TOP

Ensi egudde eddalu: Abatta abantu bayitawa ng’abaserikale balawuna enguudo?

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd September 2018

ABASSE Sarah Nalubega baalumbye misana! Mukaziwattu yabadde busukkakkubo n’awulira mukazi munne alaajana.

Kirumi 703x422

Omugenzi Kirumira Muhammad

Mu kugezaako okukuba enduulu ekunge abatuuze b’oku Munaana ku lw’e Gayaaza, we baamuttidde.

Babeere nno nga baamussizza majambiya, wa nno! Baamukubye masasi era ne gawaawaala buli eyabadde okumpi ne yeesega.

Essaawa zaabadde nga 9:00 ez’olweggulo ng’ensi yonna etambula! Mu baabadde batambula mwabaddemu n’abaserikale, naye ebyabadde mu kifo ekyo tebaabiwulidde.

Abemmundu bwe batyo ne babulawo nga tewali awondera. Omukyala eyabadde mu dduuka ly’emmere y’ebisolo naye baamukubye essasi era apooca, yeetaaga ssaala zammwe.

Abatemu gye baddukidde yonna, kati bateekwa kuba bategeka lulumba lulala mwe banattira abalala, kubanga olulumba luno lwe baakoze luteekwa okuba nga lwabawadde amaanyi. Gw’ate ne balumba emisana ttuku!

Nga ku luguudo lwe balumbye kuliko abaserikale okuva mu bitongole eby’enjawulo abalawuna okukakasa nti ebyokwerinda binywevu wabula byonna ne babisimattuka ne batuukiriza ‘misoni’ yaabwe era ne babulawo nga teri abanyeze nti woo wayi!

Ensi ng’enaagwa eddalu, abantu batandika obutalaba mugaso mu bulamu bwa bannaabwe, ne batandika okubusanyaawo nga gy’obeera be babuvunaanyizibwako.

Ensi egwira ddala eddalu ng’abatemu tebakyalina gwe batya, balumba misana ttuku nga tebambadde na bukookoolo ne bakola ebyambyone byonna ng’ensi eraba ne bamaanyuuka ne bagenda, nga n’abaserikale abalawuna enguudo za Kampala n’emiriraano tebawondedde.

Eddalu lifuuka eddalu nnamaziina, ng’abemmundu batta, abeebijambiya ne batta, aboobutayimbwa ne batta, ab’ennyondo ne batta, abobubadiya nabo ne batta! Ate okukwatibwa ne kufuuka kuzibu.

Musajjawattu Christopher Kawuki Kiwanuka omusuubuzi wa sipeeya ewa Kisekka baamussizza bijambiya ng’atuuka ku ggeeti y’ewuwe e Namusera mu Wakiso era nabo baagenze teri wadde abanyeze.

Eddalu lisukka ogw’omulamuzi nga batta buli kika kya muntu: omusuubuzi, munnaddiini, omulimi, omusomesa, eyasoma, ataasoma, n’omubazzi wa ssanduuko z’abafu olaba naye tebamutaliza! Kaabulang’ane balifa ne babula ababajjira ssanduuke mwe balibaziika.

Eddalu lifuukira ddala ekkankada ng’abatemu batuuse ne ku baserikale abandikuumye abantu ne babattira mu maanyi.

Tebafaayo na kumanya nti gwe batta ye “Mwoyo gwa Gganga”, ng’okumutta kitegeeza kufi iriza ggwanga omuntu owoomugaso ennyo; ebyo tebabirowooza.

Naye nga lwaki tutuuka ku kino nga tulina ebitongole ebikuumaddembe ebyakuguka mu bukodyo bw’okukuba abatemu ne babaleka ne mu kkubiro.

Poliisi n’amagye mutuyambe mutaase ensi eno ereme kulaluka ng’abantu battibwa mu ngeri ey’ekyeyonoonere ate nga n’ababatta ne bagenda nga tewali akwatiddwa. Abasse e Gayaza be batta ku Kaleerwe ne balumba Kabowa, baabo Bulenga.

Kale bwe baba babakubye ekimmooni ne bakola ebyambyone, amaanyi ka tugalabire mu kujjirawo mu bwangu mulwanagane nabo nga tebannabulirayo.

Ekyo bwe kigaana, kale amaanyi ka tugalabire mu kunoonyereza n’okufeffetta abazzi b’emisango n’okubakwata.

We tulabira obutambi ng’amagye gaggunda abantu kibooko nga babateebereza okwekalakaase, ka tulabe emiggo egyo nga bagiwuula abatuttira abantu baffe.

Omusaayi gw’abakubiddwa ne gutiiriika nga tebakyalina maanyi gagusangula, ka tulabemu omusaayi gw’abatutemulira abaffe nga gwe gutiiriika. Abakuumaddembe bwe mutaakole ekyo ensi etuuse okulalukira ddaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.