TOP
  • Home
  • Busoga
  • Palamenti ekungubagidde eyali Katuukiro wa Busoga

Palamenti ekungubagidde eyali Katuukiro wa Busoga

By Muwanga Kakooza

Added 22nd March 2016

Kiwagama yaliko omumyuka wa Katuukiro wa Busoga wakati w’omwaka 1993 ne 1996 era oluvannyuma n’afuuka Katuukiro omujjuvu okutuuka mu mwaka 2,000 ku mulembe gw’omugenzi Henry Wako Muloki, eyali Kyabazinga wa Busoga.

Kiwagama 703x422

Katikkiro Ruhakana Rugunda ng'assa ekimuli ku sanduuko omuli omulambo gwa Kiwagama mu Palamenti. Ku ddyo (mu katono) ye mugenzi Kiwagama

PALAMENTI ekungubagidde eyali Katuukiro (Kakitikkiro)  wa Busoga Wilberforce Kiwagama eyafiiridde mu ddwaliro e Mulago n’esiima emirimu gy’akoledde eggwanga mu bifo ebitali bimu by’awerezzaamu omuli n'ekyomubaka wa Palamenti.

Kiwagama yaliko omumyuka wa Katuukiro wa Busoga wakati w’omwaka 1993 ne 1996 era oluvannyuma n’afuuka Katuukiro omujjuvu okutuuka mu mwaka 2,000 ku mulembe gw’omugenzi Henry Wako Muloki, eyali Kyabazinga wa Busoga.

Omugenzi era yali mubaka wa Palamenti mu NRC wakati w’omwaka 1989 ne 1996 ng’akiikirira esazza ly’e Bunya e Mayuge, era ne yeetaba mu lukiiko olwakola Konsityusoni ya Uganda wakati 1994 ne 1995 ne yeegatta ku Palamenti ey’omusanvu wakati wa 2001 ne 2006.

Ajjukirwa nnyo abaaliwo ng’omubaka eyawagira ennyo okuwa Pulezidenti Museveni ekisanja ekirala mu 2006 era yayambalanga kawunda eya kyenvu olumu gye yassaako ekisanja ne yeesogga Palamenti.

Omulambo gwe gwaleeteddwa ababaka bagukubeko eriiso evvannyuma mu Palamenti eyakubiriziddwa omumyuka wa sipiika, Jacob Oulanya.

 mubiri gwomugenzi nga gutwaliddwa ku alamenti okusiimwa   Omubiri gw'omugenzi nga gutwaliddwa ku Palamenti okusiimwa. EKIF: MARIA WAMALA

 

Ekiteeso ekisiima Kiwagama kyaleeteddwa Katikkiro, Ruhakana Rugunda n’awagirwa ababaka abawerako okwabadde nnampala w’ababaka b’oludda oluvuganya Gavumenti, Cecilia Ogwal, omubaka w’e Aruu Odonga Otto, omumyuka owa Katikkiro Kirunda  Kivejinja , nnamapala w’ababaka ba NRM Ruth Nankabirwa n’abantu abalala.

Rugunda yagambye nti omugenzi yaweereza eggwanga Uganda mu biti ebitali bimu.

Ebikwata ku mugenzi ebitonotono

  • Yazaalibwa October 5, 1934  era yafudde March 18 e Mulago oluvannyuma lw’okulwalira ebbanga eddene.
  • Ysomera mu masomero agawerako okwali ne Namiryango College gye yava okwegatta ku Royal College e Nairobi oluvannyuma eyafuuka Nairobi University gye yakugukira mu bwa saveya.
  • Yaweereza mu gavumenti ya Uganda nga saveya  okumala ebbanga nga tanneegatta ku byabufuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta