TOP
  • Home
  • Busoga
  • Poliisi ekutte abooluganda lwa kubba mwana e Luuka

Poliisi ekutte abooluganda lwa kubba mwana e Luuka

By Musasi wa Bukedde

Added 6th April 2016

POLIIISI y’e Luuka ng’eduumirwa David Agi (akulira okunoonyereza) ekutte ab’oluganda bataano nga kigambibwa nti baabadde baagala okusaddaaka omwana ow’emyezi omusanvu.

Map 703x422

Abakwate okuva ku kkono: Namusobya, Steven Kasadha, Derick Kasadha, Tezikoma ne Ssebakulu.

POLIIISI y’e Luuka ng’eduumirwa David Agi (akulira okunoonyereza) ekutte ab’oluganda bataano nga kigambibwa nti baabadde baagala okusaddaaka omwana ow’emyezi omusanvu.

Abaakwatiddwa kuliko Sevilio Kasadha, Derick Kasadha, Rogers Tezikoma, Steven Ssebakulu ne Deziranta Namusobya ob’oku kyalo Bugambo mu ggombolola y’e Ikumbya mu disitulikiti y’e Luuka.

Owoomukaaga, Bosco Mpaulo (alina essabo) yalabye ‘giwunye’ n’amalamu omusulo era kati poliisi emuyigga.

Okusinziira ku Matha Sengere, maama w’omwana eyabadde abbiddwa, yabadde amulese ne banne agende aggye muganda we nnakawere mu ddwaaliro.

Mu kudda, muliraanwa we Namusobya yamulimbye nti omwana yeebase, kyokka okukeberayo nga taliiyo.

Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, omwana yasangiddwa mu lusuku ng’ali mu mbeera mbi era wano poliisi kwe kukwata abateeberezebwa okumubuzaawo n’ebaggulako omusango ku fayiro CRB/265/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gaming4 220x290

Gavt. yaakugula ekyuma ekirondoola...

Kazoora yagambye nti ekyuma gavumenti ky’egenda okugula kyakubayambako okumanya abantu abeenyigira mu beetingi,...

Labula 220x290

Poliisi erabudde aba People Power...

POLIISI ewabudde Bobi Wine n’aba People Power okugoberera amateeka mu nteekateeka zaabwe zonna.

Illegalgears6 220x290

UPDF ekutte 17 abeenyigira mu nvuba...

AMAGYE ga UPDF gagenze mu maaso n'okukola ebikwekweto ku nnyanja Nalubaale mwe bakwatidde abantu 17 ababadde beenyigira...

421977467557107247997131145953289536274432n 220x290

Bobi Wine ayogeza maanyi

NGA yaakatuuka mu maka ge e Magere, yayogezza maanyi wakati mu bikumi n’ebikumi by’abawagizi be abaakuhhaanye okumukulisaayo...

Funa 220x290

Bobi Wine alangiride ekiddako

ENKAMBI ya Bobi Wine erangiridde nti erumba Masaka ekube olukung'aana olw’amaanyi okunnyonnyola abantu ku biriwo...