera kabona ne nneeyogerayo okusoma oluvannyuma lwa kizibwe wange Fr. George Nyombi.

Oluvannyuma lwa Fr. Nsubuga okufa nasigala mu mikono gya Fr. Stelios Kasule, Fr. Nicholas Bayego ne Ssaabasumba Yonah Lwanga abannuηηamya mu buli kimu okutuusa lwe nayawuddwa.

Omanyi ffe mu Basodokisi bw’osalawo okusoma obuweereza olina okulondako ekkubo limu, okubeera kabona awasizza oba atawasizza era nasalawo okuwasa mukyala wange Papa Desphinah Lule nga ndi ku ddaala ly'Obudyankoni okutuusa lwe nayawuddwa.

Ndi mumalirivu okutwala ekigambo kya Katonda mu maaso era bakama bange bansindise okuweereza mu Eklesia y'e Kyanuna mu Namayumba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img20190117wa0028 220x290

Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Katuntu akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka...

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...