TOP
  • Home
  • Busoga
  • Abatuuze bakubye ssentebe wa NRM e Bugiri

Abatuuze bakubye ssentebe wa NRM e Bugiri

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd February 2016

Abatuuze bano baakedde kukuba ngoma eyasombodde abantu ne batandika okutindira ekisenyi kino nga bagamba nti Gavumenti yabasuulirira oluvannyuma lw’omugenzi Patrick Mwondha eyali Minisita wa Gavument, ez’ebitundu okunafuwa ng’ate ye yali abayamba.

Ego1 703x422

Abatuuze nga bakuba ssentebe waabwe owa NRM Mugoya (gwe basudde wansi).

SSENTEBE wa NRM ow’e kyalo Nsokwe mu disitulikiti y’e Bugiri akiguddeko abatuuze ababadde bakaaye ng’enjuki bwe bamukubye emiggo n’okumusamba nga bamuvunaana kugaana Ssenkaggale wa JEEMA Asumani Basalirwa okubayambako mu kutindira ekisenyi ekyawula Bugiri ne Iganga.

Abatuuze bano baakedde kukuba ngoma eyasombodde abantu ne batandika okutindira ekisenyi kino nga bagamba nti Gavumenti yabasuulirira oluvannyuma lw’omugenzi Patrick Mwondha eyali Minisita wa Gavument, ez’ebitundu okunafuwa ng’ate ye yali abayamba.

Ekisenyi kino kiri ku kyalo Nsokwe mu muluka Wangobo okuliraana Itanda.

Baabadde baakatandika omulimu gw’okutindira ekisenyi kino ne zireeta Basalirwa eyabadde mu kuffeffetta obululu obunaamutwala mu Palamenti akiikirire Bukooli North, Ssentebe wa NRM ow’ekyalo kino, Binaaya Mugoya kwekumuziyiza okutuuka we baabadde bakolera olw’okuba si wa NRM ekyabanyizizza ne bamukuba.

Basalirwa olwalabye ng’abatuuze bakaaye n’abeegayirira bamusonyiwe. Oluvannyuma naye yabeegasseeko ne batandika okutindira ekisenyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bus1 220x290

Cranes egudde mu bintu

Cranes egudde mu bintu

Jip1 220x290

She Cranes etandise okutendekebwa...

She Cranes etandise okutendekebwa

Lib2 220x290

Omwana omulala afiiridde mu muliro...

Omwana omulala afiiridde mu muliro e Katwe

Kat2 220x290

Katikkiro Mayiga agumizza abantu...

Katikkiro Mayiga agumizza abantu ku nsonga y'Amasiro

Kabakamutebiii 220x290

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti...

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti y'e Mengo.