TOP
  • Home
  • Busoga
  • Kadaga bamututte mu kkooti: Bamulanga kubba bululu n’okugulirira abalonzi

Kadaga bamututte mu kkooti: Bamulanga kubba bululu n’okugulirira abalonzi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2016

Olugendo lwa Rebecca Alitwala Kadaga okulayizibwa ku ky’Omubabaka wa Kamuli n’obwasipiika luzzeemu omukoosi, gwe yavuganya naye mu kalulu, Deborah Mwesigwa Mugerwa bw’amuttutte mu Kkooti. Amulanga kubba bululu n’okugulirira abalonzi.

Malawo1 703x422

Kadaga (ku kkono) ne Mwesigwa lwe baatongoza kampeyini awamu e Kamuli.

Olugendo lwa Rebecca Alitwala Kadaga okulayizibwa ku ky’Omubabaka wa Kamuli n’obwasipiika luzzeemu omukoosi, gwe yavuganya naye mu kalulu, Deborah Mwesigwa Mugerwa bw’amuttutte mu Kkooti. Amulanga kubba bululu n’okugulirira abalonzi.

Ng’ayita mu balooya be aba Katabalwa & Co Advocates ab’e Kampala, omusango yagututte mu Kkooti Enkulu e Jinja nga guli ku fayiro nnamba 015/2016 .

Mwesigwa eyaliko omukozi mu kitongole ky’emisolo ekya URA yafuna obululu 24,074 , Kadaga n’afuna 91,853 ate owa FDC, Sarah Namwase Muntu n’afuna obululu 7,258.

Wabula Mwesigwa agamba nti mu kalulu mw’alimu ebirumira era ayagala kkooti emusazeemu.

Mu mpaaba, agamba nti Kadaga yagulirira abalonzi n’essente enkalu kwe yagatta n’okusima Naikondo ku byalo ebitali bimu, wakati mu ku bafalaasira nti bamulabiranga ddala.

Bino byonna agamba abirina ne ku butambi. Kuno nti Kadaga yagattako n’okugabira abalunzi emmere y’ebisolo n’okukozesa olulimi oluvuma bwe yasinziiranga mu nkuhhaana ze n’ategeeza abantu nti (Mwesigwa) talina na maka yali apangisa loogi mwe yavanga okuyigga akalulu.

Bino Mwesigwa agamba byamuvvoola abantu ne bamuggyamu obwesige ng’ate nzaalwa ku kyalo Nawansaso mu ggombolola y’e Kitayunjwa nga kitaawe ye omugenzi Rev Benfansi Kirogoola gy’agalamidde.

Ayagala Kadaga era amenyeewo ne bye yayogera nti okuva mu URA b’agoba mugobe ng’abuzizza ssente.

Kadaga teyasobose kufunika ku ssimu wabula eyakulira kampeyini ze, John Peter Batala yategeezezza nti empaaba baagifunye era bagumu era bagwetegekedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa