TOP
  • Home
  • Busoga
  • Waliwo abanene abannwanyisa - Kadaga

Waliwo abanene abannwanyisa - Kadaga

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd February 2016

Yagambye nti waliwo ekibinja ky’abantu ab’amaanyi mu ggwanga ekiri mu kaweefube w’okumusuula aleme kudda mu Palamenti akikulira amusikire ku bwasipiika.

Simba1 703x422

Sipiika Rebecca Kadaga

SIPIIKA wa Palamenti, Rebecca Kadaga, agambye nti wadde y’omu ku basinga okuwalanibwa mu Uganda, tajja kukkiriza bantu ab’olubatu okumufutyanka n’okumuggya ku mulamwa gw’okulwanirira abakazi.

Yagambye nti waliwo ekibinja ky’abantu ab’amaanyi mu ggwanga ekiri mu kaweefube w’okumusuula aleme kudda mu Palamenti akikulira amusikire ku bwasipiika.

“Ndi omu ku bantu abasinga okulwanyisibwa mu Uganda. Pulezidenti Museveni bw’aba y’asinga, nze mmuddirira,” Kadaga, bwe yategeezezza ku mikolo gy’okukuza emyaka 30 bukya NRM ejja mu buyinza. Emikolo gyabadde ku ssomero lya Kasota Primary.

“Enkiiko zituula mu Bugiri, ku kitebe kya minisitule y’ensonga ez’ebweru, e Nawantumbi, Jinja ne mu wooteeri z’omu Kampala nga zonna zikolerera kusuula Kadaga”, bwe yagambye nga talina linnya ly’ayatudde.

Yageraageranyizza Uganda ku kkampuni nti, Abasoga n’abakazi Bannayuganda bagirinamu emigabo erabwe batyo balina okufuna ku bifo ebisava.

Wano omu ku bantu abangi abaabadde basirise we yayisirizzaamu eddoboozi n’abuuza nti, “B’ani abo abakulwanyisa?”

N’addamu nti, “Omusajja ayagala ekifo kyange aguliridde abamuvuganya bonna ne bava mu lwokaano kati alina obudde okutambula mu bitundu by’eggwanga ng’atokota abeesimbyewo ku tikiti za NRM ng’abakozesa ddiiru y’okumuwagira ng’okulonda Sipiika addako kutuuse,” bwe yakkaatirizza.

Yakubirizza Abasoga n’abantu b’omu Buvanjuba bwa Uganda okulwana amasajja balemese ebifo byabwe ebisava okutwalibwa abantu abava ku ‘kyalo ekimu’.

Yabasabye okumuyiira obululu mu kulonda okujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi