TOP

Azaaliddwa ebyenda biri ku ngulu

By Musasi wa Bukedde

Added 7th March 2016

Omwana ono yamuzadde Lwakutaano ku ssaawa 2:00, wabula abasawo kyababuuseeko omwana okumuzaala ng’ebyenda biri bweru kyokka nga mulamu bulungi.

Baaza1 703x422

Omusawo ng’alabirira omwana Nabatanzi gwe yabadde yaakazaala

MARY Nabatanzi, 22 ne bba Amosi Kasango ab’e Iwumba mu ggombolola y’e Buwaya mu disitulikiti y’e Mayuge basaba buyambi oluvannyuma lw’okuzaala omwana omulenzi ng’ebyenda biri ku ngulu.

Nabatanzi agamba nti ono omwana waakubiri ng’asooka muwala wa mwaka gumu nga ye talina buzibu bwonna.

Omwana ono yamuzadde Lwakutaano ku ssaawa 2:00, wabula abasawo kyababuuseeko omwana okumuzaala ng’ebyenda biri bweru kyokka nga mulamu bulungi.

Nabatanzi agamba nti yatandika okunywa eddagala ng’olubuto lwa myezi 7 era yalifuna emirundi esatu okutuusa lw’azadde.

Agamba nti abadde takozesa ddagala lya kiddugavu lyonna wabula naye kimwewuunyisizza okuzaala omwana bw’atyo.

Betty Kawala akola nga disitulikiti Nursing Offi cer agamba nti ekyavuddeko omukyala ono okuzaala omwana ng’ebyenda biri wabweru lwa kuba abadde tagenda mu ddwaaliro kufuna ddagala.

Akubirizza abakyala bonna ab’embuto okugendanga mu malwaliro okufuna eddagala kuba kibayamba naddala mu kiseera eky’okuzaala.

Nabatanzi asabye asobola okumuyamba okukuba ku ssimu eno; 0752163104.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Baby 220x290

Eyanzaalamu n'annemya emisomo anneefuulidde...

NZE Judith Kyampiire 22, mbeera mu Good Hope Makerere Kavule mu Munisipaali y’e Kawempe.

Ssenga1 220x290

Maze omwaka mulamba sirwala

NNINA emyaka 27 naye maze omwaka gumu nga sirwala era sifuna lubuto. Osobola okunfunira ku ddagala ne ntandika...

Ronaldo 220x290

Ronaldo yandikomawo ku mupiira...

Ronaldo okutuula ogwa Young Boys olwo akomewo ku gwa ManU.

Pavon 220x290

Arsenal etandise enteeseganya ne...

Pavon yazannyira Argentina mu World cup mu June omutindo gwe ne gucamula ttiimu nnyingi.

Twala 220x290

Engeri omusuubuzi w’ewa Kisekka...

ABAZIGU abeebijambiya balondodde omusuubuzi ow’amaanyi ne bamutemula. Bamuttidde ku ggeeti y’amaka ge nga yeggulira...