TOP

Abasuubuzi abaafudde babadde baakafuna looni

By Musasi Wa

Added 4th April 2012

ABAMU ku bantu abaafiiridde mu kabenje baaziikiddwa ku Mmande ku byalo eby’enjawulo ebisangibwa mu kibuga Buwenge mu Disitulikiti y’e Jinja.

Bya Donald Kiirya

ABAMU ku bantu abaafiiridde mu kabenje baaziikiddwa ku Mmande ku byalo eby’enjawulo ebisangibwa mu kibuga Buwenge mu Disitulikiti y’e Jinja.

Abaaziikiddwa kuliko Sarah Kakaire Nambeeko 43, eyabadde olubuto olw’emyezi omusanvu.

Omugenzi y’omu ku basuubuzi 20 abafiiridde mu kabenje e Iziru mu Ggombolola y’e Buyengo mu Disitulikiti y’e Jinja ababadde bagenda mu katale k’omubuulo.

Fuso kwe baabadde batikkiddwa akabindo bwe yalemeredde omugoba waayo ng’aweta ekkoona  ku Ssande ereeva waaayo ku lunaku lwa Ssande ayitibwa Ndaaye Waiswa n’alemwa okuwetta ekkoona n’agikuba ekigwo.

BAAMUGGYEMU OMWANA

Omumyuka wa Meeya w’ekibuga Buwenge, Aisha Kagoya eyeetabye mu kuziika ssaako n’okutambuza Poliisi mu buli maka g’abantu abafudde okusobola okwekebejja emirambo yategeezeza nti, omugenzi Kakaire bwe yabadde tannaziikibwa ku kyalo Busiya II, abasawo baaleeteddwa ne basooka okumubaagamu omwana omuwala olwo ne bamuziika. 

BBA ATTOTTOLA
Bba Nasur Kakaire Kirunda yategeezezza Bukedde nti omugenzi yamulekedde abaana munaana.  

“Mukyala wange abadde amaze emyaka 12 mu bizinensi y’okusuubula engoye enkadde. Agamba nti omugenzi abadde yaakaggyayo looni ya kakadde kamu ku Mmande nga  March 26 okuva mu kibiina kya BRAC.

Kakaire yategeezezza nti Mukyala we yali akola mu butale bw’omubuulo obuwerako ku nnaku ez’enjawulo.

Kakaire ne bamulekwa. Mu katono ye mugenzi.

ANDEKEDDE ABAANA 13

Ate Jennipher Alitubeera 42, ow’e Buweera yafiiriddwa bba Ben Erusa. Yasangiddwa mu makaage n’agamba nti bba tabadde na looni naye amulekedde abaana 13 ng’asembayo wa myaka ebiri n’ekitundu.

BAKOZE EFFUJJO

Wabula abatuuze olwamazze okuziika Nangobi ne Nambeeko ku byalo byaabwe mu Buwenge, beesuddemu akambayaaya n ebakwata emiggo ne bakuula n’ebikajjo mu ssamba eziriyo ne balumba abasuubuzi abaabadde bagguddewo bizinensi zaabwe mu katale k’e Buwenge ne babafulumya nga bagamba nti tebasobola kufiirwa basuubuzi bannaabwe nga ate abalala bali mu kukola ssente waakiri bandyefiirizza olunaku ne bagenda ne baziika.

N’abamaduuka nabo baabalagidde bagaggalewo era okuva ku ssaawa 8.00 okutuuka olweggulo ku Mmande gaabadde maggale.

Abasuubuzi abaafudde babadde baakafuna looni

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...