TOP
 • Home
 • Amawulire
 • Gabula: Kyabazinga ayise mu ttanuulu y’anaagatta Obusoga

Gabula: Kyabazinga ayise mu ttanuulu y’anaagatta Obusoga

By Musasi Wa

Added 26th August 2014

OLUGERO lw’Abasoga olugamba nti , “Azirawo tibamugulira mukazi” ekitegeeza nti , ‘Ataliiwo tebamugulira mukazi ‘ oba mu Luganda ‘Ataliiwo tagwirwa muti,” lutuukira bulungi ku ngeri Obwakyabazinga gye bwayise mu myagaanya gy’engalo z’Omulangira Columbus Wambuzi.

2014 8largeimg226 aug 2014 074047487 703x422

Bya Tom Gwebayanga ne Donald Kiirya

OLUGERO lw’Abasoga olugamba nti , “Azirawo tibamugulira mukazi” ekitegeeza nti , ‘Ataliiwo tebamugulira mukazi ‘ oba mu Luganda ‘Ataliiwo tagwirwa muti,” lutuukira bulungi ku ngeri Obwakyabazinga gye bwayise mu myagaanya gy’engalo z’Omulangira Columbus Wambuzi.

Olukiiko lw’Abalangira abalonda Kyabazinga lutuulako Abalangira 11. Konsitityusoni egamba nti singa munaana ku Balangira bano batuula, bayinza okulonda n’okulangirira Kyabazinga.

Mu mbeera eyo, Wambuzi bwe yawandiikirwa okubaawo mu lukiiko, ekyabadde kimuyamba kwe kujja okulwanira muli ng’akkirizisa Abalangira okumulonda oba waakiri okuyimiriza mu ntegeka eno nga bw’ayiiya ebirala.

Kyokka bw’ataabaddewo mu lukiiko, ate nga banne ekkumi batudde, Obwakyabazingagbwamuyise mu myagaanya gya ngalo!

Omulangira William Gabula Nadiope 1V yalondeddwa ku Lwomukaaga ku kitebe ky’Obwakyabazinga e Bugembe.

Eggulo yalangiriddwa ku Bwakyabazinga, wakati mu nnamungi w’omuntu eyeeyiye ku kitebe e Bugembe. Eno yayanjuliddwa Olukiiko lwa Busoga, we yavudde okutwalibwa ku kasozi Mpumudde n’atuuzibwa ku katebe k’okugulu okumu n’akolebwako emikolo wakati mu kusaakaanya nti “Landiroodi, landiroodi, Gabula afunvuwe, Gabula afunvuwe”(awangaale) .

Enduulu, emizira , embuutu byabuutikidde akasozi, abantu ne bazina ng’ebisaanyi, ne beevulungula mu ttaka olw’essanyu olwo ne bayisa ekivvulu mu kibuga Jinja emirimu ne gisannyalala.

Okusika omuguwa kubaddewo bukya, Henry Wako Muloki akisa omukono nga olwasooka , Edward Colombus Wambuzi yalondebwa nga 30 October 2008 ate Gabula n’alondebwa nga 5 October 2009.

Obutafuna Kyabazinga ebbanga lino lyonna kivudde ku nkaayana wakati  w’Abalangira, abamu ne baddukira mu Kkooti n’abalala ewa Pulezidenti Museveni wabula gye byaggweeredde ng’abagambye baddeyo beetereeze, beerondemu Kyabazinga.

BAAMUTEEKATEEKA DDA

Mu mwaka gwa 2000,  Abalangira b’oku ntikko ab’e Bugabula BB abayitibwa Abatimbiito baatuuza Gabula ku ntebe ya  “Gabula wa Bugabula”, ekifo ekimutuukanya okuba Kyabazinga, era ne batandika okumuteekateeka.

Eyali Katuukiro wa Bugabula BB, Lotan Bagimba Kaita, amyuka Sipiika wa Busoga Lukiiko, George William Mutyabule, eyali Katuukiro wa Busoga, Keith Mutengu n’omuwandiisi wa Bugabula BB, Samuel Kiirya Aziramubeera be baakola omukolo guno, era baasooka kukitegeezaako Pulezidenti Museveni.

 Ku mukolo guno, Kyabazinga Muloki  lwe yamuwandako eddusu n’amuwanika omukono gwe n’amulaga abantu nti  y’alimuddira mu bigere ng’akisizza omukono, era eyali Minisita w’entandikwa, Kisamba Mugerwa ye yakiikirira Museveni.

Kw’olwo, akulira Abaswezi, Mandwa Kagulu Nabiryo lwe yamutwala mu mbuga y’olusozi Kagulu, olusinga obuwanvu e Busoga n’amukolako emikolo gy’ekinnansi.

Ayise mu kamooli?

Olukiiko lw’Abalangira 11  ab’e Busoga abalonda Kyabazinga (Busoga Chiefs Royal council) bazze kukakasa kabineeti ya Busoga empya, akola nga Kyabazinga David Kaunhe Wakholi gye yabadde aleese ekakasibwe. Ebintu byakyukidde awo, ne baleeta okuteeso ky’okulonda Kyabazinga!

Kaunhe yategezezza nti yawandikidde Omulangira Wambuzi ajje mu lukiiko luno era yabadde akimanyi nti ajja. Kino Wambuzi yakyegaanyi n’agamba nti teyafunye bbaluwa eno!

Omwezi oguwedde, Kaunhe yalonda kabineeti, Olukiiko lwa Busoga ne lugigaana nti teyalwebuuzaako. Kati yabadde abayise, bayite mu mannya ga kabineeti empya wabule gye byaggweeredde ebya  kabineeti baabisudde eri ne bazzaawo kya kulonda Kyabazinga!

Kino baakikoze okutuukiriza obweyamo bwe baakola nti  nga August 27 lwe bajja okulaga Abasoga Kyabazinga omuggya.

Olukiiko lwabaddemu abadde akola nga Kyabazinga era nga ye Isabalangira wa Busoga, David Kaunhe Wakholi ( Bukholi), Wellington Nabwana Tabingwa (Luuka), Yekoniya Isiko Kisiki (Busiki), William Gabula Nadiope 1V (Bugabula), ne Haji Juma Luba Munuulo (Bunyha).

Abalala ye Samuel Nkuutu  (Bugweri), John Ntale Nanhumba (Bunhyoli), Samuel Kamaga Nkono (Bukono), Patrick Izimba Gologolo Ngobi ne Yasin Ntembe Waguma (Butembe).

Ku Lwomukaaga, Abalangira baatuuse ku kitebe e Bugembe ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu ne beesibira mu kasenge wakati mu kwerinda. Wabula ku ssaawa mwenda baafulumye, Munulo eyalondedwa okuba omwogezi n’alangirira nga Busoga bw’efunye Kyabazinga omuggya!

Munulo yategezezza nti bonna ekkumi bakkiriziganyizza ku Gabula n’ayitamu nga tavuganyiziddwa, ekyacamudde abangi ne bawogganira waggulu nti,”Afunvuwe Gabula.” (Awangaale Gabula).

Okujja mu lukiiko, Gabula yavudde ku mirimu gya Gavumenti, anti mukozi mu Ministule y’ebyamasannyaze n’obugagga bw’omu ttaka, era yazze yeeyambalidde atyo  mu mujoozi.

Olwamulonze ku Bwakyabazinga n’atandika okubutaabutana ng’atya abamawulire okumukuba ebifaananyi. Bakanyama be baamuggyeewo kasirise n’alinnya mmotoka ye n’ayolekera ku Lubiri lwe e Budhumbula.

Okulondebwa kwa Gabula y’entikko y'entalo z'obusika, ezimaze emyaka mukaaga bukya Wako Muloki akisa omukono.

Wadde twogera ku mukaaga egikulembera okufa kwa Wako Muloki, enkaayana ziviira ddala mu 1996, Abalangira abaali ku mbiranye okuli  Henry Wako Muloki ne Eriakesi Ngobi Kiregeya bwe baabulako akatono okwegwa mu malaka!

Kigambibwa nti bannabyafuzi be baaleeta Kiregeya alye Obwakyabazinga!  Ebyembi endagaano teyaliimu Balangira 11 abalonda Kyabazinga.

Gabula bwe yalondeddwa, Omulangira Muloki asigazza buteba emu. Ssemateeka w’Obwakyabazinga awa Omulangira alondedwa ku ntebe y’Obwakyabazinga ennaku 21 zokka, okukakasibwa mu Lukiiko lwa Busoga. Muno alina okwanjulibwayo Abalangira abalala mukaaga.

N’olwekyo olwa September 13 lulina okutuuka nga Palamenti ya Busoga emaze okumukakasa. Kinajjukirwa nti guno mulundi gwakubiri nga Gabula alondebwa ku Bwakyabazinga. Ogwasooka gwaliwo nga  5/10/2009, naye Olukiiko terwamukakasa!

Olukiiko lwa Busoga lulimu ababaka nga 35, bano singa Wambuzi anaabakolamu omulimu ne batakakasa Gabula olwo Busoga eneeba mu ssengavuddemu ngazzeemu!

Sipiika wa Bugabula BB, Paul Nadiope yamuwaanye nti okuva obuto, Gabula abadde yeeyisiza ddala kikungu. “Abadde tapapira bintu ate si kyangu kumusanga nga yeetabye mu mbeekuulo n’ebibinja by’abavubuka.

Enkaayana mu Bwakyabazinga

September 1, 2008: Kyabazinga Henry Wako Muloki akisa omukono.

October 31, 2008: Omulangira Edward Columbus Wambuzi alondebwa ku Bwakyabazinga, kyokka okulonda kubuusibwabuusibwa.

September 2009: Akabinja k’Abasoga kabuusabuusa obutuufu bwa konsitityusoni ya Busoga omwayitibwa okulonda Wambuzi. Wabula kkooti n’egoba omusango ogubuusabuusa okulondebwa kwa Wambuzi.

2009: Fred Menha Kakaire (Bugweri) n’abalala omusango bagutwala mu Kkooti enkulu nga bawakanya okulondebwa kwa Wambuzi.

October 5, 2009: Abaami b’e Busoga abamu balonda Omulangira Gabula Nadiope okubeera Kyabazinga.

December , 2011: Ne Kkooti enkulu e Jinja egoba omusango gw’abaawaabira Wambuzi okulondebwa mu bukyamu.

January 2012: Ekisanja ky’Olukiiko lwa Busoga eky’emyaka etaano kiggwaako.

January 2014: Balonda olukiiko lwa Busoga oluggya, kyokka omwami w’e Bulamogi n’azira.

April 2014: Bammemba b’olukiiko lwa Busoga abaggya baziyizibwa okulayizibwa e Bugembe. Oluvannyuma emikolo gyakolerwa mu Bilkon Hotel e Jinja, George Mutyabule n’alondebwa nga Sipiika w’Olukiiko.

May 2014: Pulezidenti Yoweri Museveni yeetaba mu kutuusa Olukiiko lwa Busoga e Bugembe.

July 2014: Abadde akolanga Kyabazinga, David Kawunhe alonda Fred Mukisa okuba Katuukiro wa Busoga n’amulonderako baminisita 17.

August 2014: Kawunhe asuula Mukisa ne baminisita be oluvannyuma lw’obutakkaanya n’abaami ab’amasaza.

August 23, 2014: Omulangira Gabula Nadiope alondebwa ku Bwakyabazinga.

‘Obwakyabazinga nnabwetegekera’
 
“Eby’okufuuka Kyabazinga nnabimanya nkyali muto wabula bwe ng’enze nkula ne mmanyira ddala ekintu, “ Gabula bwe yagambye. 
 
Ayongerako nti, “Abalangira babadde bakyogera lunye nti essuubi lya Busoga okwegatta liri mu nze kubanga ne jjajjange Nadiope yali musaale wa kwegatta.”
 
Yawakanyizza abagamba nti baali bamuguze ave ku by’Obwakyabazinga.
 
“Jjajjange yali Kyabazinga era tewali kibadde kintiisa kufuuka Kyabazinga, ” Gabula bw’agamba.
 
Eyali Omulabirizi wa Busoga, Bp Cyprian Bamwoze eyasanyuse eby’ensusso yagambye nti Gabula yakuzibwa mu mpisa z’eddiini nga bakimanyi nti aliba munene, nti kati kiri eri Abasoga okumukozesa abajune oba okumugalabanja.
 
Florence Mpaata, Jjajja wa Gabula agamba nti yamukuumanga butiribiri ng’era yafuba okumukuliza mu mpisa ennungi nga muwulize. 
 
Amyuka Sipiika wa Busoga Lukiiko, George William Mutyabule agamba nti Gabula mukkakkamu era abadde muwulize eri abakuza.
 
Agamba nti obutafaananako ng’abaana abakula n’ekimama, Gabula abadde amanyi ennaku ye ng’assaamu abantu ekitiibwa.
 
Ebifa ku Gabula Nadiope
 • Muzzukulu w’eyali Kyabazinga Sir William Wilberforce Kadhumbula Nadiope. Ono era yaliko omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda.
 • Gabula Nadiope yazaalibwa mu 1988. Kitaawe ye Polof. Wilson Kadhumbula, ate nnyina ye Josephine Nadiope.
 • Kitaawe yafa mu 1991, maama n’afa mu 1993.
 • Gabula yakulira wa jjajjaawe azaala nnyina, Eva Mpaata abeera e Kivubuka mu Jinja.
 • Yasomera Mwiri Primary okuva mu P1 mu 1995 era gye yatuulira P7 mu 2001. Siniya yagisomera mu Busoga College Mwiri.
 • Gabula yasoma byanfuna mu yunivasite y’e Kyambogo.
 • Kati akolera mu Minisitule y’ebyamasannyalaze, tannawasa.
 • Gabula Nadiope ye mwami w’essaza ly’e Bugabula erizingiramu disitulikiti y’e Kamuli ne Buyende.
 • Olubiri lwe luli Budhumbula mu Kamuli. 
 

Gabula: Kyabazinga ayise mu ttanuulu y’anaagatta Obusoga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja