TOP
  • Home
  • Busoga
  • Asimye kaabuyonjo mu mulyango gw’ekkanisa y’Abadiventi e Kamuli

Asimye kaabuyonjo mu mulyango gw’ekkanisa y’Abadiventi e Kamuli

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2016

Abadiventi b’ekkanisa enkulu e Kamuli beezoobye n’omukazi eyaleese bakanyama ne basiba ssehhenge mu maaso g’ekkanisa yaabwe ng’agamba nti yeesenza ku ttaka lye.

Tawo1 703x422

Poliisi ng’ekuula ebikondo wakati w’omulyango gw’ekkanisa n’ekinnya kya kaabuyonjo ekyasimiddwa

Abadiventi b’ekkanisa enkulu e Kamuli beezoobye n’omukazi eyaleese bakanyama ne basiba ssehhenge mu maaso g’ekkanisa yaabwe ng’agamba nti yeesenza ku ttaka lye.

Monic Wabuliriire, 55, ye yasimbye sseng’enge mu luggya lw’ekkanisa ng’ayitira ddala kumpi n’omulyango gwayo omunene ate omulala n’omutambuza mu mbiriizi waayo ng’olubalaza lwayo bwe lutambula.

Katemba ono yabaddewo Lwamukaaga nga Abadiventi baasangiddwa bali mu kusinza kwa Ssabiiti yaabwe.

Omukadde w’ekkanisa eno omukulu, Joseph Ngobi yawaliriziddwa okuyita Poliisi eyazze okukuuma emirembe n’okukuulawo ebikondo ebyabadde bisimbiddwa abakozi ba Wabuliriire.

Eno ye yabadde entikko y’enkaayana z’ettaka lino erisangibwa Adams Road weeyungira ku Gabula Road mu munisipaali y’e Kamuli.

Wabuliirire yategeezezza nti kino yabadde akikola mu butuufu kuba ettaka kitaawe- Benafansi Muzaale Muweebwa ye yalimuwa.

 nju ezimbiddwa mu maaso gekkanisa Enju ezimbiddwa mu maaso g’ekkanisa.

 

Wadde akkiriza nti n’ekkanisa kitaawe yagiwa, naye ako ke katundu ke yabadde atalizza omuli ekkanisa yennyini n’ennyumba y’omusumba ng’awalala baali beesenzaawo mu bukyamu.

Mu bimu ku byabadde bimaze okukolebwa ye kaabuyonjo Wabuliriire gye yabadde amaze okusima mu maaso g’omulyango omunene oguyingira ekkanisa.

Wabula Poliisi yakudde ebikondo ne ssehhenge n’ebitikka ku mmotoka n’ebitwala ku poliisi.

Ye Omusumba Robert Kudongania yeetegudde embeera oluvannyuma lwa Wabuliriire okumukkakkanako n’amuvuma n’amwogoloza mu maaso g’abakkiriza.

Bino biddiridde Kkooti y’e Jinja Enkulu okusingisa Ekkanisa omusango ogwagiwawaabirwa okwesenza ku ttaka lino.

Kyategeezeddwa nti Muzeeyi Muzaale ekitundu kye yali yagabira ekkanisa kyali kya ffuuti 50 ku 100 zokka Ekkanisa weeyimiridde, sso si kibangirizi kyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group

Nan1 220x290

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde...

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Seb2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Kab3 220x290

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa...

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Fub2 220x290

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde...

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai