TOP

Paasita Nyanzi ayawukanye ne Nnalongo we n’ayanjula omugoberezi we

By Musasi wa Bukedde

Added 9th July 2017

Omusumba Henry Nyanzi owa Seeta Victory Church atabuse ne mukazi we owempeta eyaakazaala abalongo n’awasa omukazi omulala mu nkukutu.

Henrynnyanzi1 703x422

Banyanzi ng’omukwano gukyabasaza mu kabu.

Bya JOSEPH MAKUMBI  NE MADINAH SEBYALA

SITAANI mubi nnyo kubanga  yajja okubba, okutta  n’okuzikiriza!

Laba ky’akoze  obufumbo bwa paasita  Nyanzi ne nnaalongo we eyamukubirawo  abalongo oluvannyuma  lw’emyaka 25 nga tebalabanga ku  mwana!  

Omusumba Henry Nyanzi owa  Seeta Victory Church atabuse ne  mukazi we owempeta eyaakazaala  abalongo n’awasa omukazi omulala  mu nkukutu.  

Okuddamu okuwasa yasoose  kulumiriza mukyala we Nnaalongo  Robinah Nyanzi obwenzi!

 anyanzi ku mbaga yaabwe mu 1988 Banyanzi ku mbaga yaabwe mu 1988.

 

Ku Lwomukaaga oluwedde,  Ssaalongo Nyanzi yayanjuddwa  mu maka ga bazadde ba Priscilla  Kanyunyuzi mu Munisipaali y’e  Fort Portal ku mukolo ogwabaddeko  bakanyama okuziyiza abatali  bayite ssaako n’abagenyi obutakuba  bifaananyi.  

Priscilla Kanyunyuzi yali asabira  mu kkanisa ya Nyanzi ng’akolera  ku poliisi y’e Seeta okutuusa lwe  yafuna ekyeyo mu Saudi Arabia.  

Ekiseera kye yamala mu kkanisa  ya Nyanzi, mwe bakwataganira era  okusinziira ku Nnaalongo Nyanzi,  yali abatambulizaako amaaso.  

Mu kusaba ku Ssande ewedde,  abantu bonna baasoose kubaggyako  masimu gaabwe olwo  omusumba n’alyoka ayingiza omugole  Kanyunyuzi n’amwanjulira  ekkanisa.  

 riscilla anyunyuzi omugole wa aasita gwe yayanjulidde ekkanisa Priscilla Kanyunyuzi, omugole wa Paasita gwe yayanjulidde ekkanisa.

 

Okutuuka okuwasa omukazi  omulala, Nyanzi abadde yanoba  mu maka gaabwe agali ku kyalo  Bbajjo mu ggombolola y’e Goma  mu disitulikiti y’e Mukono ne  Nnaalongo n’amugoba mu kkanisa.  

Nyanzi ne Nnaalongo Robinah  Nyanzi baagattibwa mu 1988.  

EKITABUDDE OBUFUMBO  

Nyanzi alumiriza Nnaalongo nti,  mwenzi eyeekwanira n’abasajja  abamu ne batuuka n’okuwa obujulizi  mu kkanisa nga bwe beebaka  ne muk’Omusumba.  

Wabula Nnaalongo yeebuuza nti:  omusajja eyeebase ne mukazi wo  n’ajja mu maaso go ne yeewaana  n’otunuulira mutunuulire?!!”  

Bwe twatuukiridde Nnaalongo  yagambye nti bba amwagazza  abasajja bangi ekitali kituufu.  

Yagasseeko nti, takoma okwo  yamufuula ekitagasa mu bantu  kuba adda ku katuuti n’amuvuma  ng'omwana omuto.  

“Ekisooka Nyanzi tayagalira  ddala nkole. Bwe natandika okusuubula  omuceere, omusajja eyali  agundeetera n’amunjagaza era ne  mbivaamu.”  

Waliwo omusajja David Ssali,  Nnaalongo gwe yayogeddeko nti  Nyanzi gw’alumiriza nti ye taata  w’abalongo. Nnaalongo ono amwegaana.  

YAAKAGANZA ABAKAZI 5  EBWERU W’OBUFUMBO  

Nnaalongo yagambye nti,  abakazi be yaakamanyaako bba  b’azze aganza ebbali w’obufumbo  bwabwe obw’empeta bali bataano.  

“Ng’oggyeeko Ann ne Miriam  abooluganda, yaganza Tina bwe  yamuta n’afuna Esther nga bonna  baali basabira mu kkanisa ye,”  Nnaalongo bwe yalumirizza.  

N’agattako nti Esther yali mufumbo.  “Gwe nsembyeyo okumanya  ye Priscilla eyamwanjudde naye  mbaagaliza mirembe.”  

 anyanzi lwe baddamu okukuba ebiragaano nga bawezezza emyaka 25 mu bufumbo Banyanzi lwe baddamu okukuba ebiragaano nga bawezezza emyaka 25 mu bufumbo.

 

NYANZI ATEEKATEEKA  KWAWUKANA MU MATEEKA  

Bwe yabadde annyonnyola,  by’azzaako, Paasita Nyanzi yagambye  nti, “omukazi bwe yayendanga  mu ndagaano enkadde, baamukubanga  amayinja okutuusa lwe  yafa wabula ebyo endagaano  empya yabimenyawo.

Kati abantu  baawukana bwawukanyi.” Kwe  kugattako nti kati ateekateeka  kwawukana mu mateeka.  

Kyokka Nnaalongo yategeezezza  nti, bulijjo Nyanzi akyogera  lunye nti takkiririza mu kusiba mpeta na kwawukana, ye obufumbo  amanyi bwa kwanjula.  

Nyanzi bwe yava awaka,  yasalawo kusula ku kkanisa  era Nnaalongo agamba nti,  “Lw’azze eno aba azze kunkuba  era olumu namuyitira poliisi  ng’asamba oluggi.

Omusango  guli ku poliisi e Seeta ku fayiro  SD 35/05/11/2016.  

Nyanzi agamba nti simuwa  baana naye abakima buli Lwamukaaga  n’abatwala n’abakomyawo  ekiro.  

Amaze okunkozesa okuzimba  omulimu kati anneefuulidde ate  nga ne bizinensi zange yazinnemesa  sirina bwendi.

Atuwa  150,000/- oluusi 200,000/- tezitumala  naye ne njiiya abaana bange  babeerewo.”  

 anyanzi lwe baddamu okukuba ebiragaano nga bawezezza emyaka 25 mu bufumbo Banyanzi lwe baddamu okukuba ebiragaano nga bawezezza emyaka 25 mu bufumbo.

 

NNAALONGO ANOBA  

Mu 2001, lwe baasooka okufuna  obutakkaanya era Nnaalongo  (yali tannazaala balongo) n’anoba.  

Ekyamunobya, Nnaalongo akissa  ku Paasita kuganza mukazi Miriam  n’amuzaalamu n’omwana Daudi  Nyanzi.

Baddiηηana mu 2003  oluvannyuma lw’okubatabaganya,  ne bazimba ekkanisa e Seeta mu  August wa 2005.  

AMAKA AMATIRIBONA  GAFUUKA KIFULUKWA  

Bw’otuuka ku gaali amaka ga  Bannyanzi e Bbajjo weewuunya,  ennyumba eya kalina eriko langi  enjeru eyali erabika obulungi nga  yeegombesa abayise enfaanana  yayo teyeegombesa.  

Nnaalongo agamba: Ennyumba  nali ngiyonja wabula baze  n’annemesa kuba yatandika  okunteekako abantu bankolereko  effujjo.  

Abasinga baali bawala abaakola  buli ekisoboka okunnemesa awaka  ng’ekiruubirirwa kyabwe nze kufuluma  nju.  

Baafuuyisanga buli we basanze nga booza engoye ne bazaanika mu nju n’okuyiwayiwa amazzi buli wamu.

Tebaakoma kw’ebyo wabula n’okunvumanga ebigambo ebyenkana eppipa nneetamwe nveewo.

Nasalawo kubeesonyiwa nga buli lwe batuuka nnyambuka waggulu mu kalina n’abaana bange okubeewaza obucaafu obwali buyitiridde mu nju.

TWASISINKANA TUTYA?  

Nnaalongo agamba: Nyanzi  yayita mu mmange ng’ebiseera  ebyo nali nkola mu katale ka  Owino.

Lwe yasooka okutuukirira  mmange yamuddamu nti annindeko  omwaka nkule kuba nali  nkyali.  

Lumu mba ntambula e Kibuye  ne mmusanga n’antegeeza nga  bwe yali ayogeddeko ne mmange.  

Bwe nadda awaka maama  yafuba okulaba ng’ammatizza  nfumbirwe Nyanzi kye nasooka  okugaana.

Olwokuba omuzadde  tajeemerwa , maama bwe  yalemerako nakkiriza omwami  ne tusisinkana n’ebyavaamu yali  mbaga mu 1988.  

Twatoba ffenna mu bintu  ebitali bimu okwekulaakulanya  nga muno ekizibu kye twasinga  okusanga butafuna baana.

Twasaba  ne tukola buli kimu Mukama  atuwe omwana ne bisooka bigaana.  Oluvannyuma lw’emyaka 25  nga tunoonya omwana Mukama  yayanukula essaala zaffe nga ku  luno yatuwa ezzadde lya balongo.  

Yatukubagiza n’abaana babiri  lumu era bano Nyanzi baawoza  nti si babe.  

maka ga anyanzi ge yalekedde naalongoAmaka ga Banyanzi ge yalekedde Nnaalongo

 

NANGE NDI MUSAJJA NNINA  OMUSAAYI -PAASITA

 “Kituufu nalekedde Nnaalongo Robina  amaka naye nga si mu bulungi. Ennyumba  yange ennuma kuba nagizimbira emyaka  mwenda kyokka essanyu lye ngifuniddemu  lya myaka ebiri gyokka.  

Bannange wadde ndi musumba naye  mumanye nti nange nnina omusaayi nga  ebitonde byonna.”  

Wabula Nnaalongo agamba nti, essaawa  eno emmeeme yange ejjudde okutya kuba  baze alina omusajja Murishid Kijjambu gwe  yateeka mu nnyumba alina ekiso, ebyambalo  bye sitegeera ng’asula atunudde mu  mulyango gwe mpitamu okwambuka gye  nsula.  

Ensonga y’omusajja ono nagitwalako ku  poliisi e Seeta nga njagala bamuwalirize  okuva ewange naye ssaayambibwa..

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta