TOP

Mwekwase Mukama eby'ensi bireme kubamalamu

By Musasi wa Bukedde

Added 26th June 2019

Mwekwase Mukama muleme okukaaba ku nkomerero nga bwe gwali ku Adam ne Eva

Kisubisaviokisubi34webuse1 703x422

Abayizi abaamalirizza emisomo n'omusumba Odama mu kifaananyi

Bya Emmanuel Ssebanenya ne Moses Nsubuga

OMUSUMBA w’e Gulu, John Baptist Odama asabye Abakristu okwekwasa Mukama Katonda ebintu by’ensi nga ssente bireme kubamalamu. ‘‘Mulina okukimanya nti Katonda yaafuga ensi yonna, yawa obulamu era mulina okumukkiririzaamu kubanga Adam ne Eve bwe baamujeemera ekyaddako kwali kubonaabona n’okukaaba’’.

 musumba ndama ngasembeza abayizi abaafunye konfirimaansio Omusumba Odama ng'asembeza abayizi abaafunye komunyo

 Okubuulira kuno yakukoledde mu mmisa gye yayimbye ku ssomero lya St. Savio Junior School e Kisubi ku Lwomukaaga abayizi abasoba mu 400 bwe baabadde basembera, okufuna konfirimasiyo n’okweyatulira. Yagambye nti eggwanga lijjuddemu abali b’enguzi omuli n’abakungu ba Gavumenti nga kumpi kye kigambo ekiri ku buli mumwa gwa buli muntu ekiraga nti abantu bajjeemu ekisusse.

Yawadde ekyokulabirako eky’omusajja n’omukazi abeekwana nga bali mu mukwano ogutagambika kyokka bwe wayitawo akaseera ne beekyawa, ne batting’ana, okweroga,  okulwalwana n’oluusi omu okusibisa munne mu kkomera nakyo ekiraga nti sitaani abayingiddemu n’obujjeemu.

 bayizi abaamalirizza omujiji nga beeyatulira Abayizi abaamalirizza omujiji nga beeyatulira

Omusumba kwe kugamba nti Mukama Katonda alonze abaana bano n’abatongoza okumukiikirira n’okutambuza enjiri buli wamu nga bayita mu Nyaffe Maria. Yagambye nti abaana abaabatizibwa nga kati batandise n’okulya Omubiri gwa Kristu babeera balanzi n’awa ekyokulabirako ky’omusajja n’omukazi abaali balemeddwa okugattibwa abagendanga n’omwana waabwe mu Klezia. Buli ssaawa y’okusembera lwe yatuukanga ng’ababuuza lwaki tebasembera ng’abantu abalala. Baalaba bakooye okuswala ne bakola embaga era kati basembera buli lunaku. Era yategeezezza nti abaana bano basobola okwogera ku bintu ng’obuli bw’enguzi, obubbi, ettemu, ettamiiro n’ebirala abantu ne bakyuka.

 bamu ku basomesa ba t avio chool isubi nga bwe baalabise ku mukolo Abamu ku basomesa ba St. Savio School Kisubi nga bwe baalabise ku mukolo

 Omusumba yasabye omukulu w’essomero lino, Br. Casio Aizire okwongera okukuuma ekitiibwa n’omutindo gw’essomero lino kubanga ge gamu ku masomero amalungi mu ggwanga agafulumya omuyizi ng’ajjudde bulungi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono